TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala alumirizza owa Bajjo events okumuzaalamu omwana n'atamulabirira

Omuwala alumirizza owa Bajjo events okumuzaalamu omwana n'atamulabirira

By Josephat Sseguya

Added 1st May 2018

OMUKAZI alumirizza omutegesi w’ebivvulu ow’erinnya , Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo Events okumuzaalamu abalongo n’abamulekera nga Mathias Walukagga bwe yabadde akoze ku yaaya gwe yazaalamu omwana.

Wamu 703x422

Mukasa owa Bajjo events. Ku ddyo ye Nabakembo alumiriza Mukasa okumuzaalamu omwana n'atamulabirira

Nnaalongo Tihan Nabakembo abeera e Ntinda agamba nti Andrew Mukasa owa “ Bajjo Events” yamuzaalamu abalongo omuwala n’omulenzi nga kati ba mwaka gumu n’emyezi esatu wabula n’abandekera ng’agaanye okubalabirira ate naye bamulemeredde. “Tubeera mu kukaayana nga lw’abeera ampadde mu wiiki, ampa 20,000/-.

Abaana bwe balwana tampa za bujjanjabi, ez’ennyumba tazimpa n‘ebirala.

Natuuka ekiseera ne mubuuza ekimugaana okulabirira abaana be yeezaalira n’anziramu nti tabeekakasa.

Namusaba tugende babakebere ate era n’agaana.’ bw’atyo Nnaalongo Nabakembo bwe yategeezezza Bukedde.

Oyinza okugenda mu ddwaaliro ng’abaana balwadde bwe bamala okubajjanjaba n’omukubira essimu n’omusaba ez’eddwaaliro n’akuvumaavuma ng’alinga avuma kawalake wenna n’oswalaswala.

Namusaba aleete ekitundu kya ssente nange ntetenkanye tutwale abaana babakebere omusaayi akikakase nti babe era nakyo n’akigaana.

N‘olwekyo nsaba minisita Florence Nakiwala Kiyingi ow’abavubuka n’abaana anyambe ku taata w’abaana bange bano kubanga nze annemeredde.

Ennamba gye yatuwa eya 166 abakyala abazadde mu basajja ne bagaana okubalabirira ngikubako naye yannema okuyisaamu. Naye nange nsaba annyambe nga yakola ku nsonga za Aisha Namugerwa.

Wiiki ewedde, Nakiwala ne minisitule y’ekikula ky’abantu yassa akazito ku Walukagga olw’okwegaana omwana gwe yazaala mu yaaya, Aisha Namugerwa eyali amukolera mu makage e Maya okukkakkana nga bamututte mu kkooti e Nakawa gye yamukkiririza.

Bajjo bwe yatuukiriddwa yagambye nti; Kati oba azze mu mawulire…, mmwe aba Bukedde oba mmwe muzaala abaana abo mumuyambe mwe muba mubalabirira.

Abeere w’amazima oba simuwa ssente, lwaki yeegaana era bwemba simuwa ssente, ate agamba atya nti muwa 20,000/- buli wiiki, ezo zo si ssente? Bwe yabuuziddwa oba yamwagalako yagambye nti; Haa nze abakazi njagadde bangi tosobola kumbuuza kibuuzo ng’ekyo naawe obimanyi eby’abasajja.

N’abakazi abamu sibajjukira na kubajjukira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi