TOP

Bannaddiini batabaganye okubunyisa enjiri

By Vivien Nakitende

Added 1st May 2018

Bannaddiini batabaganye okubunyisa enjiri

Fub1 703x422

Paasita Kayanja owa Miracle Center Church ne bannaddiini abalala nga basala keeki

ABAKULEMBEZE okuva mu nzizikiriza ez’enjawulo ezikkiririza mu mukama waffe Yesu Kristo, batabaganye n’ekigendererwa ky’okubunyisa engiri ya Yesu awatali kwekutulamu.

Baabadde ku woteeri ya Graceland Hotel e Bbunga gye bamaze wiiki nnamba  mu lusirika lw’okutema empenda okubunyisa engiri ya Yesu ereetawo enjawulo ennungi eri ba nnayuganda bonna.

Omusumba Robert Kayanja ow’ekkanisa ya Miracle Center, akubirizza abakulistaayo bonna  okukolaganira awamu mu kubunyisa engiri ya Yesu,  kubanga bonna ba luganda abatasaanidde kusosolagana kubanga buli omu y'esanga ng’alina oluganda mu nzikiriza endala.

Ono yabadde omugenyi omukulu mu kuggalawo olusirika luno, agambye nti, obuweereza bwe balimu nga ba nnaddiini ssi bwabwe, wabula bwa Katonda oyo eyabayita okuweereza abalala, n'abasaba okubukola n’emitima gyabwe gyonna,.

Canon Eric Kasirye ow’obusabadinkoni bw’e Luteete eyawomye omutwe mu lusirika luno agambye nti, olukung'aana luno lw’abanaddiini abeegattira mu kibiina kya Ecumenical Evangelical Forum ekikulemberwa ssabadinkoni Kasirye yeenyini, okugezaako okunnyikiza okubuulira engiri okulaba nti etuuka ku buli muntu mu bitundu byonna eby’eggwanga.

Lwetabiddwaamu abaawule okuva e Nebbi, Kasese, Lira, ne Buganda, abakatoliki omwabadde Fr. Moses Baviba okuva mu kigo ky’e Monde mu Luweero, Rev. Nelson Wairagala ow’e Luzira n’abalala, n’abalokole abaakulembeddwaamu omusumba Kayanja, luno lumaze ennaku ttaano nga luyinda ku woteeri ya Grace Land e Bunga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...