TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni akangudde eddoboozi ku beekalakaasa olw'emisaala emitono

Museveni akangudde eddoboozi ku beekalakaasa olw'emisaala emitono

By Musasi wa Bukedde

Added 1st May 2018

Museveni akangudde eddoboozi ku b'ekalakaasa olw'emisaala emitono

Sev2 703x422

Museveni ng'ayogera ku lunaku lw'abakozi e Ssembabule ku kisaawe

Bya Maria Nakyeyune
 
OMUKULEMBEZE  w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi ku basawo n'abakozi ba Gavumenti abavaayo okwekalakaasa nga baagala okubongeza  bongeza emisaala.

Museveni akakasizza  nti tewali kubongeza misaala nga wakyaliwo ebibiina by'abantu ba wansi abeetaaga entandikwa mu business ezisookerwako ssaako okukola enguudo kiyambeko mu kulongoosa eby'entambula.

Ono ategeezezza nti kibi nyo abasawo abakugu okuvaayo ne beekalakaasa gye buvuddeko olw'emisaala nti baalaga empisa envundu n'akakasa nti agenda kuleeta abasawo abakyuba okuva ebweru bakole emirimu gya wano okusobola okutaasa obulamu bw'abantu.

Pulezidenti  alaze obw'ennyamivu olw'abakozi ku zi Disitulikiti okukulembeza enguzi nga bakola emirimu n'ategeeza nti kino agaenda ku kirwanyisiza ddala.

Abatuuze ku byalo mwenda ebiriraanye amaka ga Pulezidenti eKisozi nga bakulembeddwamu Sarah Nalwanga bawadde obujulizi ku Pulezidenti okubawonya obwavu ,envunza n'enjala.

Oluvannyuma Pulezidenti awadde abakozi mu bitundu ebyenjawulo emidaali okubasiima olw'obuweereza bwabwe ku mitendera egy'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo