TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abateeze emmotoka ya Pepsi ne babba obukadde 80 bawonye okugajambulwa abatuuze

Abateeze emmotoka ya Pepsi ne babba obukadde 80 bawonye okugajambulwa abatuuze

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2018

Abateeze emmotoka ya Pepsi ne babba obukadde 80 bawonye okugajambulwa abatuuze

Jub2 703x422

BYA WASSWA B. SSENTONGO.

ABATUUZA bataayizza ababbi abaateeze emmotoka ya Pepsi ne babba obukadde 80.

Amaad Eria Nyakana omutuuze we Ssanga Matugga ne Moses Mawejje omutuuze we Mabanda bebataasiddwa poliisi ye Matugga ku batuuze ababadde baagala okubatta oluvanyuma lwokuteega emmotoka ya soda owe kika kya Pepsi e Jagala ku lugundo lwe Semuto ne babba obukadde 80 ng'abatuuze babalabye ne babagoba ne batandika okubakuba era poliisi yezze ne bataasa.

Joseph Mukasa nga ye ddereva ategeezezza nga bwa lengedde abantu mu mmotoka yaabwe kyokka bwe babayise ne badduka naye kwekukuba enduulu abatuuze ne babayambako kyokka ekisinze okumwewuunyisa kwe kubeera nga omu ku bbo abadde amumanyi.

Chris Bazimbwa nga yakulira okunonyereza ku buzzi bwe misango ku Poliisi ye Matugga agambye nti bagenda mu maaso n’okunonyereza okuzuula ssente endala wabula n'asaba kkampuni za Soda okwewala okutambula ne ssente enyingi mu mmotoka okwewala okutusibwako obuzibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’