TOP

Abaana 4 bawambiddwa e Ntebe

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2018

Abaana 4 bawambiddwa e Ntebe

Web4 703x422

ABATUUZE b’e Ntebe emitima gibadde gyakabakka olw’ekittabakazi okusiriikiriramu, ate okubuzaawo abaana mu ngeri etetegeerekeka ne kusitula enkundi. OKUBULA KWA MARGARET NYAMERA, 12 Grace Tino Akello, ow’e Nkumba Central, mu ggombolola y’e Katabi, mu Munisipaali y’e Ntebe, y’omu ku batuuze abatambula nga beewuunaganya bokka na bokka, oluvannyuma lw’okubulwako muwala we, Margaret Nyamera,12.

Akello agamba nti, muwala we bwe yali ava ku ssomero lya Nkumba Preparatory School, gy’asoma mu P6, nga March 9, 2018, yawambibwa abantu abataategeerekeka. N’okutuusa kati tamanyiddwaako mayitire! Kigambibwa nti omuyizi ono okuwambibwa yali afuluma geeti y’essomero ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo.

“Okuva omwana wange lwe yawambibwa sifuna nga ku ssimu ensaba ssente, oba oli awo, nandirowoozezza nti oba kitaawe ye yamutwala, naye si kituufu olw’ensonga nti we yabuulira kitaawe yali mu kkomera. Ntuukiridde buli ofiisi ku nsonga y’omwana wange naye ambuze kati n’essuubi litandise okunzigwamu,” bwatyo Akello bw’agamba.

OKUBULA KWA HASSAN LUTALO, 11 Ono mutabani w’omujaasi wa UPDF, Maj. Twaha Bbosa n’omukyala Agnes Kyogabirwe ab’e Nkumba - Bufulu, mu ggombolola y’e Katabi, mu Munisipaali y’e Ntebe, mu disitulikiti y’e Wakiso.

Maama w’omwana yategeezezza Bukedde ng’amaziga gamuyitamu nti, mutabani we yawambibwa abantu b’atamanyi nga April 1, 2018, ku ssaawa 3:00, ez’oku makya. Ayongerako nti, mutabani we abadde muyizi mu ssomero lya St. Luke PS e Nkumba. “Simanyi kye nakola Katonda! Omwana nali namulekera kitaawe mu bbaalakisi e Bombo, nga tufunyeemu obutakkaanya kyokka olw’omutima gw’obuzadde, nasaba kitaawe amumpeereze mbeere naye.

Mba naakabeera naye ebbanga ggere, ab’emyoyo emibi ne bamuwamba. Sirina we situuse awamu ne baze nga tunoonya omwana waffe, naye abuze!” bwatyo Kyogabirwe bw’alombojja. Ono omusango gwe yaguloopa ku poliisi y’e Kasenyi ku fayiro nnamba SD: 17/03/04/2018.

RIHANAH NDAGIRE, 8 Ono muyizi ku ssomero lya Mother Care Nurs & Ps, e Nkumba. Okusinziira ku maama we, Jackie Kizito, ow’e Kasenyi, mu ggombolola y’e Katabi, mu Wakiso, muwala we yawambibwa abantu abataategeerekeka okuva awaka ku Lwomukaaga bwe yali wabweru ng’anaaba ku ssaawa nga 12:30 ezaakawungeezi.

Poliisi y’e Kasenyi, Nkumba, Mpala, ne Ntebe, baasitukiramu ne batandika okunoonya omwana ono, oluvannyuma lw’okutegeezebwa nnyina eyaggulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 19/28/04/2018.

Kigambibwa nti abantu abaamuwamba baamulimba nti, baali bamutwala wa ssenga we abeera e Ntebe. “Omwana wange ayagala nnyo ssenga we kuba bafaananya erinnya lya ‘Ndagire’ y’ensonga lwaki abantu abaamuwamba baamugamba nti, gye baali bamutwala.

Kino kyandaga nti abantu bano baali mu famire yaffe bagimanyi bulungi. Baamutwala mu kifo ekyekusifu ne bamukebera ng’ekkundi lye, ppanvuyirivu mbu omu kwe kugamba munne nti, ono si gwe twagala tumuleke addeyo, bwatyo muwala wange ‘Goonya’ ne zimuwanda,” Jackie bwe yagambye.

RIHANA AZUULIBWA: Kigambibwa nti waliwo omuzira kisa eyalaba omwana ono ng’ayimiridde okumpi n’oluguudo olugenda e Garuga, bw’atyo namutuukirira era mu kwogera naye, we yakizuulira nti, ye mwana eyali anoonyezebwa, era baali bamulanga buli kiseera ku mizindaalo.

Yatwalibwa ku poliisi e Mpala gye yaggyibwa n’atwalibwa ku Bayitaababiri, n’oluvannyuma n’ayongerwayo ku poliisi e Ntebe, n’akwasibwa bazadde be mu butongole. Taata w’omwana ono Moses Kizito, ow’e Mityana musuubuzi era ebiseera bye ebisinga abeera mu South Sudan.

SOPHIE MURPHY ABULA Ono muyizi mu siniya eyookubiri, ku ssomero lya Victoria SSS, erisangibwa e Ntebe. Bazadde be baddukira ku poliisi y’e Ntebe ne baggulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 75/27/04/2018, oluvannyuma lw’obutadda waka bwe yali agenze okunona lipoota ye ku ssomero, ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Ekitongole kya poliisi ekya ‘Flying Squad’ oluvannyuma kyamuzudde ng’ali n’omuvubuka omu, eyabadde akubira maama w’omwana Linda Natasha Karugaba, essimu ng’amutiisatiisa okutuusa obulabe ku muwala we, singa tamuweereza ssente 4,000,000/-. “Waliwo omuvubuka asoma siniya eyoomukaaga ku VictoriaSSS, ayitibwa Lunas Mpagi, eyayise mu muwala ayitibwa Angel, ne bankubira essimu nga bagamba nti bamanyi Murphy, gyali nti era singa mbawa ssente obukadde 4, basobola okumuntuusaako.

Nadduse za mbwa ne ntegeeza ku DPC wa poliisi y’e Ntebe, SP Mission, eyakoze obwangu nayingizaawo aba ‘Flying Squad’ oluvannyuma abaakutte Angel eyasobodde okututuusa ku muwala wange,” bwatyo Natasha bw’annyonnyola.

Eky’okuba nti yabadde apanze n’abavubuka bamusabe ssente obukadde 4, agamba kyamukubye wala nnyo, n’atuuka n’okwebuuza oba ddala omwana ono mulamu omutwe oba nedda.“Simanyi kyatuuka ku mwana wange, nali nasalawo ne mutwala ewa jjajja we e Bunyoro, kyokka n’alemwayo kwe kumukomyawo ne ntandika okubeera naye.

Naalirowoozezza nti, bavubuka be bamwonoonye, naye eky’onkusaba ssente kyankubye wala! Muwala wange yaliko ku Taibah College, ne bamugobayo olw’okusoma kwe okunafu naye abadde tabulangako lwa nsonga ya kusoma bubi,” bwatyo Natasha bwe yayongeddeko.

Wakati w’omwaka 2017 ne 2018, emisango gy’okuwambibwa kw’abantu gyeyongedde okusinziira ku b’ebyokwerinda. Mu February 2018, mwokka, emisango gy’okuwamba abantu egisoba mu mukaaga, gye gyaloopebwa ku poliisi ez’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.