TOP

Ennyonyi za Amerika zizzeemu okukuba Syria

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2018

Ennyonyi za Amerika zizzeemu okukuba Syria

Deb2 703x422

Omusajja ng’ataasa abaana okuva mu kizimbe.

AMERIKA eyongedde okwoleka obukambwe ng’eddamu okukuba Syria. Ku mulundi guno, ebayungulidde ennyonyi mutasubwa ez’ekika kya F-15 Fighter Jets ne zongera okukuba enfo z’amagye ga Syria n’okutta abajaasi ba Pulezidenti Bashar al Assad. Ebimyanso, erikka n’okubwatuka okw’amaanyi byasisimudde abaabadde mu tulo nga Amerika ezinze ekuba obutasalako.

Baayokezza n’okusaanyaawo enkambi z’amagye ga Assad nga tewali kisa wadde. Assad yasoose kuwaga ng’agamba nti ennyonyi Abamerika ze bakozesa naye azirina, wabula mu ssaawa y’okukuba; ennyonyi za Assad zaabuzizza omuliro ne zireka eza Amerika okusaanikira obwengula.

Amerika yayungudde ennyonyi zino ng’ekolagana butereevu ne Yisirayiri era kigambibwa nti kano kakodyo ka Donald Trump okuwudiisa Russia ne Syria nti Abayisirayiri be babakuba era akozese omukisa ogwo okubalaalika nti, “Yisirayiri w’ebakubidde bw’etyo,kinaabeera kitya nga Amerika eyingiddewo!

Akakodyo kano kigambibwa nti kagendereddwa okwongera okutiisa Assad ku biyinza okuddirira singa ayongera okucookooza Amerika ne banywanyi baayo okuli Bungereza, Bufaransa, Yisirayiri n’amawanga amalala naddala mu Bulaaya.

Kyokka Syria erumirizza Amerika yeekweka mu Yisirayiri okubakuba nti era ne mu lulumba luno bwe kyabadde. Gavumenti ya Syria yayongedde okuwera nti wadde Amerika egenda mu maaso n’obulumbaganyi bwayo, tebagenda kupondooka.

IRAN ESOMBA BYAKULWANYISA OKUBIYINGIZA E SYRIA

Syria yagenze okulaalika nga bw’egenda okwesasuza ku Amerika ne Yisirayiri nga ne Iran eri mu kukuluumulula byakulwanyisa okubiyingiza enkambi z’amagye endala mu Syria. Ennyonyi ennwaanyi Iran ze yaleese yaziyisizza ku mmeeri nga kuliko mizayiro ezikuba omulabe ali ku ttaka n’ezikuba ali mu nnyonyi.

Emmundu lwasamayinja okuli ezikuba ennyonyi wabula Amerika erabudde nti bino byonna babikola ebalaba era yamaze dda okugwa mu lukwe lwe balimu okutuusa obulabe ku Yisirayiri. Amerika okulumba n’okukuba Syria, yasinzidde ku mawulire agaagiweereddwa ebitongole ebikessi.

Avigdor Lieberman akulira ebyokwerinda mu Yisirayiri, yategeezezza nti Iran eri mu nteekateeka ya kutuusa bulabe ku Yisirayiri ng’esinziira ku by’e Syria kyokka beetegefu okwanukula mu ngeri ejja okulaga amaanyi ge babadde basirikidde.

Enfo Amerika ze yakubye e Syria kyaddiridde okufuna ebyama okuva mu kitongole kya Yisirayiri ekikessi ekya Mossad nga biraga nti Iran yabadde emaze okutuusa ebyokulwanyisa mu Syria n’ekigendererwa eky’okuyamba Assad mu kutabaala enfo z’abayeekera abawagirwa Amerika bazisesebbule.

Ng’oggyeeko mizayiro ze baakubye, waliwo n’enkambi z’ekibinja kya 47 mu magye ga Assad, gye baakubye ne baleka abajaasi ba Assad abawerako nga bafu. Enkambi zino zibadde za kyama nnyo era Assad z’abadde yeesiga nti ne bwe bakuba ez’olwatu ezirabibwa, asobola bulungi okuggyayo ebyokulwanyisa bye yakukulira mu ttaka n’alumba omulabe.

Omukago ogugatta Iran, abayeekera ba Hezbollah ne Syria baakakasizza nti abalwanyi baabwe abasoba mu 80 baabadde tebeekakasa oba baabadde bakyekukumye mu nfo ezeekyama ezaasaliddwaako ebyempuliziganya oba ddala baafudde.

Lieberman yagambye nti we bwazibidde ku Lwokusatu nga Yisirayiri erina ebizibu bina ebigibobbya omutwe era kuliko; Iran, Iran, Iran ne bannanfuusi!! Bino we bijjidde, nga Katikkiro wa Yisirayiri Benjamin Netanyahu yaakamala okukwasa Amerika ebiwandiiko bye yategeezezza nti Mossad yabibbye ku Iran nga byoleka pulaani namutaayiika gye balina ku kuweesa ebyokulwanyisa nnamuzisa.

Minisita wa Iran owebyokwerinda yayanukudde n’ategeeza nti Amerika ekyawaga Yisirayiri ebeefuumuulireko e Syria kyokka bwe banaayanukula buli muntu ajja kukwata ku mumwa kubanga bamanyi bulungi enfo za Amerika ne Yisirayiri we bayinza okubakuba ne babalumya nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu