TOP

Abakazi battidde omusajja mu nnyumba ne badduka

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2018

Abakazi battidde omusajja mu nnyumba ne badduka

Sed1 703x422

Ssekimuli

ABAKAZI balumbye omusajja mu muzigo gw’abadde yaakapangisa ne bamutta ne badduka. Attiddwa ye Hussein Ssekimuli omutuuze w’e Kasubi mu Zooni 4. Omulambo gwe gwasangiddwa mu muzigo gw’abadde yaakamalamu ennaku bbiri ku Lwokusatu. Okusinziira ku baliraanwa, omwami ono yandiba nga yattiddwa oluvannyuma lw’akunyoolagano n’abakyala ababiri mu nnyumba ye.

Omu ku baliraanwa abasula ku mizigo gino yategeezezza nti Ssekimuli yajja ku Mmande ku ssaawa 10:00 ezakawungeezi ng’alina omufaliso omupya n’ebintu mu kaveera n’ayingira mu nnyumba oluvannyuma n’afuluma kyokka ku ssaawa 4:00 ez’ekiro n’akomawo n’omuwala ne bayingira ennyumba. “Kyokka ate ku ssaawa 6:00 ez’ekiro omukyala omulala yazze ng’ali ku bodaboda ng’akutte ekitereke ky’emmere.

Bwe yatuuse munda ne wabaawo okuwaanyisiganya ebigambo wakati w’abakazi bano nga buli omu awoza, ‘omwami wange’ okutuusa bwe baafulumye bombi ennyumba ne balinnya bodaboda eyabadde ku mulyango ne bagenda’,’ bwatyo muliraanwa bwe yannyonnyodde.

Wabula ku nkya ya leero banne b’abadde akola nabo e Nakulabye mu saluuni bwe baalabye tebamulaba nga n’eggulo teyakoze ate nga tannabakubira ssimu nga ne bwe bakuba eyiye teriiko ate nga y’atereka ebisumuluzo, kwe kujja balabe ekyamutuuseeko. Kyababuuseeko okutuuka ku kazigo ke nga kaggule, omulambo gwevuunise ku buliri. Omu ku banne b’akola nabo yagasseeko nti Ssekimuli tabadde na buzibu bwonna wabula baayawukana ne mukyala we ebbanga eriyise nga mu kiseera kino abadde alina omuwala omupya gw’abadde yaakafuna.

Nti ono yandiba nti ye yamuwalirizza n’okupangisa omuzigo guno kuba baasemba okumulabako ku Mmande ng’aguze omufaliso omupya kyokka kibeewuunyisizza okuddamu okumanya nga mufu.

Omulambo gwa Ssekimuli gwaggyiddwaawo poliisi ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa. Poliisi egaanyi okubaako ky’eyogera ku nsonga eno kyokka ye Ssentebe wa LC mu kitundu kino, Kasule Mukiise yavumiridde ekikolwa ky’abasajja okumala gaganza bakazi ne babeesiga mu bwangu okutuuka n’okusula nabo kuba kyandiba ng’ettemu lino lyamukoleddwaako abakyala bano ne bamala ne badduka n’asaba poliisi ekole okunoonyereza mangu bazuule abaamusse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be