TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gy'oyinza okulabirira omuliro ne gutasajjuka

Engeri gy'oyinza okulabirira omuliro ne gutasajjuka

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2018

Engeri gy'oyinza okulabirira omuliro ne gutasajjuka

Lub2 703x422

Dr. Brian Membo ng’akebera omwana eyaggya obuugi mu ddwaaliro e Kiruddu.

Abantu bangi bapooca mu ddwaaliro oluvannyuma lw’okwokebwa omuliro ate ng’ebintu ebisinga ebivaako okuggya omuliro tusobola okubyewala nga twegenderezza naddala ng’okutte ebyokya, obutakozesa musubbaawa oba tadooba, ate bw’otamiira tosemberera muliro oba ebyokya.

Obutaganya baana kuzannyira wali byokya n’okwambala ebintu ebitayitamu muliro mangu naddala ng’okola omulimu ogulimu omuliro ng’abamu ku bantu abakosebwa omuliro bwe bannyonnyola.

Omuliro ogwa va ku musubbaawa katono gunzitire omwana “Zaali ssaawa bbiri ez‘ekiro ne hhenda okugulira omwana wange obummonde. Naleka nkoleezezza omusubbaawa nga n’omwana mmuzazise mu buliri, kwe kusaba mukwano gwange amunkuumireko.

Ebyembi naye yafuna ekimwetaagisa n’avaawo n’aleka omwana ng’akyebase. Eby’embi empewo yafuuwa omusubbaawa omuliro ne gukwata olutimba omwana n’aggya okutuukako ng’omutwe gwonna guleenya.

 iana abulime nomwana we eyaggya omuliro ogwava ku musubbaawa Diana Nabulime, n’omwana we eyaggya omuliro ogwava ku musubbaawa.

Twasooka mu bulwaliro obutono ne batusindika e Mulago era kati agenda awona,” Diana Nabulime omutuuze w’e Kawempe mu Kiganda Zooni bw’alojja. ssigiri eyaka gye nasuza mu nju katono enzite Nze Irene Kyolaba, mbeera Kawaala - Kasubi.

Ku lunaku lwe naggya, nali nsuzizza ssefuliya y’amazzi ku sigiri ne nsisimuka ku ssaawa 10 ez’ekiro ng’ennyonta ennuma kwe kusituka hhende mu firiigi nfune ekyokunywa, kammunguluze gye yankubira ne ngwa mu ssefuliya y’amazzi ne ganjiikira. Bwe nadda engulu ne nneeyiira amazzi amabisi okuvubiriza ku bulumi ne nfuna ebisumuluzo ne nzigulawo.

Wabweru waaliwo omuvubuka eyali asiika capati gwe nayita n’antwala mu ddwaaliro. Naye buli kalwaliro ke yantwalangako nga bangoba okutuusa bwe yandeeta e Mulago ne batandika okunzijanjaba era kati nninawo enjawulo.

Dr. Robert Ssentongo, omukulu w’ekitongole ekijjanjaba omuliro e Mulago yategeezezza nti ebivaako abantu okuggya omuliro bingi bisobola okwewalika. ebiSINGA OKwokya

Abantu 80 ku buli 100 abagenda mu malwaliro babeera baggyiridde waka, era ku bano 60 ku buli 100 babeera bayidde ebyokya ng’amazzi, obuugi, amata n’ebirala. l Omuliro ogwokya obutereevu nga guvudde mu kyoto ne gukwata engoye, nga guvudde ku sigala atazikiziddwa n’abettima abookya bannaabwe.

Amasannyalaze, gookya mu ngeri bbiri, go gennyini naye ate gamanyi okukasuka ensasi z’omuliro era ze zisinga okwokya abantu.

Gano gasinga kwokya bazimbi nga bagakoonyeko, abasula mu nnyumba ez’omugotteko ababbirira amasannyalaze. Ku bantu 100 be tufuna abayidde, bataano babeera bookeddwa masannyalaze.OMULIRO GUSINGA KWOKYA BAANA Abantu abasinga okwokebwa omuliro ba mirundi ena, omuli:

Abaana abato: Kuba tebategeera bulabe buli mu kuzannya na muliro. l Ekizibu ekiriwo mu bibuga abantu bangi amasiga bagassa ku mbalaza ate nga n’abaana we bazannyira ekireetera abaana okuggya.

Ekirala, abazadde batandisa mangu abaana okufumba era bangi bayidde bafumba kyokka nga bato.

Okusula mu nnyumba enfunda nakyo kivaako abaana okuggya kubanga bwe batuuka okwebaka, nga bateekawo obutimba, abaana bana mu katimba kamu ate ne bakoleeza n’omusubbaawa okukkakkana ng’akatimba kakutte omuliro.

 rene yolaba essigiri yamuleetera obuzibu Irene Kyolaba essigiri yamuleetera obuzibu.

 

2 Abakadde: Abakadde abamu batera okwambala engoye empanvu nga gomesi nga bafumba, oluusi ne zikoona mu masiga oba mu sigiri ne zikwata omuliro, ne gubookya.

3 Abakozesa ebiragalalagala oba ebitamiiza: Bino biremesa omuntu okwetaasa amangu ng’afunye obuzibu. Oli bw’akoleeza akabiriiti asuula wansi nga kakoleeza ebiriwo ate nga mutamiivu, tasobola kwetaasa muliro, ng’aggya.

4 Abalwadde b’ebigwo oba abafuna ebigwo eby’olutentezi nga tebiriiko kibireeta: Bw’oba n’omuntu ow’ekika kino ku mwana omuto, kakasa nti w’ofumbira tasobola kutuukawo, oyinza okuzimba amasiga ne gabeera waggulu oba okuteeka omwango omuwanvu ku ffumbiro.

Emisubbaawa ne tadooba gifunire ekifo eky’enjawulo w’ogiwanika oba okukozesa amasannyalaze g’enjuba.

Okujjanjaba ebigwo kubanga biwona nga tebisobola kukukosa ate abafuna ebigwo eby’olutentezi nga tebiriiko nnyo kibireeta, weewale okusemberera ebyokya wadde ng’oli ku ddagala.

Obulabe bw ’omuliro 1 Omuliro bwe gwokya omuntu, omukka oguguvaako guba gwa bulabe era gufuuka butwa mu mawuggwe kuba gukosa akabubi akagakuuma nga malamu. Obutwa buno bweyongera ssinga ekintu ekiyidde kiba kyakolebwa mu polyester nga emifaliso egya sipongi, engoye n’ebirala.

Mu bujjanjabi bw’omuliro, omubiri gw’omuntu gugabanyizibwamu ebitundu 100. Ssinga omuntu aggya ekisukka ku bitundu 10 ku buli 100 eby’omubiri gwe, omuliro gusobola okukukolako obuvune obusukka ku w’olaba.

Omutwe 9%, ensingo eri ebitundu 9%, omukono 9%, ekifuba 9%, omugongo 18%, amagulu 18%, lubuto 9%, ebitundu by’ekyama 1% n’ebitundu ebirala ne bitwala ebitundu 18% nga bw’obigatta bikola ebitundu 100 ku 100.

Ku buli kitundu ekiyidde ssinga bituuka ku bitundu 10 ku buli 100, omulwadde oyo aweebwa ekitanda kuba embeera ye teba nnungi ng’ayinza okuggwaamu amazzi nga n’omusaayi tegukyatambula bulungi.

Ate olw’okuba omubiri nnyama bwe gulwawo, obuwuka butandika okugulya n’ofuna yinfekisoni. Obujjanjabi obusook erwako ng’omuntu ayi dde: Olw’okuba ebbugumu libeera waggulu, ky’olina okusooka okukola kwe kukkakkanya ebbugumu ng’okozesa amazzi agannyogoga amayonjo.

1 Yiwa amazzi agannyogoga ku kiwundu okumala eddakiika 10 kubanga gayamba okuweweeza ku buvune ekiziyiza omuliro okutambula.

2 Tobaako kintu kyonna ky’oteeka ku kiwundu (tossaako bizigo, butto, ebisooto, omusenyu, sukaali wadde omubisi gw’enjuki. Bino bisaka ebbugumu n’okusikiriza obuwuka ekireetera omuliro okutambula n’okwongera obuvune.

3 Laba omusawo amangu ddala ng’ofunye akabenje k’omuliro kikusobozese okufuna obujjanjabi obutuufu. Obujjanjabi bw ’omuliro Omubiri guwona ne gwezzaawo ssinga ekitundu ekiyidde kiba wansi w’ebitundu bibiri ku buli 100 (2%) nga ze mbatu bbiri ez’omubiri naye bwe kisukkako awo, omubiri guba gulina okuyambibwako okuwona.

Waliwo eddagala eriteekebwa ku kiwundu obutereevu, erimu liyisibwa mu misuwa, n’eddala lya kumira okusobola okuzzaamu omubiri amaanyi, okutangira yinfekisoni n’okukuuma awayidde obutayingirawo buwuka.

Ssinga olususu luba terusobodde kwezzaawo oluvannyuma lwa wiiki bbiri, twewola olususu awalala ne tuluteekawo ne wawona mangu.

ENDABIRIRA Y’enko vu Ssinga omuntu abeera n’ekiwundu nga tekiwonye okumala omwezi mulamba, ofuna enkovu ey’olubeerera. Obutonde bw’olususu, lulimu obufo obukola omuzigo naye omuntu ayidde omuliro omungi, olususu lwe luba terukyakola muzigo ogwo era luba lwa kikalappwa, lwatikayatika era nga lusobola okuddamu okukola amabwa amalala era gano bwe gagenda mu maaso okumala emyaka egisukka mu 10, afuuka kookolo.

Enkovu olina okuzikuuma nga ziweweera ng’okozesa ebizigo ebyabulijjo omutali ddagala lyonna.

Enkovu z’omu nnyingo zo zifufunyaza ennyingo era emirundi egisinga obeera weetaaga okuddamu okulongoosebwa okuzigolola. Engeri y’oku ziyiza okwok ebwa omuliro l

Kozesa amasiga oba essigiri entereevu ng’entobo ngazi ne bw’oba ogikoonyeko, tegwa. Kugira oba teeka olukomera ku kifo ekifumbirwamu ng’omwango oguyingira effumbiro guli fuuti emu okuva wansi, kuba omwana tasobola kugubuuka kutuuka w’ofumbira era wabeere nga waggalwa.

Tokkiriza baana kubeera awali ebyokya.

Tolekanga omusubbaawa oba tadooba ng’eyaka ng’ogenda okwebaka oba ng’ofuluma ennyumba yo. l Bw’otamiira tosemberera wali muliro oba ebyokya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...