TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluwoko ddagala ku bulwadde bw'ebigenge n'ettalo

Oluwoko ddagala ku bulwadde bw'ebigenge n'ettalo

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2018

Oluwoko ddagala ku bulwadde bw'ebigenge n'ettalo

Jub3 703x422

Omuvubuka ng'anoga ebikoola by'oluwoko.

OBULWADDE bw'ebigenge buludde nga weebuli newankubadde ensangi zino busobola okukwata omuntu natasooka kubumanya nti bwebwo okutuusa lw'agenda mu ddwaaliro ne bamukebera.

Jane Nanteza omutuuze w'e Busuubizi mu disitulikiti y'e Mityana yagambye nti, ebigenge nga bikukutte tekiba kyangu kuwona naye bwe weeyambisa oluwoko osobola bulungi okutereera.

Bw'okizuula nti obulina sima emiranira gy'oluwoko ogyanikeko gikale oluvannyuma ogisekule ofunemu ensaano. Bw'omala okunaaba weesiige omubiri gwonna kubanga obulwadde buno butera kulabikira ku bigere naye bubeera mu mubiri gwonna. Buli lwe weesiiga kiyambako obuwuka obuleeta obulwadde buno okufuluma era kino kikole emirundi ebiri buli lunaku bw'onyiikira mu bbanga ttono ebigenge biwona. Akwatiddwa etalo naawe oluwoko lukujjanjaba bulungi.

Noga ebikoola by'oluwoko bisekule bigonde bulungi funa ettaka ly'ekiswa ekifulufu litabule wamu n'ebikoola by'omaze okusekula genda nga weesiiga awali obuzibu. Bwe kuba kugulu kusiige kwonna kiyambeko okuziyiza obulumi okutambulira mu bitundu by'omubiri ebirala era mu ngeri y'emu kikole emirundi ebiri olunaku ku makya n'olweggulo.

Bw'oba weesiiga eddagala lino fuba okulaba ng'osiimuula ozza wansi kubanga gy'okoma okusiimuula ng'oza waggulu eddagala lino litambula n'obusagwa obuba buleeteddwa obulwadde obw'ettalo era bw'oteegendereza busobola n'okukutuuka ku mutima ate nga bw'osiimuula ng'ozza wansi obusagwa buba bufuluma bufulumi omubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.