TOP

Giigino emisango egitemyako nnamba puleeti ya mmotoka yo

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd May 2018

Giigino emisango egitemyako nnamba puleeti ya mmotoka yo

Kub2 703x422

Owa poliisi ng’atema ennamba ku mmotoka.

POLIISI y’ebidduka etera okusuula ekiddo n’etandika okutema nnamba puleeti za mmotoka eziba zikwatiddwa mu misango egy’enjawulo. Wabula olumu embeera gye batemerako nnamba zino ebuzaabuza. ye ani alina okugitemako? Bwe bagitwala ngisanga wa? era musango ki ogutemyako nnamba? Bino bye bimu ku bibuuzo abavuzi ba mmotoka bye beebuuza.

ACP Charles Ssebambulidde akulira okukwasisa empisa ku nguudo mu ggwanga avuddeyo n’atangaaza ku nsonga lwaki emmotoka esobola okutemwaako ennamba ate n’emitendera mwe bayita okuzitemako.

ACP Ssebambulidde yagambye nti; Mu mateeka agafuga entambula y’ebidduka buli mmotoka eri mu mbeera embi (Dengerous Mechanical Condition (DMC) eba terina kubeera ku luguudo, ssinga nnyiniyo agireetako poliisi n’egikwata, egitemako nnamba ne balagira nnyiniyo okugitwala mu galagi agikomyewo ng’amaze okugikanika poliisi n’egyetegereza, bw’eba eri mu mbeera nnungi n’addizibwa nnamba ya mmotoka ye.

Emmotoka eyo poliisi yandibadde egitwala, naye olw’obutaba na paakiingi ky’eva egiwa kasiriingi okugitwala mu galagi. Ssinga bamukwata nga si gy’agitwala ate gufuuka musango era etwalibwa ku poliisi e Naggulu awakuumirwa mmotoka ezizza emisango ate ddereeva wa kasiri- ingi n’atwalibwa mu kkooti n’avunaanibwa. Omukugu wa poliisi mu kwekebejja mmotoka Inspector Of Vehicles (I.O.V), y’aduumira ebikwekweto by’okutemako nnamba.

Ono alina obukugu obulaba mmotoka DMC, ssinga poliisi egikwata n’akakasa nti eyo nga bagiggyako ennamba. Naye ssinga azuula nti mmotoka tekyali mu mbeera ekanikibwa alina obuyinza obugigobera ddala ku luguudo ne bagitema sikulaapu.

Mmotoka ssinga eba mu mbeera esobola okuleeta akabenje okugeza ng’emipiira giweddeko, terina bbuleeki, teyaka mataala gonna, teriiko butaala mabega busobola kulabula mugoba mulala nti mu maaso waliwo mmotoka eyimiriddewo, akayumba kaayo nga ganyegenya n’ebirala. Ng’oggyeeko DMC, ssinga mmotoka esangibwamu ebipapula nga biyiseeko ennaku 28 etemwako nnamba n’osooka osasula ebipapula n’oluvannyuma ne bagikuddiza.

Bw’osangibwa ng’osimbye mmotoka mu kifo ekikyamu ng’eyinza okuvaako akabenje nayo etemwako nnamba. Ssinga okwatibwa ng’ovugisa ekimama bagitemako. Bakuweerako ekipapula era osooka kukisasula ku poliisi ne balyoka bakuddiza nnamba yo. Ku misango egitagwa mu kkowe lya DMC, omuserikale w’ebidduka ali ku ddaala lya Inspector (alina obuyinja obubiri), akkirizibwa okutemako ennamba ya mmotoka. Mu kutemako nnamba ya mmotoka, omuserikale akikola alina okwegendereza obutayonoona mmotoka ya muntu.

Ssinga akikozesa obulagajjavu n’ayonoona mmotoka yo, osobola okumuwawaabira n’avunaanibwa ekintu kye kimu ku muserikale atalina buyinja bubiri okutemako nnamba ya mmotoka naye aba azzizza omusango kubanga amateeka tegamukkiriza kugitemako.

Bwe batemako nnamba, okugifuna ogenda ku poliisi y’omu kitundu ekyo we baagitemerako era omuserikale agitutte mubuuze gy’onooginona. Wabula ssinga wayita emyezi mukaaga nga tonnaginona, awo oba ojja kugisinga mu URA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.