TOP

Musisi ayongezza Lukwago ne bameeya emisaala

By Musasi wa Bukedde

Added 4th May 2018

Musisi ayongezza Lukwago ne bameeya emisaala

Jen2 703x422

Jenifer Musisi ng'annyonnyola

DAYIREKITA wa KCCA, Jennifer Musisi Semakula, ayongezza omusaala gwa Loodi Meeya n’emisaala gya Bammeeya ne bakansala bonna mu Kampala okutandika ne July w’omwaka guno.

Ebbaluwa eyawandiikiddwa Musisi n’agiweereza minisita wa Kampala, Beti Kamya n’abakulembeze abalala mu kibuga ne Gavumenti ya wakati yalaze nti abakulembeze bonna abalonde bagenda kwongezebwa emisaala ekintu kye baludde nga basaba. Loodi Meeya, Erias Lukwago abadde afuna 18,780,555/- buli mwezi agenda kufunanga 22,536,666/- oluvannyuma lw’okumwongeza 3,756,111/-.

Omumyuka wa Loodi Meeya ekirimu Sarah Kanyike Sebaggala buli mwezi waakusasulwanga 16,364,666/- okuva ku 13,637,222/- z’abadde afuna. Bamwongezza 2,727,444/- buli mwezi. Bammeeya ba munisipaali okuli; Ronald Balimwezo ow’e Nakawa, Joyce Nabbosa Sebuggwawo ow’e Lubaga, Ali Kasirye Nganda Mulyanyama ow’e Makindye, Charles Musoke Sserunjogi owa Central ne Emmanuel Sserunjogi ow’e Kawempe nabo bagudde mu bintu. Buli omu waakusasulwa 13,257,991/- okuva ku 11,048,326/- ze babadde bafuna buli mwezi.

Bongeddwaako 2,209,665/- buli omu. Abamyuka ba bameeya ba munisipaali bagenda kufunanga 10,158,000/- okuva ku 8,465,000 ze babadde bafuna. Buli omu bamwongeddemu 1,693,000/- buli mwezi. Bakansala abakiika ku Authority abatuula ku City Hall babadde bafuna 4,450,000/- buli mwezi, kyokka kati bagenda kusasulwa 5,117,500/- oluvannyuma lwokwongezebwako 667,500/-. Ate bakansala abatuula ku munisipaali e Lubaga, Kawempe, Makindye, Nakawa ne Central buli mwezi baakusasulwanga 4,025,000/- okuva ku 3,500,000/- ze babadde bafuna. Buli kansala bamwongezza 525,000/-.

 

Ssente ezaayongezeddwa ziweramu obuwumbi bubiri buli mwaka. Omusaala gwa Loodi Meeya, omumyuka wa Loodi Meeya, Bameeya n’abamyuka baabwe bongezeddwa ebitundu 20 ku buli 100 ate bakansala bongezeddwa ebitundu 15 ku buli 100. Ng’ogyeko emisaala emisava, Loodi Meeya, omumyuka wa Loodi Meeya, Bameeya, n’abamyuka ba Meeya bagenda kufuna emmotoka z’ekikungu awamu n’abazivuga. Bwe banaabanga tebabifunye bajja kusasulwangamu ssente. Abamyuka ba bameeya aba munisipaali bagenda kufunanga 2,500,000/- buli mwezi ez’okubayambako mu by’entambula buli mwezi.

Buli kansala agenda kusasulwa emitwalo 30 ez’ensako buli lwe banaatuulanga nga kuliko emitwalo 10 ez’entambula.

OLUTALO LW’OKWONGEZA EMISAALA LUMAZE EMYAKA MUKAAGA

Olutalo lw’okwongeza emisaala gya bannabyabufuzi mu Kampala lututte ekiseera kiwanvu era nga Jennifer Musisi ye yasooka okwagala okubongeza ebitundu 30 ku buli 100 mu 2011, kyokka ne kiyimirizibwa.

Oluvannyuma lwa Beti Kamya okulondebwa ku bwaminisita wa Kampala yattukiza eky’okwongeza emisaala gya bannabyabufuzi era yatuulako ne bakansala enfunda eziwera nga bakimusaba naddala mu May w’omwaka oguwedde.

Nga July 24, 2017, Kamya yawandiikira Musisi ebbaluwa nga yeemulugunya ku ngeri gye yali yeekyusizza n’atayongeza misaala gya bannabyabufuzi era ebbaluwa yategeeza nti; “Mu 2011 emisolo gya KCCA lwe gyali emitono wali osazeewo okusasula Loodi Meeya obukadde 36, omumyuka wa Loodi Meeya obukadde 29, bakansala ba City Hall obukadde 12 ate bakansala ba Munisipaali obukadde mwenda. Emu ku nsonga eyagaanyisa okwongeza emisaala teryali bbula lya ssente.

Mu kiseera kino ng’omusolo ogukung’anyizibwa gweyongedde ate lwaki ogaana okwongeza omusaala n’ebitundu 30 ku buli 100? Nga ne Palamenti yamala dda okuyisa obuwumbi obubiri zongezebwe,” Kamya bwe yawandiikira Musisi. Mu kwanukula Musisi yagamba nti yali tasobola kwongeza bannabyabufuzi ssente kuba ekitongole kya KCCA kyali kiremeddwa okukung’anya ssente ze baaluubirira okufuna.

Okusika omuguwa kuno kwatuusa bakansala okuyisa ekiwandiiko nga basemba Pulezidenti agobe Musisi ku bwadayirekita bwa Kampala kuba yali agaanye okubongeza omusaala wadde kyali kiyisiddwa ne Palamenti.

Kamya yategeeza Musisi nti ennyingo ya 77 ey’etteeka lya KCCA Act, 2010 liwa minisita wa Kampala obuyinza obwongeza emisaala gya bannabyabufuzi mu kibuga. Ebbaluwa ya Musisi eyawandiikiddwa ku Lwokusatu nga May 2, 2018 ng’akkiriza okwongeza emisaala gy’abakulembeze abalonde yagambye nti emisaala emipya gyakutandika okusasulwa mu July wa 2018. Yagambye nti baasobodde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...