TOP

Butto wa kasumaali asumulula ppata z’obwagazi bw’omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

OMUNTU eyali alidde ku piraawo, olina okuba nga walya ku kasumaali (clove), kubanga kye kimu ku birungo ebibeera mu piraawo masala gwe bakozesa mu kufumba omuceere.

Clove0 703x422

Kasumaali (clove) amulisizza

Ono asinga kulimwa ku mwalo e Zanzibar era Bannayuganda bangi mugenda ne muwummulirayo.

Ku mulembe gw’Abazungu, kasumaali yatinka nnyo olwa kkampuni ebbiri okuvuganya nga bamutunda ebweru naddala Buyindi n’ensi endala. Kkampuni zino kuliko Bristish East India Company ne Dutch East India Company era yali wa ttunzi mu biseera ebyo n’okusinga zaabu.

Ebiseera bwe byagenda bitambula, kasumaali yatuuka mu Uganda era waliwo abantu abamusimbye. Omuti gutwala emyaka musanvu ne gutandika okubala ate guwangaala emyaka egisoba mu 100.

Leero njagadde okukulaga emigaso egy’enjawulo egya kasumaali gwe tukozeemu butto;

 • Alina akasekere, musiige ku liiso ajja kukuyamba okutta obuwuka obukaleeta.
 • Akola ebyokunywa nga obutunda, abafumba keeki n’ebirala osobola okumukozesa ng’akawoowo ng’oteekamu amatondo 3.
 • Ayamba ku yinfekisoni kubanga atta obuwuka obuzireeta naddala abo abakozesa ebiyigo eby’olukale.
 • Abantu abakola ennyo ne bakoowa ssinga omwesiiga ku misuwa ku mutwe akuyamba obutalumwa mutwe.
 • Ku balwadde ba puleesa, abayamba omusaayi okutambula obulungi ne bawona okusannyalala.
 • Ku baana n’abantu abakulu abataagala kulya, kasumaali agoba ebiwuka mu lubuto omuntu n’aba ng’ayagala okulya.
 • Mulungi ku bantu abava omusaayi mu bibuno naddala nga basenya, yozaamu ne butto wa kasumaali mu kamwa.
 • Ayamba okujjanjaba abalina ebituli mu mannyo, bw’otonnyeza mu bituli ne lisirikirawo.
 • Awunya akamwa omugatta ne katunguluccumu n’agoba olusu. Olina kusooka kugaaya katunguluccumu n’oluvannyuma n’oyozaamu ne butto wa kasumaali.
 • Afumba piraawo, omuceere n’emmere endala teekamu amatondo 3 n’aleetamu akawoowo akaagazisa omuntu okulya.
 • Kasumaali ayamba mu kusa emmere, abantu abalwa n’omukkuto n’ebavundira mu lubuto bw’amukozesa ayamba ekyenda okusa amangu emmere. Mu mbeera eno, ddira amatondo 5 ogattemu ekisula ajja kukukolera.
  Atta obuwuka obuleeta embalabe n’akunyiriza olususu.
utto wa clove ate ku mabbali bwe bumuli bwe obukaziddwa Butto wa clove ate ku mabbali bwe bumuli bwe obukaziddwa.

 

 • Ekintu kye kimu ku basajja abavumbeera, abayamba okuba nga basaza kimu.
 • Ababulwa otulo, muteeke ku katto ke weezizika akuyambe okukkakkanya ebirowoozo ofuna otulo.
 • Ayamba ku balina amabwa mu bulago, ate ku mwana atannamera mannyo osobola okumusiiga ku bibuno n’atasiiyibwa mannyo nga gamera ate tegasiriira ne bw’oba omuwa sirapu.
 • Akuyamba okugoba ensiri ssinga omufuuyira okwetoloola awaka kuba alimu ekirungo ekigoba ensiri ate si kya bulabe eri abantu.
 • Ku bakyala abatatera kufuna bwagazi, butto wa kasumaali abayamba okufuna obwagazi ssinga omuteeka ku ppiro.

Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 /

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...