TOP

Palamenti eragidde Minisita Nakiwala ku baana b'oku nguudo

By Muwanga Kakooza

Added 5th May 2018

OMUMYUKA wa sipiika, Jacoub Oulanyah alagidde Minisita w’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi okuleetera Palamenti lipooti enzijjuvu ekwata ku baana b’oku nguudo. Kigambibwa nti abaana 15,000 be bayayaatira ku nguudo.

Mata 703x422

Minisita Nakiwala Kiyingi

Mu ngeri y’emu ababaka  ba Palamenti basabye gavumenti okulondoola ebigambibwa nti waliwo abantu abakung’anya abaana ne babaleeta ku nguudo mu bugenderevu basabirize ssente.

Bino byabadde mu Palamenti eyakubiriziddwa Oulanyah ng’eteesa ku kiteeso ekyaleteddwa omubaka Benard Atiku nga kikwata ku kukuza olunaku lw’abaana b’oku nguudo. Olunaku lukuzibwa April 12 buli mwaka.

Olunaku luno ugendererwamu okuyamba abaana b’oku nguudo okufuna eddoboozi  ne gavumenti okusobola okubayamba. Atiku yagambye nti eby’okukuza olunaku luno mu Uganda biyisibwako amaaso.

Omubaka Allan Ssewanyana (Makindye West) yasabye gavumenti okuyamba abaana b’oku nguudo ebafuule abantu ab’omugaso. N’agamba nti bwe baba bafiiriddwaako bulungi ne batwalibwa ku ssomero basobola okuvaamu abantu ab'enkya ab'omugaso mu ggwanga ng’abaddusi sinakindi abakulembeze.

Omubaka Terrence Achia Naco (NRM) ow’esazza ly’e Bokora  e Karamoja yasabye gavumenti okulondoola abagambibwa nti waliwo abantu abajja abaana mu byalo ne babaleeta ku nguudo mu Kampala okusabiriza ssente. Yagambye nti ayagala omuze guno gukomezebwe.

Ababaka baasabye gavumenti okutema empenda z’okuggya abaana ku nguudo naddala mu bibuga.

Omubaka Ana Adeke (bavubuka) yagambye nti ebyenfuna embi mu bitundu bya Uganda ebimu bye bivaako abaana okuva awaka okujja ku nguudo naddala mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu