TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alumirizza minisita Amongi okukozesa ofiisi ye amubbe ettaka

Alumirizza minisita Amongi okukozesa ofiisi ye amubbe ettaka

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

AKAKIIKO k’ettaka katandise okunoonyereza ku minisita ow’ettaka, Betty Amongi ku bigambibwa nti ali mu lukwe lw’akubba ettaka okuli ekizimbe ku Acacia Avenue okuva ku Bayindi.

Baba 703x422

Toshak ne minisita Amongi

Obujulizi obwaleeteddwa mu kakiiko bulaga nti minisita Amongi okubba ettaka lino yayita mu kkampuni ye eya Amobet Investments Ltd mw’alina emigabo gya bitundu 60.

Kino kiddiridde Omuyindi Toshak Manubhai Patela okujja mu kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire n’aloopa minisita Amongi olw’okwerimbika mu bantu abalala n’atandika kaweefube w’okumubbako ekizimbe kya famire ye ekiri ku plot 29 Acacia Avenue kye babadde nakyo okuva 1968.

Yagambye nti, “ekizimbe kino kyali kya maama wange Mandakini Manubhail Patela ne ssenga wange Sarobjen Patel. Amin bwe yagoba Abayindi mu Uganda twadduka ne tudda e Buyindi nze ne nkomawo mu Uganda mu 1995.

Twatandikirawo okugenda mu kakiiko ka “Departed Asian Property Custodian Board” akaali kakola ku nsonga z’okuddiza Abayindi ebintu byabwe bye baleka era ne batuwa ebiwandiiko byonna ebikakasa nti batuddiza ekizimbe kyaffe.

Mu 2001, ssenga wange Sarobjen yanguza omugabo gwe ne mbeera nga nze ne maama ffe bannannyini kyo era ne tukipangisa kkampuni ya Midcom Private Ltd nga omwezi etusasula doola 9000.

Obuzibu bwonna bw’atandika mwaka guwedde mu December bwe nali hhenze okuwummulamu mu Australia ne nfuna ebbaluwa okuva mu kkampuni ya Amobet Investments Ltd eyali eteereddwaako omukono Dayirekita waayo, Henry Mubiru nga bang'amba okuva mu kizimbe kubanga gavumenti ng’eyita mu Custodian Board nga bagamba nti kkampuni eno eweereddwa ettaka lino okuliddukanya oluvannyuma lw’Abayindi abaali bannannyini kyo obutakomawo mu Uganda.

Nafunirawo balooya ne babawandiikira nga babategeeza nti ekizimbe tukirina mu mateeka okuviira ddala mu 1968 kyokka mu kunziramu bantegeeza nti baasoose kunoonyereza mu boobuyinza be kikwatako omuli minisitule y’ettaka ng’ebiwandiiko byonna bye nnina bijingirire.

Mba sinnaddamu bbaluwa eno nga February 5, 2018, nafuna ebbaluwa endala okuva ewa minisita Amongi ng’ampita mu lukiiko ku nsonga z’okujingirira ebiwandiiko naye ne nfuna okwekengera ng’emikono ku biwandiiko bya Mubiru bye yasooka okumpeereza nga tebikwatagana ate nga ne kkampuni ya Amobet egambibwa okugula ekizimbe kyange nga sikakkasa bannannyiyo.

Balooya bange aba Bitangalo bagenda ewa lijesitula awandiisa kkampuni okunoonyereza gye twakizuulira nti kkampuni eno ekozesebwa okutwala ekizimbe kyange ya minisita Betty Amongi era ng’alinamu emigabo gya bitundu 60 ku 100 kyokka nga ye muntu omu ampita okugenda mu ofiisi ye banoonyerezeeko ku by’okujingirira.

Kino kyayongera okundaga nti waliwo olukwe lwa minisita okutwala ekizimbe kyange kubanga tasobola kuba nga ye nnannyini kkampuni eyagula ate nga ye muntu y’omu akozesa ofiisi ye okungobaganya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...