TOP

Ono bamukutte abba mmotoka mu paakingi

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

POLIISI ekutte lubona omusajja agambibwa okubeera mu kibinja ky’ababba mmotoka mu paakingi ng’aliko gy’ayagala okubba.

Bba 703x422

Ssali n’ebisumuluzo by’asumuluza mmotoka n’azibuzaawo.

William Ssali ow’e Kawaala zooni I ye yakwatiddwa poliisi ng’ali mu mmotoka eyabadde esimbiddwa ku mabbali g’oluguudo lwa Buganda Road okuliraana we batunda ebiruke ng’agezaako okugisimbula.

Akulira poliisi ya E-M plaza, Kate Ojakol yagambye nti Ssali yasangiddwa munda mu mmotoka UAR 565M eya Amin Bawani ng’agezaako okugisimbula oluvannyuma lw’okugiggula.

“Tukutte omusajja ali mu kibinja ekibba mmotoka mu paakingi ng’ono yakwatiddwa lubona ng’agezaako okugisimbula agitwale,” Ojakol bwe yategeezezza.

Yagambye nti Ssali yakwatiddwa n’ebisumuluzo ebyenjawulo by’akozesa okuggula mmotoka z’abba era ng’atambula ku nguudo ezenjawulo n’ekigendererwa ky’okuzibba.

Wabula Ssali eyagambye nti akolera mu Kisenyi gy’atundira amakalaayi yeegaanyi okugezaako okubba mmotoka.

Yagguddwaako omusango ku fayiro SD: 05/01/05/2018 ng’akuumirwa ku poliisi ya CPS.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....

Ta 220x290

Engeri gy’olabirira enviiri ezitaweza...

ABAKYALA n’abawala bafaayo okulabirira enviiri zaabwe, kubanga zikola kinene ku ndabika y’omukyala. Ku bakyala...