TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamulumirizza okufera abantu okubatwala ku kyeyo

Bamulumirizza okufera abantu okubatwala ku kyeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2018

OMULAMUZI wa kkooti y’eddaala erisooka ku Buganda Road, Robert Mukanza akkirizza okusaba kwa Abdumalik Katende okw’okweyimirirwa ku musango ogumuvunaanibwa ogw’okuggya ssente ku bantu mu lukujjukujju ng’abasuubizza okubatwala e Dubai okukola wabula oluvannyuma n’abeefuulira nga bamaze okumuwa ssente.

Ma 703x422

Katende

Ku Lwokusatu, omu be yabba, Asumpta Namaganda 28, yalabiseeko mu kkooti n’annyonnyola nti mu January 2017, waliwo mukwano gwe eyamukwasa Katende n’akolagana naye n’abalala okwali Abasi Wasswa ne Hajarah Nalubega bamukolere ku biwandiiko.

Agamba nti yasooka n’amusaba akakadde kamu ate nga wayise wiiki bbiri, Katende n’amusaba emitwalo 20 ez’eddwaaliro.

Agamba nti mu May 2017, Katende yaddamu n’amusana emitwalo 30 okukola ku ky’okuyita ku kisaawe e Ntebe olwo essimu ye n’evaako okumala akabanga.

Namaganda agamba nti essimu bwe yaddako Katende yamutegeeza nga bw’alina okuba omugumiikiriza oba ssi ekyo amuddize ssente ze.

Namaganda ensonga yazitwala ku poliisi y’e Nansana - Ganda n’ekwata Katende.

Namaganda agamba nti baamubba n’abalala okuli; Simon Luggya, Sam Kabanda, Gonzaga Ssekasamba, Simon Peter Kimbowa ne Shadia Naluwooza nga buli omu yamuwa akakadde kamu n’ekitundu.

Oluvannyuma lw’okuwuliriza oludda lwa Namaganda, Katende yaleese abantu babiri abalina okumweyimirira wabula bano baayogedde ebitakwatagana omuli okutankana gye basula era omulamuzi n’asalawo kkooti ewummulemu okumala essaawa bbiri era oluvannyuma omulamuzi n’akkiriza Katende okweyimirirwa ekintu ekyakanze Namaganda nti Katende balinga abamutadde.

Omusango guddamu nga May 15, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 220x290

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye...

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina...