TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embwa erumye omwana katono emukutuleko obusajja!

Embwa erumye omwana katono emukutuleko obusajja!

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 5th May 2018

ABATUUZE mu bitundu by’e Nakulabye mu zooni V bawanjagidde ekitongole kya KCCA okuddamu okubayamba okubattira embwa ezitaayaaya mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo ezituuse n’olubalumira mu makubo.

Mbwa 703x422

Omwana ng'alaga embwa bwe yamulumye

Solomon Mugula omu ku batuuze mu kitundu kino yategeezezza nti wiiki ewedde embwa zaalumye muganda we, Abaas Nsubuga 10, mutabani wa Umar Serwanja katono zimukutuleko obusajja era azimbye omubiri gwonna.

Mugula yategeezezza nti Nsubuga bwe baamututte mu ddwaaliro lya KCCA mu Kisenyi abasawo tebaasobodde kubakolako ne babategeeza nga bwe batalina ddagala ekyabawalirizza okumwongerayo mu ddwaaliro e Mulago.

Yategeezezza nti tebalina ssente zibasobozesa kujjanjaba mwana ono n’ategeeza nga kitaawe w’omwana bw’ali ku ndiri.

Asabye abazirakisa okumuyamba. Ali ku ssimu zino: 0701392503 /0750397348 ne 0756779827.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera