TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomesa agambibwa okukaka omuyizi w'e Makerere akaboozi atuuyanidde mu kaguli

Omusomesa agambibwa okukaka omuyizi w'e Makerere akaboozi atuuyanidde mu kaguli

By Joseph Makumbi

Added 5th May 2018

EDWARD Kisuze 44, agambibwa okukaka omuwala akaboozi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road n’asomerwa emisango ebiri n’amusindika e Luzira okutuusa nga May 10.

Kisu1 703x422

Kisuze ng'ali mu kaguli

Kisuze eyabadde anekedde mu ssuuti ye enzirugavu, yatuusiddwa ku kkooti mu bugombe bwa poliisi nga balinga abatwala omukungu era ku ssaawa 10:20 ez’akawungeezi, yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi James Eremye Mawanda.

Baamusomedde emisango ebiri okuli ogw’okugezaako okusobya ku mukazi n’ogw’okutigaatiga ebitundu by’omukazi ebyekyama.

Kigambibwa nti, emisango gino, yagizza nga April 13, 2018 mu ofiisi ye nnamba 507 ku kizimbe kya Senate mu Makerere.

Omusango ogusooka baasomye nti, Kisuze yagezaako okunyumya akaboozi ne Njoroge Racheal Njeri nga tafunye lukusa kuva gy’ali.

 joroge ku ddyo ne mukwano gwe mu kkooti Njoroge (ku ddyo) ne mukwano gwe mu kkooti.

 

Emisango gyonna, Kisuze yagyegaanyi oludda oluwaabi olwakulembeddwamu Vioal Tusingwire ne lutegeeza kkooti nti, okunoonyereza kwabadde kuwedde.

Munnmateeka wa Kisuze, Kenneth Munungu yazze n’abantu bana okuli Jonathan Muyingo, Robert Ssemanda, Stephen Ssemugera mikwano gya Kisuze okuva e Ndejje Mirimu gy’asula ne Dickson Ndaga muganda we bamweyimirire.

Omuwaabi wa Gavumenti yategeezezza omulamuzi nti, yabadde alina ebiragiro obutakkiriza kusaba kwa Kisuze okw’okweyimirirwa n’agamba nti betaaga obudde okwekenneenya empapula ezoogera ku bantu abaagala okumweyimirira omulamuzi n’alagira nti kkooti yaakuddamu nga May 10.

Mu kkooti n’omuwala Racheal Njoroge Njeri avunaana Kisuze yabaddemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...