TOP

Emmotoka enzibe ekwasizza Omusuubuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2018

Emmotoka enzibe ekwasizza Omusuubuzi

Kub2 703x422

POLIISI ekutte omusuubuzi w’omu Kikuubo olw’okwefuula nnannyinyi mmotoka eyabbibwa e Ntebe n’agitunda.

Hajji Abdul Kasekende akolera ku akeedi ya Ssembatya nga mutuuze w’e Kyengera ye yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okwefuula nnannyini mmotoka n’agitunda ssente n’azigabana ne banne. 

Akulira poliisi ya Mini Price, Fabian Baryayamba yagambye nti okukwata Hajji Kasekende kyaddiridde omu ku bwe baali mu kutunda mmotoka enzibe okumulonkoma olwo ne balondoola essimu ye n’edduuka kw’akolera we bamukwatidde” Baryayamba bwe yategeezezza. 

 Yagambye nti, waliwo ababba emmotoka ekika kya Isuzu nnamba UAZ 836E eya kkampuni ya Rwenzori Construction e Ntebe ne bagitunda e Jinja nga Kasekende ye yeefuula nnannyini yo era baafuna obukadde mwenda. Kasekende baamugguddeko gwa bubbi ku poliisi y’e Ntebe ku fayiro nnamba SD 31/11/4/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...