TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali omubazi w'ebitabo mu monitor yattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kabuyonjo

Eyali omubazi w'ebitabo mu monitor yattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kabuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2018

Eyali omubazi w'ebitabo mu monitor yattiddwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kabuyonjo

Heb2 703x422

Poliisi ng'essa omulambo ku kabangali yaayo.

OKUZUULA omulambo gw’eyali omubazi w’ebitabo mu Monitor, poliisi yeesigamye ku bujulizi bw’omwana ow’emyaka omusanvu.

Abel Katende eyali omubazi w’ebitabo mu Monitor kyokka n’awummula n’atandika okwekozesa yekka ng’abadde asinga kwemalira ku byabulimi, yasooka kubuzibwawo wiiki ewedde, poliisi n’ebakana n’omuyiggo okutuusa lwe kyazuuliddwa nga yattmulwa mu ntiisa omulambo gwe ne gusuulibwa mu kaabuyonjo y’amaka ge e Wampeewo-Luteete.

Omwana Kazibwe eyawulira Katende ng’alaajana, abatemu bamusanjaga ye yattottoleredde bambega ba Poliisi byonna bye yawulira olwo ne bagoba obuufu okutuusa lwe baazudde omulambo gwa Katende mu kaabuyonjo gye gwabadde gwasuulibwa nga gusibiddwa mu kkuyita ng’ekitereke.

 mugenzi atende ngali mu nnimiro ye Omugenzi Katende ng'ali mu nnimiro ye

Kazibwe mwana wa mutuuze ku kyalo Busaawa -Mmanze mu ggombolola ya Masuulita mu disitulikiti ya Wakiso nga maama we yali yamukwasa Katende abeere naye ng’amuyambako okumukuuma awaka w’abadde abeera yekka.

Katende abadde aludde nga yafuna obutakkaanya ne mukyala we ow’empeta Janet Namugenyi Katende n’amusindiikiriza n’amugoba mu maka ge e Luteete nga yamugobako n’abaana bonna 11 ng’abadde abeera yekka ku faamu ye e Busaawa, Mmanze mu ggombolola y’e Masuliita.

Kigambibwa nti, Namugenyi n’abaana be Gideon Kaaya, Lillian Najjuma (baakwatiddwa) ne Charity Nabukalu eyaddukidde e Bungereza, baagenda ku ffaamu ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ne bamutta.

Bano, basoose kwegaana nga bagamba nti, baamuleka mu kabuga k’e Kavule ku luguudo lwa Ssemuto kyokka oluvannyuma bakkiriza nti baamutta ne bamuziika mu kaabuyonjo.

Abooluganda lwa Katende okuli Junior Emmamuel Katende baggulawo omusango gw’okubula kwa Katende ku fayiro SD:02/28/04/2018 ku poliisi y’e Masuliita poliisi n’ekwata maama n’abaana be oluvannyuma Flying Squad n’eyingira mu musango.KU Lwomukaaga ekiro, baapondoose ne basalawo okubuulira poliisi amazima ne bagitegeeza nti, omulambo baaguziika mu kaabuyonjo gye baali basimidde abapangisa e Luteete era omu ku baana n’abatwalayo n'abalagawo. Nnyaabwe yabadde ensonga zonna akyazeegaana abaana ne bamukaliramu nti, ‘maama tewali ky'otomanyi yogera amazima’. Yalabye takyalina kyakukola n’ayogera.

Yagambye nti, ye okutta teyakwenyigiramu butereevu wabula muwala we, Nabukalu (eyadduse) ye yamukuba omuggo ku mutwe n’akalirawo ensonga ne zibasobera. Yagambye nti, baali tebalina kyakukola okuggyako okusala amagezi omulambo okuguziika mu kaabuyonjo. Kaaya agamba nti, "twakeera ku makya ku Lwokuna maama n’ahhamba nsime ngaziye omutuli mu kaabuyonjo z’ennyumba empya ezizimbibwa mu kikomera kyaffe.

Twateeka ebiti mu mmotoka bye twakozesa okutta taata. Oluvannyuma twalinnya emmotoka yaffe ey'ekika kya Noah ne maama, Nabukalu ne Najjuma ne tugenda ewa taata e Busaawa- Mmanze. Twatema amatooke mu lusuku twajja nago nga ge g'okulya nga bulijjo bwe tubadde tukola nga tugenzeeyo era ne tufumba emmere ne tulya. Wabula ku ssaawa nga 7.00 ez’emisana Nabukalu yayita maama ne bannyinaze abalala ne bayingira ennyumba nga bagamba nti y'essaawa ey’okukola omulimu.

Nabukalu yakuba taata ekiti ku mutwe emabega n'agwa wansi n'atandika okufuwa omusaayi. Wabula nali nkyatikka matooke mu mmotoka ne bampita mangu okuyingira ennyumba. Nali nkyesisiggiriza ne bahhamba nsitule mangu ne tufulumya omulambo gwa taata nga tuguyisa mu ggeeti eri ku mabbali g'ennyumba ne basembeza emmotoka ne tugalamiza omulambo wansi w’omutto ogusooka .

Twasiimuula ebitaba by’omusaayi ogwali mu nnyumba oluvannyuma ne tulinnya emmotoka yaffe ne tubulawo. Maama ne bannyinaze bombi baatuula ne balinnya ku mulambo olwo nze ne nvuga. Twasibira mu maka gaffe e Luteete ku ssaawa nga 9.00 ez’emisana.

 

Abaana abato tetwabakkiriza kusemberera mmotoka nga bulijjo era emmere twagisomba ne tugiggyamu wabula nga twakola olunyiriri ng’abaana abali waka baliraanye sitoowa nga ffe tuggyamu emmere mu mmotoka okutangira okulaba taata we twali tumugalamizza oluvannyuma ne tusibawo bulungi. Kyokka era abaana nga tetubakkiriza kusalinkiriza kutuukayo.

Mmotoka twagisimba mu geeti esooka awali ennyumba okuli ekinnya we twakisima ne tulindirira obudde okuwungeera. Bwe zaawera ssaawa 1.00 ey’akawungeezi abaana bonna twabayingiza mu nnyumba nga tutaddeko ttiivi netubaleka nga balaba ne tujja ne tusitula omulambo ne tugupakira mu kaveera oluvannyuma ne tugusuula mu kaabuyonjo . Maama yantuma amafuuta liita ttaano ge twafukirira ku mulambo okusobola okubuzaabuza okwewala ekivundu.

Era yantuma sementi kkiro bbiri gwe natabula mu musenyu ne nziba ekinnya kino n'enkokoto engumu okusobola okubuzaabuza obujulizi.Wabula nange bansuubiza okunzita nga taata bwe bamukoze singa mbaako kye njogera." Poliisi baagitutte awali omulambo era ekitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro ne kisimula kaabuyonjo ne basikayo omulambo ogwabadde guvunze ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Amyuka omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango yategeezezza nti baakutte abantu basatu bagiyambeko mu kunoonyereza ate Muhangi n’alabula abatuuze abaabadde baagala okukoona amaka g’abaakwatiddwa obutakigeza kubanga bajja kukwatibwa era ne bateekawo n’abaserikale okugakuuma.Kaaya agamba nti Nabukalu yalina omusajja Omuzungu gwe yali asuubira okufumbirwa kyokka n’amukyawa.

Maama ne bannyinaze baagenda ku musawo w’ekinnansi eyabalagula nti taata yatuloga okutusiraanya.

Era yatuwa amagezi okumutta tusobole okuwona obuzibu buno. Nabukalu kino nti yakiteekamu amaanyi. Najjuma yagambye nti, ekintu ekyasinga okubanyiiza, ye kitaabwe okwagala okuwa nnyaabwe obutwa. Agamba nti kyabatuula ku mutima ne kibawa obusungu bwe babadde tebayinza kweggyako ng’akyali mulamu.

SSENTEBE W’E LUTEETE GYE BAZUDDE OMULAMBO KIMUSUSSEEKO

GODFREY Kasozi nga ye ssentebe w'ekyalo Luteete A yagambye bw'ati: Ensonga za Katende ne famire ye zirudde nga kumpi buli kitongole kya byakwerinda kizimanyi. Wabula tusanze obuzibu okuzigonjoola kubanga Namugenyi abadde aziyingizaamu abanene mu byokwerinda ne zifiira awo.
 
Namugenyi abadde alina endoliito n'abatuuze kyokka ng'ensonga zaatusukkuko.
Kubanga eby'okuziba omwala ogwaleetera amazzi okwanjala mu batuuze twazitwala mu bakulira ebyobulamu nabo ne batazifaako.
 
Wabula wazzeewo obutabanguko mu maka gano ng'abaana abalala abaasigadde mu maka ga Katende e Luteete bagobye mukulu waabwe Nkuubi nga bamulanga okwenyigira mu kaweefube w’okunoonyereza ku kubuzibwawo kwa taata waabwe.
 
Ebyembi buli lwe tubadde tugezaako okuyingira mu nsonga zaabwe nga bagamba nti za maka tuzireke, olwo ne batulugunya Katende nga talina bwogerero. Abaana ne nnyaabwe babadde n'emize nga bavuma abantu ku kyalo. Baasiba amazzi nga baagala ganjale mu bantu kyokka nga tebagambibwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo