TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Lyto Boss awaanye mukyala we okumulaga ‘laavu supa’.

Lyto Boss awaanye mukyala we okumulaga ‘laavu supa’.

By Martin Ndijjo

Added 7th May 2018

Lyto Boss awaanye mukyala we Cissy Nanyonga okumulaga ‘supa laavu'. amwebazizza olw'obuwagizi ne byamukolera n’okumuzaalira omwana omulungi.

Lyt1 703x422

Lyto Boss (ow'okubiri ku ddyo) ne Nannyonga (ku ddyo) ne bebbi wabwe wamu n'abawagizi be abalala nga basala keeki

Lyto Boss (Derrick Katongole) asinzidde ku kabaga ke bamukoledde okujjaguza amazaalibwa ge ne yeebaza mukyala we, Cissy Nanyonga okumulaga ‘supa laavu’ n’okumuzaalira omwana omulungi.

Cissy ye yasoose okusiima Lyto Boss okuba omusajja ow’obuvunaanyizibwa, ebigambo bya Cissy olwamugudde mu matu naye n’amusuubiza okumwagala bw’omu obulamu bwe bwonna n’okumulaga laavu ey’ekimemmette.

wadde ninna abawagizi bangi era abanfudde kyendi naye gwe nnamba emu. Nkukakasa nkwagala bw’omu era nawe webale kunjagala nnyo bwotyo. Omukwano gw’ondaga nsiima era ebimu bye nnyimbako mbiggya mu laavu yo” bwatyo Lyto Boss omu ku bayimbi abamanyiddwa okuyimba ennyimba z’omukwano bwe yategeezezza.

yto oss ne mukyala we anyongaLyto Boss ne mukyala we Nanyonga

 

Abawagizi be “team Lyto Boss’ nga bakulemeddwamu mukyala be baamukoledde akabaga kano akabadde ku AER e Kamwokya mu kiro ekyakesezza Ssande.

Baamuleese tategedde nga bamulimbye nti waliwo omuntu amwetaga okubako ddiiru gye bakutula. bwe yatuuse we baamugambye yalabye bantu be yabadde tasuubira nga bamwaniriza na luyimba lwa mazaalibwa.

 yto oss ngakwasa abaana ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo bye yabagulidde Lyto Boss ng'akwasa abaana ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo bye yabagulidde

 

Mu budde bw’okumakya, Lyto Boss yasoose kugenda Kawaala ku Amary Uganda

ekifo ky’abaana abatalina mwasirizi be yajjaguza nnabo amazaalibwa ge era bano yabagabidde n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo

Bwe yabuuziddwa emyaka gy’awezezza, yazzemu kimu nti “mu kitwale nti nkuze”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup