TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ye Kawempe etandise okulwanyisa obumenyi bw'amateeka nga bayita ku kubuulira enjiri

Poliisi ye Kawempe etandise okulwanyisa obumenyi bw'amateeka nga bayita ku kubuulira enjiri

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2018

Poliisi ye Kawempe etandise okulwanyisa obumenyi bw'amateeka nga bayita ku kubuulira enjiri

Ka1 703x422

Abasirikale nga beetabye mu kusaba mu kkanisa ya St Stephens e Kawempe

Bya Regina Nalunga
 
ABASIRIKALE ku Poliisi y'e Kawempe batandise kaweefube w'okulwanyisa obumenyi bw'amateeka nga bayita mukubuulira enjiri mu masinzizo n'ebifo omukung'aanira abantu abangi.

Basinzidde mu kkanisa ya St Stephen 's e Kawempe mu Bussabadinkoni bw'e Kazo. 

Ekitali kyabulijo abasirikale beenyigidde mu ntekateeka zona ez'okusaba mu kkanisa  eno  Benyigidde mukutendereza n'okubuulira ekigambo kya katonda.
 
ASP Robert Nagolo atwala Poliisi y'e Bwaise mu bubaka bwe, agambye nti abasirikale  nabo bantu ng'abalala abasaanye okukyusa ebintu mwe bakolera okuyita mu kigambo kya katonda. 

Agnes Aanyu atwala Poliisi y'e Kawempe enkulu, agambye nti bakizudde  nti okukwata abamenyi b'amateeka tekimala ky'ebava basazeewo okutandikira mu masinzo. 

Agasseeko nti bagenda kutalaaga n'ebintu ebirala omuli  n'obutale n'ebifo omukung'aanira abantu abangi.

 

 
Aaron Ahabwe Omulabirizi w'obusumba buno asiimye enteekateeka ya Poliisi n'agamba nti yakutumbula enkolagana ya Poliisi n'abantu babulijjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....