TOP

Kitatta avudde mu kkooti bimusobedde!

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2018

ABDULLAH Kitatta katono atomere emitayimbwa gy’akaguli ka kkooti y’amagye nga ssentebe waayo Lt. Gen. Andrew Gutti alagira azzibweyo e Makindye mu kkomera ly’amagye alinde olunaku lw’anazzibwa mu kkooti okuwulira ekinaaba kisaliddwaawo ku kusaba kwe okw’okweyimirirwa.

Tata703422 703x422

Kitatta (wakati mu mujoozi gwa kyenvu) ng'ali mu kkooti ne banne

Kitatta yatuuse mu kkooti ng’alabika ng’alina essuubi nti anakkirizibwa okweyimirirwa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi olukulemberwa Maj. Raphael Mugisha okulemererwa okuwa ensonga ey’essimba lwaki teyeeyimirirwa.

Nga bw’efuuse enkola ye, Kitatta yabadde mu mujoozi gwe ogwa kyenvu nga bulijjo, jjiini eya bbulu n’engatto enjeru ng’asibiddwa ku mpingu ne Tonny Kipoi Nsubuga, avunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe. Baatuuse ku ssaawa 4:00 ez’oku makya.

Yabadde mucamufu nnyo era olwafulumye mmotoka Toyota Hiace/kamunye mwe baamuleetedde, n’akubira abamu ku bafamire ye kajjambo.

Omuwabuzi wa kkooti eno mu by’amateeka, Col. Gideon Kattinda yategeezezza kkooti nti si beetegefu kuwa nsala yaabwe kubanga tebannamaliriza kugikolako n’asaba olunaku olulala lwe banaagiwa.

Munnamateeka wa Kitatta, Shaba Sanywa yasoose kutegeeza kkooti nti beetegefu okuwulira kkooti ky’esalawo ku kusaba kw’omuntu waabwe kwe yateekayo, kyokka oluvannyuma naye kyamuweddeko n’ategeeza nti kano kagenderere kulemesa muntu we kufuna bwenkanya.

Kitatta yawanise omukono abeeko ky’ayogera mu kkooti wabula Gutti n’amutegeeza nti kyonna ky’ayagala okwogera, akitegeeze munnamateeka we Sanywa y’aba abigamba kkooti.

Sanywa yategeezezza kkooti nti Kitatta ekirwadde kya sukaali kimuli bubi nti mu kkomera ly’amagye e Makindye tafuna bujjanjabi.

BAMUSIBA NGA MUTUJJU

Yayongeddeko nti Kitatta bamusiba nga mutujju, asibirwa mu kasenge akeekusifu nga talaba wadde ku kitangaala ekiva wabweru kyonna kw’ogatta obutafuna kaseera kugenda kusaala nga ye Omusiraamu bwatyo n’asaba azzibwe e Luzira gy’aba akuumirwa kubanga yo asobola okulaba bulungi abantu be n’okwetaaya.

Sanywa era yagambye nti naye wadde munnamateeka wa Kitatta, mu kkomera tebamukkiriza kuyingira alabe embeera omuntu we mw’abeera.

Bw’agendayo bayita musibe n’ayogera naye ate okumala ekiseera ekigere wakati mu bukuumi.

Wano azzeemu ne yeegayirira kkooti, Kitatta atwalibwe e Luzira kyokka Lt. Gen Gutti n’amutegeeza nti olw’ensonga Sanywa naye kennyini z’amanyi obulungi Kitatta tayinza kutwalibwa Luzira ate n’e Makindye waliyo buli kimu ekyetaagisa.

Kitatta akomezebwawo nga May 21, 2018 okuwa ensala ya kkooti.

Avunaanibwa ne basajja be abalala 12 emisango gy’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye, emmundu n’amasasi nga tebalina lukusa kubeera nabyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...