TOP

Aba ISO bakubye abapoliisi amasasi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2018

Aba ISO bakubye abapoliisi amasasi

Kak2 703x422

EKITONGOLE ekikessi eky’omunda ekya ISO ne poliisi bakubaganye amasasi okukkakkana ng’omuserikale wa poliisi omu attiddwa, abalala bana nga bakwatiddwa. Ensasagge eno yabadde Mugongo okumpi ne Kyengera ku lw’e Masaka, abaserikale ba poliisi okuva e Katwe bwe baayingidde ekikomera ekimu n’ekigendererwa eky’okubba, kyokka ne bakubaganirayo amasasi n’ab’ekitongole kya ISO.

Ekifo kino abapoliisi kye baabadde balumbye okubba kya ISO ng’ekikoleramu emirimu egy’ekyama egikwata ku by’obukessi era nga kirabika abaserikale ba poliisi bano tebaategedde nti ekifo kye balumba kya baserikale bannaabwe. Eyattiddwa ye Rogers Ssimbwa nga yabadde ne banne abaakwatiddwa okuli; Francis Bayega nga nnamba ye eri 67342, Alex Jojo, Balaam Nuwagira ne Zakaria Nato.

Ku Ssande, omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango yasoose kutegeeza nti abapoliisi bano okukubwa amasasi baabadde bayigga omusajja ali ku misango gw’okusobya ku muwala nti kyokka mu kukola omulimu gwabwe, aba ISO kwe kubakuba amasasi.

Kyokka eggulo, Onyango yatangaazizza nti bano baAkubiddwa amasasi nga bagezaako okubba era baavudde ku poliisi e Katwe. BagguddwaAko omusango gw’obubbi ku poliisi e Kyengera ku fayiro nnamba SD:08/06/05/2018.

Kigambibwa nti Ssimbwa okukubwa amasasi yabadde agezaako kuggya ku omu ku baserikale ba ISO emmundu ne bamwesooka ne bamukuba amasasi agaamuttiddewo, be yabadde nabo ne bagezaako okudduka kyokka ne babanyweza.

Ssentebe w’ekyalo, Joseph Kityo yategeezezza nti ekituufu tebamanyi bantu babeera mu nnyumba eno naye kye bawulira nti ya kitongole kya ISO era tebakkiriza muntu yenna kugisemberera.

Abantu be batera okulengerawo babeera mu byambalo by’amagye. Ayongerako nti kw’olwo abatguuze baawulira amasasi naye tebaamanya byali mu nda kuba tewali muntu akkirizibwa kuyingiramu olw’obukuumi obw’amaanyi ku kifo kino era mu kitundu ennyumba eno emanyiddwa nga ‘Safe House’.

Kyokka kigambibwa nti ab’ekitongole kya ISO bagikozesa okukuumiramu abantu be babaako ne bye babuuza era nga gye buvuddeKO munnamawulire wa NewVision, Charles Etukuri yakwatibwa aba ISO abaamusibira mu nnyumba emu e Kyengera okumala ennaku nga balina bye bamubuuza ebikwata ku mawulire ge yali awandiise.

Omu ku b’akakiiko mu kitundu kino yategeezezza nti mu mwaka gwa 2017, waliwo abantu abaabatuukirira ne babasaba ng’abakakiiko, okubateera emikono ku ndagaano y’obupangisa wakati w’ekitongole kya ISO ne nnannyini nnyumba eno ayitibwa Allen Balondemu.

Wabula ow’akakiiko agamba nti, endagaano yali eraga nti obupangisa bwali bwakumala emyezi musanvu kyokka okuva ebbanga lino lwe lyaggwaako, tebalabanga bantu bano bwe badda kuzza ndagaano ya bupangusa buggya.

OKULWANAGANA OKUZZE KUBAAWO WAKATI WA POLIISI NE ISO

Okuva ku kuttibwa kwa Andrew- Felix Kaweesi, wazze wabaawo okugugulana wakati w’ekitongole kya ISO ne poliisi era nga muno mwe mwali olutalo lw’ebitongole bino byombi nga luva ku kukaayanira omukazi Christine Umuhoza Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi eyasibirwa mu maka ge e Lungujja .

Poliisi yagezaako okutwala omukazi ono kyokka aba ISO ne babalemesa amasasi ne gavuga, okukkakkana ng’eggye erikuuma pulezidenti libiyingiddemu ne likkakkanya embeera ebitongole byombi ne bigobwa mu kifo kino.

Waliwo n’olutalo olulala olwabalukawo wakati wa ISO ne poliisi nga luva ku Bazungu abaasangibwa nga bafiiridde munda mu wooteeri, okwali eya Pearl of Africa ne Sheraton.

Okufa kw’Omuzungu Trasvouri Juha Petteri, 42, munnansi wa Finland, kwe kwasinga okuvaako okusika omuguwa era eyali aduumira poliisi mu biseera ebyo, Gen. Kale Kayihura, yalagira basajja be, batandike okunoonyereza ku bbaluwa eyasangibwa n’omugenzi ng’eraga nti, yali ewandiikiddwa akulira ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka, ng’amuyita okujja mu Uganda.

Oluvannyuma Kaka yawandiikira poliisi ebbaluwa nga yeegaana nti tayitangako Muzungu ono kujja mu Uganda era oluvannyuma kyazuulwa nti omukono ogwali ku bbaluwa eyita Omuzungu gwali mujingirire tegwali gwa Kaka.

Sobi nga amannya ge amatuufu ye Paddy Sserunjogi, yaleetawo okusika omuguwa wakati wa poliisi ne ISO, poliisi bwe yamukwata n’emuggalira ng’erumiriza nti emumanyi ng’omubbi, kyokka ISO ne biyingiramu newaliriza poliisi okumuyimbula nga aba ISO bagamba nti abayamba okulwanyisa abamenyi b’amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...