TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu bawambwe omugagga ne bamunywesa acid oluvannyuma ne bamutta

Abazigu bawambwe omugagga ne bamunywesa acid oluvannyuma ne bamutta

By Joseph Mutebi

Added 9th May 2018

Abazigu bawambwe omugagga ne bamunywesa acid oluvannyuma ne bamutta

Kub2 703x422

Abasiraamu nga basaalira omulambo

OMUGAGGA w’e Kyaliwajjala mu Zooni ‘B’ mu Munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, yasiibudde bulungi mukyala we nti, agenda mu bbanka abazigu ne bamuwamba ne bamunywesa asidi oluvannyuma ne bamutta mu bukambwe omulambo gwe ne bagusuula ku luguudo lwa Northern by Pass.

Saka Kafeero 47, abadde alina mmotoka eziwerako ezisomba ebyamaguzi mu Kireka, Namugongo ne Kyaliwajjala yavudde awaka ku Mmande ku ssaawa 5:00 ez’oku makya n’asiibula mukyala we omukulu Sharifah Nabunnya nga bulijjo wabula ku luno yabadde agenda kusooka mu kibuga ky’e Mukono mu bbanka ya Centenary aveeyo agende mu bbanka ya Pride.

 

NNAMWANDU NABUNNYA KY’AGAMBA

Baze y’omu ku basajja mu nsi muno abadde talina luyombo lwonna ku muntu era emyaka 27, gye mmaze naye n’abaana be tuzadde mbadde sirowooza nti eriyo omuntu ayinza okumutuusa ku kino era kya kusaalirwa nnyo ebikolwa nga bino eby’okutta abantu abatalina musango okubeera nga bikyagenda mu maaso mu ggwanga. “Taata w’abaana bwe yansiibudde yayitiddeko ewa nnyazaala wange, Hajjati Kamidah Kafeero, kubanga asula ku kkubo we yabadde alina okulinnyyira takisi.

Baanyumizzaamu katono n’atambula okworekera e Kireka nga bw’agenda owuubira ku bantu b’amanyi okutuuka ku bbaala ya Agenda 2000 we yafunidde mmotoka mwe baamuttidde. Nga baze amaze okugenda, ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana, ssenga w’abaana Hadijja Nakafeero yazze awaka ng’awerekerwako omuserikale wa poliisi ne bambuuza oba nnina ekifaananyi ky’omugenzi”, bwatyo Nabunnya bw’anyumya.

Yayongeddeko nti, “Saasoose kutegeera kigendererwa kya muserikale wa poliisi gwe yabadde naye wabula oluvannyuma yaggyeeyo essimu ye n’agindaga nga kuliko ekifaananyi kya taata w’abaana bange Saka Kafeero nga bamusse ne bamuyiira asidi yenna mu maaso.” Omugenzi kigambibwa nti bwe yatuuse ewa nnyina, waliwo abantu abaamukubidde essimu nga bamupakusa ayanguweko.

Bwe yavudde ewa nnyina yatambudde akabanga ka bisaawe by’omupiira bibiri okutuuka ku bbaala gye bayita ‘Agenda 2000’ abatemu wano we baamuwambidde bwe yayingidde mu mmotoka yaabwe.

Mu ddakiika nga 30 zokka ezazzeeko baabadde bamaze okumutta ne bamuggyako buli kye yabadde nakyo ne bakitwala. Nammwandu Nabunnya agamba nti omulambo gwa bba baagusudde ku “North By Pass okuliraana ebbaala ya ‘Yellow Bar’ ku kubbo eriva e Naalya okugenda e Kireka wabula nga baasoose mmunywesa asidi.

Embeera omulambo gye gwasangiddwaamu kirabika omugenzi yagezezzaako okwerwanako kubanga wadde teyabadde mu ssaati naye empale ye yabadde eyulise nga kirabika yeerwanyeeko kyokka ne bamusinza amaanyi. Ensawo z’empale zaabadde nfunyulule n’okuba nti yabadde abambuse mu maaso mwonna oluvannyuma lw’okumuyiira asidi ate ng’omulala baamumunywesezza.

 mayumba gabapangisa era awali amaka amakulu Amayumba g’abapangisa era awali amaka amakulu.

 

NNYINA W’OMUGENZI AYOGEDDE “Saka ye mwana wange owookubiri ng’afa mu nfa eno. Eyasooka baali bamuyita Nasibu Kalemba, baamuwamba ne bamutta mu 2008. Abaawamba Nasibu Kalemba baamunona wuwe ekiro mu mmotoka oluvannyuma lw’omuntu ab’awaka gwe bataamanya okumuyita n’afuluma yekka ne bagenda bonna ne bamukuba okutuusa lwe baamutta omulambo ne bagusuula okumpi n’ebbaala ya ‘Agenda 2000’ poliisi we yaguggya okugutwala e Mulambo.

Kino kye kifo kyennyini Saka Kafeero ate ye we yalinnyidde emmotoka mwe baamuttidde ku Mmande emisana. Nabadde waka ku ssaawa nga 5:00 ez’emisana ku Mmande Saka n’ajja nga musanyufu ne twogera wabula ne wabaawo amukubira essimu ag’amupapya n’ahhamba nti, maama ka hhende e Mukono hhenda kusasula fiizi n’okusasula amabanja mu bbanka era okugenda okuddamu okuwulira nga bamusse” bwatyo maama bwe yategeezezza wakati mu biwoobe. Bino bakira abyogera bw’ajuliza nti, “Katonda nazza musango ki nze okuntuusa ku kikolwa nga kino abaana abange ne babatemula olw’ebintu! Nze nnamwandu ate omulema okunzitira abaana bange mu nzita embi eno bw’eti nazza musango ki?.

MWANNYINA ATTOTTODDE Mwannyinaze nkakasa nti obwangu bwe baakozesezza okumutta mu ssaawa ez’emisana nga buli omu alaba kirabika baabadde bamwetegekedde era nga bamanyi nti alina ssente z’atwala mu bbanka olw’obwavu obuliwo mu bbanga lino ne beeyambisa omulimu guno ne bamunyaga.

ABATUUZE BYE BOOGERA Abatuuze b’oku kyalo Kyaliwajjala abataayagadde kubaatuukiriza mannya baategeezezza nti, Saka kirabika akyamussiza byabugagga bya kitaabwe Zaidi Kafeero eyalina ettaka eddene e Kyaliwajjala ne Namugongo mu Nsawo.

Abatuuze bagamba nti, abawamba abaana b’omugenzi Kafeero kiyinzika okuba nga bali mu nnyumba. Kamida Kafeero yaakafiirwa abaana be bataano; abawala basatu okuli eyafa ng’azaala n’abalenzi babiri be bawamba ne batta. Meeya w’e Kira, Ssaalongo Julius Mutebi, yagambye nti, kitalo nnyo okubeera ng’ettemu lisoboka okukolebwa mu kitundu ky’akulembeera emisaana ttuku era basaba poliisi eyongere amaanyi mu byokwerinda.

Omwezi oguwedde omugenzi abadde yaakamala okwanjula omukyala omulala ng’abeera mu Kiwanga nga waakava e Bweyogerere era abadde musajja mugagga ng’alina amayumba g’abapangisa agasukka 20. Kuno agattako mmotoka za Pick up ate abadde alina emmotoka endala gy’abadde ateekateeka okusasula era nga yabadde agambye nti, oluva e Mukono yabadde agenda kulaba mmotoka eno agisasule.

POLIISI EYOGEDDE Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango yagambye nti, batandis okunoonyereza ku bantu omugenzi be yasembye okwogera nabo ku Mmande lwe baamuwamba ne bamutta. Yayongeddeko nti, engeri omugenzi gye yawambiddwa emisana mu kifo ekibeeramu abantu nga waliwo ne siteegi ya bodaboda, amaduuka n’amidaala gy’emmere poliisi egenda kweyambisa abantu abo babatuuse ku batemu. Omusango guno gwakwasiddwa poliisi ya Jinja Road okugunoonyerezaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...