TOP

Ensonga 4 eziggyisizzaawo Flying Squad

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Ensonga 4 eziggyisizzaawo Flying Squad

Lop2 703x422

Muhangi abadde mu Flying Squad

OMUDUUMUZI wa poliisi Martin Okoth Ochola akoze enkyukakyuka endala n’aggyawo ekitongole ekirwanyisa abazigu ab’emmundu ekya Flying Squad abaserikale ababadde bakoleramu n’abagabanya mu bitongole bya poliisi eby’enjawulo.

Enkyukakyuka zino Ochola yazirangiridde ggulo, abadde akulira Fying Squad Herbert Muhangi amusindise wansi wa dayirekita avunaanyizibwa ku bakozi Hajji Moses Balimwoyo era nga bamuwadde obuvunaanyizibwa bwa kubala abaserikakle n’okuggyamu abaserikale ab’empewo.

Abalala ababadde mu Flying Squad Ochola abalagidde beeyanjule ewa dayirekita avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku ku buzzi bw’emisango Grace Akullo asobole okubafunira ofiisi mwe bakolera kyokka nga bateekeddwa kusooka kumukwasa ebintu byonna bye babadde bakozesa ng’emmundu n’ebirala. Emirimu egibadde gikolebwa Flying Squad gyonna Ochola yagikwasizza ekitongole kya Special Investigations Division ( SID) wansi wa ofiisi erwanyisa obumenyi bw’amateeka obwamaanyi ekulirwa Mark Odong.

LWAKI BAGGYEEWO FLYING SQUAD

1 Abamu ku baserikale ababadde bakolera mu Flying Squad babadde si batendeke kimala nga n’abamu baali bamenyi b’amateeka ng’oluusi bakemebwa ne baddamu okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka bye baali baavaamu.

2 Ochola okuva lwe yalondebwa ku buduumizi bwa poliisi mu ggwanga, asuubirwa okukyusa ekifaananyi kya poliisi ekibadde kyonoonese ennyo mu bantu ng’erimu ku makubo galina okuyitamu okutuukiriza kino, kwe kuggyawo ebitongole ebimu n’okukyusa abamu ku baserikale ababadde mu bifo eby’enjawulo.

3 Ensonga endala eyaggyisizzaawo Flying Squad, bwe butakkaanya obubadde mu bamu ku baserikale abagikoleramu okuli Faizal Katende, Kasibante ne Minana bwe baasindikibwa okukolera e Nalufenya kyokka ne batabuka ne bannaabwe aba Special Operations ababadde bakulirwa Nickson Agasirwe.

4 Abamu ku baserikale mu kibinja kino babadde bafuuse bannantagambwako era nga balina ebiragiro by’abakulu abamu mu poliisi bye batagenderako ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka agafuga poliisi.

ABASERIKALE ABALALA ABAKYUSIDDWA: Mu baserikale abalala abakyisiddwa kuliko; SCP Joseph Obwana ng’ono y’amyuka akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, SCP Elly Womanya yaggyiddwa mu Interpol n’atwalibwa okukulira Special Investigations Division.

Eyali omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura yasindika Womanya okunoonyerezebwako ekitongole kya Professional Standards Unit (PSU) ku bigambibwa nti baggya ssente ku Dr. Livingston Mugimu eyali akolera e Namibia nga bamujweteseeko emisango nti akolagana ne Dr. Aggrey Kiyingi. Womanya yali avunaanibwa n’abaserikale abalala IP Chris Musana ne IP Edison Bukooli bonna nga baali mu Interpol nga kigambibwa nti batwala obukadde 288.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Patrick Onyango yakakasizza okukolebwa kw’enkyukakyuka zino. Ochola azze aggyawo ebitongole Gen. Kayihura bye yali atonzeewo okukola emirimu egy’enjawulo nga mu bino kuliko; Special Operations Unit, Case Files Tracking Unit, Oil and Gas, ne Flying Squad wabula Ochola olwafuulibwa omuduumuzi wa poliisi n’asalawo okubizzaayo mu bitongole mwe birina okukolera naddala mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo