TOP

Ssaabadinkoni w’e Luteete azzeemu okukwatibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Ssaabadinkoni w’e Luteete azzeemu okukwatibwa

Web2 703x422

Can. Kezekia

POLIISI ezzeemu okukwata Ssaabadinkoni Can. Kezekia Kalule bamutwale mu kkooti agasimbagane n’Omulamuzi ku by’okufunyisa omuwala wa P6 olubuto. Can. Kalule y’abadde Ssaabadinkoni w’e Luteete mu Bulabirizi bw’e Luweero, ebigambo byamwonoonekedde ng’omuwala (amannya galekeddwa) yeesowoddeyo n’amulumiriza nti yamufunyisizza olubuto.

Poliisi yasoose n’emukwata oluvannyuma n’emuyimbula ku kakalu kaayo kyokka ku nkomerero ya wiiki ewedde yabadde azzeeyo okweyanjula basobole okwongezaayo okweyimirirwa kwe, olwatuuse ku poliisi e Luweero ne bakamutema nti fayiro yabadde ewedde ng’erinda ye bagenda mu kkooti. Ekyazzeeko poliisi kumulagira kuggyamu ngatto ne bamuyingiza mu kaduukulu.

Omuwala ono abadde asoma ku Luteete P/S, okusinziira ku sitetimenti gye yakoze ku poliisi abadde abeera wa Kalule era ng’amuyita Jjajja. Omuwala abadde alabirirwa ekitongole kya Compassion International e Luweero, ekyamututte mu Wakisa Minisitries e Namirembe.

Kino kibiina kya bwannakyewa ekirabirira abaana abawala abafuna embuto nga tebanneetuuka. Omusango gwa Kalule guli ku CRB22/2018. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana, Paul Kangavve yategeezezza nti fayiro yatuuse ewa Ssaabawaabi wa gavumenti nga balinze kivaayo oluvannyuma Ssaabadinkoni atwalibwe mu kkooti abitebye.

Omuwandiisi w’obulabirizi bwa Luweero, Can. Mephbosis Musisi yalabiddwaako ku poliisi e Luweero ssaako Abakulisitaayo abaabadde bazze okulaba ku munnaddiini ono. Abeηηanda z’omuwala n’abantu abalala babadde batandise okunenya poliisi olw’okugayaalirira munnaddiini n’ababombako ne bagissa ku nninga nga bagamba kirabika yali yamalamu omusulo.

Kyokka abakulira obulabirizi bwa Luweero n’abakulisitaayo abamu beesibye ku mukozi Ssaabadinkoni gwe yagoba ku mulimu nti y’ali emabega w’okumumetta ettoomi. Ssaabadinkoni ng’ali mu kaduukulu, n’Omubuulizi Yekoyadi Nsubuga ow’ekkanisa ya St. Philips Bajjo mu Busumba bw’e Bombo, baamututte mu kaduukulu lwa kuganza wa myaka 13. Omuwala abadde abeera ne Jajjaawe e Nkuluze - Bamunaanika Luweero. Omubuulirizi ono abadde wansi wa Can. Kalule nga y’amutwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...