TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo bagaanyi Chris Evans okuddamu okwogerera ku ssimu

Abasawo bagaanyi Chris Evans okuddamu okwogerera ku ssimu

By Josephat Sseguya

Added 9th May 2018

ABABBI bateeze omuyimbi Chris Evans ne bamukuba ennyondo ku mutwe. Baamulese ataawa ne bamubbako mmotoka ye ekika kya ‘Wish’ ne babulawo.

Pada 703x422

Chris Evans mu ddwaaliro e Mengo eggulo. Ku kkono ng’alaga amabwa ge yafunye ku kigere nga bamukulula.

Olwo zaabadde ssaawa 7:00 ez’ekiro mu bitundu by’e Lungujja. Agamba nti yabadde anoonya kyakulya ng’ava mu saluuni okumusala enviiri.

Olwazze engulu n’akubira maneja we Geoffrey Kayemba eyamututte mu ddwaaliro e Mengo ne bamukolako n’oluvannyuma n’agenda ku poliisi y’oku Lubiri n’aggulawo omusango gw’okukubwa abantu babiri abaabadde ku bodaboda ne babba ne mmotoka ye ku fayiro nnamba SD REF: 03/08/05/2018.

Yagenze ne ku CPS n’aggulawo omusango gwe gumu ku fayiro nnamba 02/08/05/2018.

Chris Evans eggulo yazzeeyo mu ddwaaliro e Mengo, Dr. Kisembo Nnaalongo n’akola lipoota nga bamaze okumukuba ebifaananyi ku mutwe eyalaze nti ekiwanga, obwongo n’ebitundu ebirala biramu wadde yafunye obulumi ne bamulagira obutaddamu kwogerera ku ssimu okutuusa ng’ateredde.

Chris Evans yabadde n’ebiwundu ku mutwe nga bisibiddwako ‘bandegi’.

Ebirala byabadde ku bigere, mu kiwato, ku kibegabega ne ku ngalo. Chris Evans abeera e Mutundwe yategeezezza nti yabadde avuga mmotoka ye n’alaba aba bodaboda nga bamugoberera.

Yabeekengedde n’asiba mmotoka okulaba oba banaamuyitako kyokka nabo ne basiba.

Bwe yazzeemu okuvuga yayingidde ekikomera ky’omuntu ekitaliiko ggeeti abuzeebuze nti atuuse awaka kyokka ne bamulemerako.

Yagezezzaako okukuba enduulu kyokka nga yeesibidde mu mmotoka ekitegeeza nti tewali yamuwulidde ekyaleetedde ababbi okukuba endabirwamu n’eyiika ne bamukuba ennyondo ku mutwe ne bamusikamu ne bamusuula ebweru.

Baagisimbudde ne bagezaako okugitwala n’asituka okubagoba nga bw’akuba enduulu ekyabanyiizizza ne bayimirira ne badda ne bamwongera okumukuba.

MANEJA AYOGEDDE

Kayemba yategeezezza nti bwe baavudde mu ddwaaliro baasibidde ku poliisi y’oku Lubiri ne baggulawo omusango ku bantu abatannaba kutegeerekeka n’okumubbako mmotoka ye ey’ekika kya Wish nnamba UAZ 399J.

 bantu nga beetegereza mmotoka ya hris vans eyasuuliddwa e utundwe mu igagga ooni Abantu nga beetegereza mmotoka ya Chris Evans eyasuuliddwa e Mutundwe mu Kigagga Zooni.

Yategeezezza nti mmotoka yazuuliddwa ku makya ng’esuuliddwa mu Kabawo - Mutundwe kyokka nga bagisokoddemu ebyuma ebimu.

Wabula abantu baasigadde beebuuza engeri omuyimbi abeera e Mutundwe ate n’anona ebyokulya e Lungujja. Chris Evans yagambye nti e Lungujja gye bamusalira enviiri.

Omuyimbi ono talina mukazi okuva lwe yatabuka n’eyali muninkiniwe Jamira Kalungi era awaka yasangiddwawo yekka nga yeebase.

Bino we bijjidde nga n’omuyimbi omulala, Moze Radio baakamukuba n’afa nga February 1, 2018 mu bbaala ya De bar e Ntebe era ateeberezebwa okumukuba, Godfrey Wamala Troy akyali mu kkomera.

ABAYIMBI ABALALA ABAZZE BAKUBWA N’OKUTTIBWA

  • AK 47: Yakubwa kanyama mu bbaala e Kabalagala n’abulawo wabula AK n’afa mu March wa 2015 mu ddwaaliro e Nsambya.
  • Sara Nampijja eyali amanyiddwa nga Sera yafa mu ngeri etategeerekeka.
  • Dans Kumapeesa Puloduusa w’ennyimba yakubwa bakifeesi e Makindye n’afa nga wayise akabanga.
  • Omuyimbi Master Blaster Omusudani yamukuba essasi n’afi irawo.
  • Dizzy Nuts: Yali muyimbi wa Bebe Cool mmotoka n’emutomerera e Kireka abantu ne bagamba nti eyamutta yakikola mu bugenderevu.
  • Bebe Cool: Yakubwa amasasi ku Centenary Park. Yajjanjabwa n’awona kyokka gye buvuddeko yafunye ssente okuva mu Gavumenti ez’engassi bwe yagiwawaabira mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...