TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abanoonyi b’obubudamu gye balanda ng’olumbugu mu Kampala

Engeri abanoonyi b’obubudamu gye balanda ng’olumbugu mu Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Engeri abanoonyi b’obubudamu gye balanda ng’olumbugu mu Kampala

Sin1 703x422

Ssande Mukasa Nkoyooyo

Uhur u yagambye nti, kyetaaga okwetegereza ennyo abantu bano ssinga wabeerawo alabika okubaamu emize, ne bategeeza poliisi mu bwangu. Omwogezi wa UNHCR Dunia Khan yagambye nti, buli wantu, France, Amerika, n’awalala obumenyi bw’amateeka g ye buli kyokka n’agamba nti kikyamu bonna okubatwalira mu ttuluba lye limu.

Khan yagambye nti, obwamalaaya, obubbi, n’obumenyi bw’amateeka obulala bubaddewo ng ’abantu bano tebannajja n’agattako nti tewali ali waggulu w’amateeka, kirungi nti ababa bazzizza emisango bavunaanibwa.

John Jal omu ku babundabunda okuva mu South Sudan nga kati asoma ku ttendekero erimu ng’akola essomo lya SWASA yagambye nti, ababundabunda mu Uganda tebalina buzibu bwonna. Yagambye nti, okufuuwa Shisha oba okumutunda wadde ye tamunywa ate tamutunda, tekirina ngeri yonna g ye kyongeramu bumenyi bw’amateeka nga bwe bagamba.

Samuel Muiri Wangalwa akulira Interaid Uganda, yagambye nti, bangi abakwatiddwa abali e Luzira era babakyalira buli lwa Mmande ne bamanya embeera gye balimu n’okulaba engeri gye basobola okuyambamu famire zaabwe.

 

Baki abali emabega w’ebikolobero ku Banoonyi b’obuBUdamu Dunia Khan agamba nti, abanoonyi b’obudamu basanze obuzibu mu Uganda naddala abajja mu Kampala olw’abantu ababatwala mu bwamalaaya n’obumenyi bw’amateeka obulala. Yagambye nti, abantu bano bajja nga tebamanyi lulimi, wadde aw’okutandikira ne beekanga nga basiindikiriziddwa okuyingira ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka.

Osborn Musinguzi ow’ebyokwerinda mu Bukesa yagambye nti, waliwo ekibinja kya bakayungirizi abatuula ku ofiisi za Katikkiro wa Uganda eziri ku Sir Appolo Kaggwa abateega ababundabunda ababa bagenze okuweebwa ebbaluwa. Okusinziira ku batuuze mu kitundu kino, bano beefuula bakay ungirizi ababanoonyeza amayumba ag’okupangisa wabula be bamu ababatwala mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka era ne babalyamu ssente.

Muiri Wangalwa o wa Interaid Uganda agamba nti, n’ababundabunda abajja edda mu Uganda abaakola bizinensi abalina n’amayumba balina kya maanyi kye bakoze okutunda bannaabwe mu bwamalaaya n’okubakozesa emirimu egimenya amateeka. “Bannaabwe abo be babakozesa ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka okulaba nga babaggyamu ssente zaabwe ze baba bataddemu,” Muiri bwe yategeezezza.

Okupaaza bbeeyi y’ebintu n’amayumba; Ekitundu omusula abanoonyi b’obudamu mu Kampala, Bannay uganda kibabeerera kizibu okufunamu ennyumba ey’okupangisa olw’ebbeeyi okulinnya. Okusinziira ku Hasifa Namboozo, kansala akiikirira omuluka gw’e Bukesa ku lukiiko lwa Kampala Central Divison, ennyumba ezaali ku 150,000/- mu kitundu kye nga tekinnafuna abanoonyi b’obubudamu, kati zaalinnya ziri ku 300,000/- nga ne Bannayuganda kizibu okuzipangisaako.

Okusinziira ku batuuze, ababundabunda balina ssente ze batamanyi gye ziva ba landiroodi kwe basinziira okulinnyisa ebbeeyi y’amayumba. Abamu ku bantu balina amayumba abanoonyi b’obubudamu kwe bapangisa kuliko, Ssande Mukasa Nkoyooyo ssentebe wa Kasaato zooni mu Kisenyi, omusumba Joshua Lwere agagage gali mu Bukesa.

Nkoyooyo yagambye nti, abanoonyi b’obubudamube bantu batasangangamu buzibu bwonna ebbanga ly’amaze nabo, ssente zaabwe zibeerawo, landiroodi wazeetaagidde ekitali ku Bannayuganda ab’okugobagana nabo emisinde. Yagambye nti, ekitundu kyatwala, musinga kubeeramu Basomaali nti kyokka batya nnyo okuzza emisango. Yagasseeko nti, buli abundabunda ali mu kitundu kye, amulinako ebiwandiiko n’akafaananyi. Ssente baziggya wa?

Okusinziira ku bakulembeze, ssente z’ababundabunda ezimu ziva mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka mu mawanga g yebaava omuli ebibinja by’ababbi ababbira ku nsalo ya Kenya ne Somalia era zino abamu zebafunako ne bavuga emmotoka ez’ebbeeyi n’okusula mu mayumba ag’omulembe. Kyokka bbo abanoonyi b’obubudamu bagamba nti, ssente abamu bazeekolera ate abalala ziva mu b’ehhanda zaabwe abaasooka okujja mu Uganda oluvannyuma ne batwalibwa mu mawanga amalala. Zakaria Ibrahim Abdulahi, muyizi mu ssomero ly’abanoonyi b’obubudamu erimu ku Kampalamukadde.

Ono agamba nti, bbo ssente ze bakozesa awaka, jjajjawe y’azikola mu katale mu kampala g y’akola. Uhuru agamba nti, abanoonyi b’obubudamu bantu abakozi, abalowooza bizinensi buli kiseera era bangi abeenyigidde mu bizinensi ez’amaanyi mu Kampala n’ebweru wa wa Uganda mwe bagg ya ssente.

Dunia Khan agamba nti, omunoonyi w’obubudamu tekitegeeza nti mwavu lucoolo, abamu bantu ba mannya abava mu nsi zaabwe olw’ensonga eziteebereka ate abalala bavaayo n’ebitone omuli okusiiga, okubumba, okubajja n’okukola ebintu eby’enjawulo mwe bagg ya ssente ezibabeezaawo. “Omuntu ono alinga ggwe nange, embeera n’emusindiikiriza okuva mu nsi ye n’ajja mu nsi yo, abamu balina ebitone byabwe era bafuuse ab’amaanyi mu nsi,” Dunia Khan bwe yagambye.

Yagasseeko nti, ebitundu kimu kyakusatu ku banoonyi b’obubudamu balina bizinensi ez’amaanyi mu Uganda nga kati be bakozesa Bannayuganda. Yagambye nti balina ebirabo by’emmere, bbuca, ebbaala, wooteeri n’ebirala. Engeri aba

NOONYI B’OBUBUDAMU gye bayingira Kampala; Dunia Khan agamba nti, emitendera omuntu g y’ayitamu bw’atuuka ku nsalo, bamwaniriza ne babasunsulamu, ne babawandiika.

Abaagala okubeera mu bibuga ne babasindika ku poliisi bwe bawa ebbaluwa ne babasindika mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda gye bafunira ebbaluwa emukkiriza okubeera mu Uganda era Gavumenti ebamanyi.

Agamba nti, Uganda erina abanoonyi b’obubudamu 1,400,000 abaawandiisibwa abamu bali mu nkambi ate abalala mu Kampala wabula omuntu asobola okuky usa ekitundu gy’ayagala okubeera obudde bwonna olw’ensonga nti eddembe eryo ssemateeka wa Uganda alibawa. Nkoyooyo agamba nti, bwe bagenda gye baagala okubeera, ebbaluwa ze babawa ku ofiisi ya Katikkiro ze balaga ku kyalo era ne bagg yibwako obufaananyi n’ebiboogerako kyokka waliwo abateewandiisizza era kizibu omuwendo gwabwe omutuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono