TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasaddaaka abaana bawanikibwe ku kalabba - Babaka

Abasaddaaka abaana bawanikibwe ku kalabba - Babaka

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

ABABAKA ba Palamenti abali ku kakiiko ka Parliamentary Forum for Children (PFC) batandise okutalaaga ebitundu ebyenjawulo nga banoonya ebirowoozo ku tteeka erirwanyisa okusadaaka abaana n’abalya abantu oluvannyuma lw’okubatta!

Carol1 703x422

Ababaka ba Palamenti nga bali mu lukiiko.

Etteeka lino erikyali mu bubage, lye baagala liyisibwe baagala omuntu abeera asingiddwa omusango awanikibwe ku kalabba.

Abasawo b’ekinnansi abasinze okwenyigira mu muze guno, ababaka baagala bassibweko amateeka amakakali n’abakolera mu nzikiza bawerebwe.

Tebagenda kutaliza bazadde b’abaana ababatunda n’okubawa abasamize okubasaddaaka olw’okwagala ssente era n’abanaayamba ku muze guno nabo baakuvunaanibwa n’amaanyi.

Ababaka b’akakiiko kano nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Bennard Atiku(Ayivu County), Isaac Ssozi Mulindwa (Lugazi Munisipaali), Sarah Nakawunde Temulanda( Mukazi-Mpigi), Abdu Kitatta (Bukoto West) ne Boaz Kasirabo Ninsiima(Kooki) baasookedde Rakai awabadde ebikolwa by’okusaddaaka abaana ebiwerako.

Bano baasoose mu ggombolola y’e Kyalulangira ne basisinkana abantu baabulijjo nga babeebuuzaako n’okukuhhaanya ebirowoozonga.

Palamenti okutuuka okuvaaayo okubaga etteeka lino kyaddirira ekitongole kya World Vision okukola lipoota eziwerako eri Palamenti ku bikolwa by’okusaddaaka abaana ebisusse mu ggwanga.

Bagamba nti etteeka mwe babadde bavunaanira abatemu bano libadde teribakangavvula bulungi nga beetaaga etteeka ekkakkali lye balowooza nti lijja kukendeeza ku bikolwa bino.

Mu nsisinkano eno, omubaka wa Gavumenti e Rakai yeewuunyizza lwaki amateeka agassibwawo ku muntu abeera asse omulala tegabeera makakali ng’ate ekikolwa ky’akoze kirabika.

Ababaka baagambye nti omuze gw’okusaddaaka abaana gubadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....