TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo bagaanyi Chris Evans okuddamu okwogerera ku ssimu

Abasawo bagaanyi Chris Evans okuddamu okwogerera ku ssimu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Abasawo bagaanyi Chris Evans okuddamu okwogerera ku ssimu

Ch3 703x422

Chris Eqvans n'ekiwundu ku mutwe

ABABBI bateeze omuyimbi Chris Evans ne bamukuba ennyondo ku mutwe. Baamulese ataawa ne bamubbako mmotoka ye ekika kya ‘Wish’ ne babulawo. Olwo zaabadde ssaawa 7:00 ez’ekiro mu bitundu by’e Lungujja. Agamba nti yabadde anoonya kyakulya ng’ava mu saluuni okumusala enviiri.

Olwazze engulu n’akubira maneja we Geoffrey Kayemba eyamututte mu ddwaaliro e Mengo ne bamukolako n’oluvannyuma n’agenda ku poliisi y’oku Lubiri n’aggulawo omusango gw’okukubwa abantu babiri abaabadde ku bodaboda ne babba ne mmotoka ye ku fayiro nnamba SD REF: 03/08/05/2018. Yagenze ne ku CPS n’aggulawo omusango gwe gumu ku fayiro nnamba 02/08/05/2018.

Chris Evans eggulo yazzeeyo mu ddwaaliro e Mengo, Dr. Kisembo Nnaalongo n’akola lipoota nga bamaze okumukuba ebifaananyi ku mutwe eyalaze nti ekiwanga, obwongo n’ebitundu ebirala biramu wadde yafunye obulumi ne bamulagira obutaddamu kwogerera ku ssimu okutuusa ng’ateredde. Chris Evans yabadde n’ebiwundu ku mutwe nga bisibiddwako ‘bandegi’. Ebirala byabadde ku bigere, mu kiwato, ku kibegabega ne ku ngalo.

Chris Evans abeera e Mutundwe yategeezezza nti yabadde avuga mmotoka ye n’alaba aba bodaboda nga bamugoberera. Yabeekengedde n’asiba mmotoka okulaba oba banaamuyitako kyokka nabo ne basiba. Bwe yazzeemu okuvuga yayingidde ekikomera ky’omuntu ekitaliiko ggeeti abuzeebuze nti atuuse awaka kyokka ne bamulemerako.

Yagezezzaako okukuba enduulu kyokka nga yeesibidde mu mmotoka ekitegeeza nti tewali yamuwulidde ekyaleetedde ababbi okukuba endabirwamu n’eyiika ne bamukuba ennyondo ku mutwe ne bamusikamu ne bamusuula ebweru. Baagisimbudde ne bagezaako okugitwala n’asituka okubagoba nga bw’akuba enduulu ekyabanyiizizza ne bayimirira ne badda ne bamwongera okumukuba.

MANEJA AYOGEDDE Kayemba yategeezezza nti bwe baavudde mu ddwaaliro baasibidde ku poliisi y’oku Lubiri ne baggulawo omusango ku bantu abatannaba kutegeerekeka n’okumubbako mmotoka ye ey’ekika kya Wish nnamba UAZ 399J. Yategeezezza nti mmotoka yazuuliddwa ku makya ng’esuuliddwa mu Kabawo - Mutundwe kyokka nga bagisokoddemu ebyuma ebimu. Wabula abantu baasigadde beebuuza engeri omuyimbi abeera e Mutundwe ate n’anona ebyokulya e Lungujja.

Chris Evans yagambye nti e Lungujja gye bamusalira enviiri. Omuyimbi ono talina mukazi okuva lwe yatabuka n’eyali muninkiniwe Jamira Kalungi era awaka yasangiddwawo yekka nga yeebase.

Bino we bijjidde nga n’omuyimbi omulala, Moze Radio baakamukuba n’afa nga February 1, 2018 mu bbaala ya De bar e Ntebe era ateeberezebwa okumukuba, Godfrey Wamala Troy akyali mu kkomera.

ABAYIMBI ABALALA ABAZZE BAKUBWA N’OKUTTIBWA

Dans Kumapeesa Puloduusa w’ennyimba yakubwa bakifeesi e Makindye n’afa nga wayise akabanga.

Omuyimbi Master Blaster Omusudani yamukuba essasi n’afi irawo.

Sara Nampijja eyali amanyiddwa nga Sera yafa mu ngeri etategeerekeka.

Dizzy Nuts: Yali muyimbi wa Bebe Cool mmotoka n’emutomerera e Kireka abantu ne bagamba nti eyamutta yakikola mu bugenderevu.

AK 47: Yakubwa kanyama mu bbaala e Kabalagala n’abulawo wabula AK n’afa mu March wa 2015 mu ddwaaliro e Nsambya.

Bebe Cool: Yakubwa amasasi ku Centenary Park. Yajjanjabwa n’awona kyokka gye buvuddeko yafunye ssente okuva mu Gavumenti ez’engassi bwe yagiwawaabira mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka