TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Makindye ssaabagabo basanyufu olw'okubakolera enguudo

Ab'e Makindye ssaabagabo basanyufu olw'okubakolera enguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Ab'e Makindye ssaabagabo basanyufu olw'okubakolera enguudo

Mak2 703x422

Ebimu ku bimotoka ebikozeseddwa okukola enguudo mu Makindye Ssaabagabo

Bya Martin kizza
 
ABATUUZE e Makindye Ssaabagabo mu kucacanca oluvannyuma lw’enguudo zaabwe okussibwamu kolaasi. Basanyukidde Disituliki ye Wakiso ne KCCA okuwoma omutwe mu nkola ebawonyeza amataba mu nguudo mu biseera by’enkuba n’enfuufu mu kasana.
 
Bebazizza kkampuni ya Abu Baker Technical service eyaweebwa kontulakiti okukola emirimu gino.
 
Ezimu ku nguuzo ezikoleddwa mu divisoni ya Makindye mu kuliko Kulekaana, Nsambya-Katwe-Jjuuko, Kevina, Appas ne Bugolobi-Namuwongo Link.

“Enfuufu ebadde ebula okututta era twebaza aba Abubaker Technical services and Supplies Ltd okutukolera enguudo ku mutindo,” omutuuze Georghe Nsibirwa ewa Kulekana bwe yagambye.

 
Yinginiya atwala munisipaali ya Makindye Ssabagabo Geoffrey Ndiwalana ategeezezza nti ekitundu ky'atwala kiwonye amataba naddala kitundu kya Lufuka ekibadde kyalemerera edda abantu
 
“Abubaker batukoze buluingi. Bsibye amayinja n’okugaziya omwala era kati ekizibu ky’amataba kinakendera,”Ndiwalana bwe yategezezza.
 
Abubaker Technical services and Supplies Ltd be baawebwa omulimu okukuba kolansi olugudo lwa Namasuba-Ndejje oluwerako obuwanvu bwa kilomita 6 nga luli mu Makindye Ssabagabo.

Dayirekita wa Bayingiya ku KCCA Kitaka  Andrew  akubirizza Abubaker Technical services and Supplies Ltd okukuuma omutiundo okusobola okubasobozesa okubakumira ku lukalala lwa kkampuni eza Bannayuganda abaweebwa emirimu gya KCCA.

 
“Ezimu ku kkampuni zikola mu ngeri yakuyiiya era emirimu gyabwe gya kibogwe. Aba Abubaker tukyakolagana nabo kubanga bakola mutindo, “Kitaka bwe yategeezezza.
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...