TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't yeewoze obuwumbi 120 okulwanyisa omuze gw'okukuba abakazi n'abaana

Gav't yeewoze obuwumbi 120 okulwanyisa omuze gw'okukuba abakazi n'abaana

By Muwanga Kakooza

Added 10th May 2018

GAVUMENTI erambuludde mu bujjuvu engeri gy’egenda okukozesaamu obuwumbi 120 z’egenda okwewola ebweru ziyambe mu kulwanyisa ebikolwa by’obutabanguko mu maka naddala okutulugunya abakazi n’abaana.

Shutterstock208386664 703x422

Minisita w’eggwanga ow’ekikula ky’abantu,  Peace Mutuuzo ategeezezza nti ssente zino tezigenda kukoma ku kulwanyisa bikolwa bya butabanguko mu maka byokka wabula  n’okulondoola embeera z’abakozi ku mirimu.

Mutuzo eyabadde n’omuwandiisi w’enkalakkalirira mu Minisitule y’ekikula ky’abantu, Pius Bigirimana yagambye bannamawulire mu Kampala  nti disitulikiti 13 ezigenda okuganyulwa mu nkola eno ng’ezimu ku zo kuliko; Wakiso, Mukono, Masaka, Kamuli, Kamwenge, Kabalore, Aleptong, Zombo n’endala.

Ssente zigenda kuggyibwa mu bbanka y’ensi yonna  era nga zaakuyamba okutumbula embeera z’abakyala  n’abaana mu bitundu omuli enkulaakulana ey’omuggundu okugeza omukolebwa enguudo n’okuzimba ebizimbe eby’okumukumu.

Ng’oggyeeko okulwanyisa obutabanguko mu maka, ensimbi zigenda kuyamba mu kubudaabuda abatuusiddwaako obutabanguko okugeza; abaana n’abakazi abakakiddwa omukwano.

Zigenda kuyamba n'okutumbula empeereza ya poliisi ku misango gy’okutulugunya abantu mu maka, okugula n’okutendeka abakugu mu kukung’anya obujulizi bw’emisango gy’abatuusiddwaako ebikoloberero mu maka, okutereeza empeereza y’amalwaliro agali ku ddaala ly’amaggombolola gasobola okukola obulungi ku batuusiddwako okutulugunyizibwa, n’okutendeka abavunaanyizibwa ku mbeera z’abakozi n’abaana mu disitulikiti 13 ku ngeri y’okulondoola abatyoboola eddembe lyabwe.

Poliisi 13 zigenda kussibwawo mu disitulikiti 13 n’okuweebwa ebikozesebwa mu kulondoola abatulugunya abantu mu maka, abawala n’abalenzi abawanduse mu masomero olw’okutulugunyizibwa abawera 1,404 bagenda kutendekebwa mu bintu ebitali bimu ebibayamba okweyimirizaawo, abasawo 148 bagenda kutendekebwa mu by’okujjanjaba  n’okubudaabuda abatuusiddwaako ebikolobero, abapoliisi 10,000 bafune okutendekebwa okwenjawulo mu nsonga zino n’ebirala.

Mutuuzo yawakanyizza ebigambibwa nti bbanka y’ensi yonna ye yakase Uganda okwewola ssente zino n’agamba nti obwetaavu bw’okulwanyisa ebikolwa bino weebuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata