TOP

Abasse omuwala e Mutundwe bakyabanja

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2018

ABATEMU abaawambye n’okutta mu bukambwe omuwala w’essomero Edrina Nalule 18, bongedde okwolesa ejjoogo eri bazadde be bwe babakubidde essimu nga babapeeka akakadde ka ssente ze bagamba nti baazisaasaanyizza ku ‘airtime’ n’amafuta g’emmotoka mwe baatambulizza omulambo.

United 703x422

Omugenzi Nalule.

Bya JOSEPH MUTEBI NE IVAN LUBEGA

Balabudde aba famire nti singa olw’enkya ( Lwomukaaga) luziba nga tebabawadde ssente, ekinaddako beenenya bokka kubanga tebagenda kuddamu kukuba ssimu ndala esaba ssente zonna.

Nalule abadde asoma kusiiga bifaananyi n’okutunga ku YMCA ku ttabi ly’e Buwambo baamuwambye ku Ssande ne bamutta mu bukambwe ku Mmande ya wiiki eno.

Omulambo gwasuuliddwa e Mutundwe mu Kabaawo Zooni.

Gwasangiddwa guggyiddwaamu eriiso erimu, olulimi n’ebbeere erimu nga lisaliddwaako.

Abatemu baakubidde kitaawe essimu ne bamusaba 1,000,000/-, ze baakozesezza mu kutambuza muwala we okutuuka lwe baamusse.

Abu Baker Kabugo, kojja w’omugenzi yategeezezza nti ku Lwokusatu olweggulo abatemu baakubidde mukoddomi we azaala omugenzi Godfrey Kabuye ne bamutegeeza nga bw’alina okubawa 1,000,000/- ze baasaasaanyizza nga batta muwala we.

“Gwe ssebo, ono ye Kabuye? Ffe abatemu abasse muwala wo Nalule.

Tolowooza nti bwe twamusse byawedde. Olina okutusasula akakadde kaffe kalamba ke twakozesezza mu kutta muwala wo, omuli okugula ‘Airtime’, amafuta ge twatambuzza n’okupangisa ebifo eby’enjawulo mwe twamusuzizza,” Kabugo bwe yategeezezza.

Yagambye nti kino kyayongedde okuteeka famire ye ku bunkeeke nga maama w’omugenzi, Farida Nassali ne kitaawe Godfrey Kabuye abatuuze b’e Nakibizzi mu Munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe bali mu kutya.

Kabugo yayongeddeko nti, babadde bakwatagaana n’aba Flying Squad wabula ate omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Okoth Ochola yaggyeewo ekitongole kino kati tebamanyi kya kukola.

Wabula omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango yagambye nti, aba famire tebalina kutya kubanga omusango gwabwe gubadde gukolebwako ekitongole kya poliisi ekya bambega okuva mu Kampala n’emiriraano era bagenda kusigala nga bagutwala mu maaso, nga kati balondoola amasimu n’entambula y’abatemu bano era nga balina we batuuse.

EBIKWATA KU PAASITA GWE BAAKUTTE BITIISA

Paasita Leonard Wambazu ow’ekkanisa ya House Of Fire Ministries International e Mbikko mu Njeru eyakwatiddwa ku by’okuwamba n’okutta Nalule biranze abatuuze b’oku kyalo bwe bamulumirizza ku by’okuganza obuwala obuto.

Ng’oggyeeko okuganza mukyala wa Godfrey Kabuye era nga ye maama wa Nalule bagamba nti abadde aganza abaana abato.

Kitaawe wa Nalule, Kabuye yategeezezza nti omusumba ono abadde ayiseewo mu kumujooga kubs abadde teyakoma ku kuganza muwala we wabula ne nnyina n’omuwala omulala mu famire gwabadde yafunyisa n’olubuto ne baluggyamu.

Muwala we asoma mu yunivasite era nga paasita yamuganza emyaka 4 emabega ng’ono yayagala n’okumulemesa ave mu ssomero. Era ng’omusango guno abadde yaguloopa ku poliisi wabula nga babadde baamuvuluga olw’ensimbi ennyingi paasita z’abadde assaamu.

“Njagala poliisi bw’ebeera emanyi okubuuliriza kwennyini eyongere okukunya paasita ono kubanga aludde ng’abuzaabuza abaana bange okutuusa omu bwamusse,” bwatyo Kabuye bwe yategeezezza.

BUKEDDE bwe yatuuse ku kyalo Namwezi, paasita Wambazu gy’alina amaka abaayo ne bategeeza nga paasita bw’abadde abafuukidde ekizibu ku kyalo era ng’abeeraliikiriza olw’okuganza obuwala obuto.

Ssentebe w’ekyalo kino, Joseph Mayanja yagambye nti, aludde ng’afuna okwemulugunya okuva mu batuuze abazze ng’abamuloopera paasita ono wabula nga abadde atya okwanukula kubanga alina abagoberezi bangi ng’atya nti bayinza okumukolako akabi.

James Wasola , kojja wa Wambazu eyasangiddwa mu maka ga Wambazu yagambye nti mutabani we abadde naye kati ebbanga lya mwaka mulamba wabula tamuwulirangako buzibu bwonna.

Wabula yakkirizza nti, Wambazu abadde asinga kukyaza bawala ewuwe naye n’agamba nti bano abasinga bayimbi mu kkwaaya y’ekkanisa nga n’abalala be bamu ku bamuyambako ku kkanisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...

Kubayo 220x290

Basse omulaalo ne bamuziika ne...

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala...