Omutwe guliko biwundu bitaano Chris Evans by’alumiriza nti z’ennyondo abatemu ze baamukuba ku mutwe n’endala nnya ne bazikuba mu bitundu ebirala nga z’enyondo mwenda.
Ng’ali mu ddwaaliro e Namirembe gye baamuggyideko ‘bandage’ ze baamusiba ku mutwe bwe yali yaakakubwa abatemu e Lungujja ku Lwokubiri ekiro, Chris Evans ng’amannya ge amatuufu ye Christopher Kaweesi yategeezezza nti, kibadde kimuluma abantu okumuyeeya nti baamukuba ngolo wabula ye n’aziyita ennyondo.
Yasabye abasawo abaabadde bamwoza ebiwundu nti nga tebannaddamu musiba ‘bandage’, basooke bakkirize kkamera za Bukedde zimukube ebifaananyi abantu abamuyeeya bamanye.
Chris Evans eyabadde ne maneja we, Geoffrey Kayemba ne bagandabe yagambye nti ye si muntu ow’okukola obubadi naye abantu bonna nga ne mikwano gye mwebali ababadde bamusekerera, yabakwasizza Katonda.
Abasawo abataayagadde kwatuukirizibwa mannya baategeezezza nti, olumu kibeerawo omuntu n’akukubwa omutwe ne gutayatika nga kisinziira ku nkuba gye bamukubyemu oba kye bamukubisizza nti wabula ebiwundu ebyo byetaaga kwegendereza nnyo engeri gye biri nti byayingidde mu nnyama ate nga baakozesezza maanyi okumukuba.
Yabadde n’ebisago bitaano ku mutwe nga biri mu buli nsonda. Emmotoka ye ey’ekika kya Wish nnamba, UAZ 399J eyali emubbiddwaako abaamukuba wabula ne bagisuula e Mutundwe mu Kabaawo zooni, ekyaliwo ku poliisi e Lungujja nga poliisi ekyanoonyereza.
Wabula naye kennyini mmotoka eyo yagitidde okugiddira ng’agamba nti tamanyi nsonga lwaki baamulumba ng’ate n’emmotoka gye baali babbye baagisuulawo.
Ku Lwokubiri abasawo e Namirembe baamukuba ebifaananyi bya MRI ebiraga amagumba g’omuntu agafunye ekizibu ne kiraga ng’omutwe mulamu okugyako ebiwundu.