TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Jennifer Musisi asiimye Bukedde ku kabaga ka bannamawulire

Jennifer Musisi asiimye Bukedde ku kabaga ka bannamawulire

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2018

Jennifer Musisi asiimye Bukedde ku kabaga ka bannamawulire

Jub2 703x422

Muky. Musisi ne bannamawulire nga bazina ppaka kkiini.

NNANKULU wa Kampala, Jennifer Musisi naye toyinza kumunyooma mu mazina! Bwe yabadde ku kabaga ke yakoledde bannamawulire ng’abasiima emirimu n’obuwagizi bwe balaze eri ekitongole ky’akulembera ekya KCCA okumanyisa Bannakampala ne Bannayuganda okutwaliza awamu emirimu gye kikoze, yatemye ddansi ne yeewuunyisa abaabaddewo.

Muky. Musisi yasiimye emiko gya ‘Ono ye Kampala’ egifulumira mu Bukedde buli Lwakusatu nti gimuyambye okumulaga awali ebikyamu ne bitereezebwa era bayooyoose ekibuga nga kati kitemagana ate tukyakola ebirala bingi omuli n’enguudo.

 

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokutaano ekiro ku Ssezibwa Road mu maka aba KCCA mwe baggya eyali Meeya Sebaggala nga kati waafuulibwa kimu ku bifo we batendekera abantu (KCCA Training Center),

Muky. Musisi yagambye nti abaamawulire baamuyamba nnyo mu lutalo lw’okununula ekifo kino. “Singa ebya KCCA tetubibabuulira ne mubitegeeza Bannakampala tebanditegedde bye tukola. Mukoze omulimu gwa maanyi si mu kumanyisa bantu bigenda mu maaso mu Kampala kyokka, naye n’okutuwabula nga musinziira ku mikutu gyammwe.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.