TOP

Eby'omwana bireppusa Faaza!

By Stuart Yiga

Added 13th May 2018

Eby'omwana bireppusa Faaza!

Fr6 703x422

Fr. Ssemwogerere

MAURINE Kisaakye bwe yaweza emyaka 16,abazadde be ne bakaluubirirwa okumuweerera. Kwe kumutwala ewa Faaza w’e Kigoowa okumpi n’e Ntinda amuyambe. Ebintu gye biggweeredde nga Kisakye afunye olubuto era taata w’omwana ye Faaza yennyini. Fr. Robert Ssemogerere abadde muzibu nnyo mu nsonga zino.

Okumukkirizisa nti ye taata w’omwana kubaddemu okumukozesa akakalu ku poliisi, okumuggyako omusaayi ne gukeberwa emirundi ebiri - omulundi ogwasooka yabigaana nti bijingirire. Kyokka omulundi ogwookubiri ebyavudde mu musaayi nga biraga nti buli kye baakebedde ku mwana kifaananira ddala n’ekya Fr. Ssemogerere.

Ate n’omuwala ekiseera ky’ayitamu si kyangu. Amaze emyaka ebiri ng’Abakristu bamutaddeko olukomera obutabaako ky’ayogera, bamutuuzizza mu nkiiko ez’enjawulo nga bamulaga ekinaamutuukako ssinga ensonga tazisirikira.

Wabula mukazi wattu kati asobeddwa. Faaza yakola akakalu okumuwa ssente, kyokka yazimuwa omulundi gumu n’abivaako. Kati addukidde wa Minisita Nakiwala Kiyingi eyakayamba omuwala, omuyimbi Mathias Walukagga gwe yazaalamu omwana n’amwegaana.

 isakye nomwana we u kkono yebbaluwa ekakasa ebyava mu musaayi Kisakye n'omwana we. Ku kkono y'ebbaluwa ekakasa ebyava mu musaayi.

 

Kyokka buli lw’agenda ewa Minisita tamusanga, oba ne bamulemesa okumulaba. Kisakye aliko omuzigo we yeewogomye e Kyebando n’omwana we gwe b'abatiza erinnya lya kitaawe erya Ssemogerere. Bwe bafuna eky’emisana ate eky’eggulo ne kibula ne basula njala.

Ennaku gy’alimu tegambika. Yatutte omusango ku poliisi ng’awaaabira Fr. Ssemwogerere obutamuwa buyambi. Guli ku fayiro SD: 40/06/01/2018. Ekitongole ekikola ku nsonga z’abaana n’amaka ku Poliisi ya Kampalamukadde, kyatandise okulondoola ensonga zino.

BYAJJA BITYA Kisaakye yali atudde waka nga takyasoma. Mukwano gwe ayitibwa Joan n’amuyamba n’amutwala ewa Bwanamukulu w’ekigo kya St. Andrew –Butuukirwa-Kigoowa, Rev. Fr. Edward Ssekalembe okumuyamba asome.

Bwanamukulu yakkiriza okuyamba Kisaakye n’amuwa omulimu gw’okuyambako ku bafumbi b’emmere mu kigo nga buli mwezi asasulwa emitwalo 10. Kisaakye eyabadde ayogera ng’akaaba, ng’asitudde omwana we agamba nti olumu Bwanamukulu yali taliiwo ate nga n’omukyala Harriet Nakitto gwe yali ayambako mu by'okufumba agenze kwabya lumbe, yawulira omuntu amukonkona nga yeebase ekiro. “Nnaggulawo oluggi era ng’enda okwetegereza nga Fr. Ssemogerere y’ali ku luggi. Natya nnyo engeri gye nnaliwo nzekka ate nga kiro.

Faaza yalaba ntidde n’ankwata ku mukono. Twatuula ku kitanda n’angumya nti totya, nzize kukubeesabeesa oleme kuwubaala mu nju wekka. Nnatya nnyo, Faaza bwe yatandika okumpeweeta, n’ampaana nga bw’ankwatirira, ekyaddirira kwali kunkozesa.” Attottola: Oluvannyuma lwa Faaza okunkozesa, yandabula obutabaako muntu yenna gwe mbuulira. Era ssinga alibaako awantu wonna w’akiwulira, yali ajja kugamba Bwanamukulu angobe ku mulimu.

Nange nnaguma era waayitawo ennaku ntono, Fr. Ssemogerere n’agenda ebweru. Nnatandika okulwala omusujja n’okusesema kumpi buli kiseera. Emirimu nnali si kyagikola bulungi. Harriet Nakitto n’ategeeza Bwanamukulu era ne bantwala mu kalwaliro ka JB Clinic e Kyebando okufuna obujjanjabi. Abasawo bankebera ne bakizuula nga ndi lubuto.

Bwanamukulu yawuniikirira, kubanga tewali yali ansuubira kwebaka na basajja. Nange nnatya nnyo ne nkubira ssenga wange Hellen Nakabuye essimu ne mutegeeza ebyali bintuseeko. Enkeera, Bwanamukulu Rev. Fr. Edward Ssekalembe yampita n’ambuuza oba waliwo omuntu yenna gwe nnali ntegeezezza ku by’olubuto. Yankambuwalira nnyo mubuulire nnannyini lubuto nange ne mutegeeza nti lwa Fr. Ssemogerere. Yanziramu nneme kumulimba kubanga Bafaaza tebazaala. Oluvannyuma yansaba nkikuumenga kyama bwe kiba nga kituufu olubuto lwa Faaza, kubanga ekyo kiswaza Eklezia. Bwanamukulu yankwasa omukyala tugende mu ddwaaliro okubaako bongera okwekeneenya ku by’olubuto lwange.

FR. SSEMWOGERERE YEEGAANA OLUBUTO Fr. Ssemwogerere bwe yakomawo ne bamutegeeza ensonga eyali mu ddiiro n’atabuka. Yannumba nti nnali mwesibako nga ndowooza alina ebisawo bya ssente z’aggye ebweru by’ayinza okumpa.

NZAALA OMWANA

Nnali sinnaba kwetuuka (nga nnina emyaka 16) ate nga nnyini lubuto yali alwegaanyi, Bwanamukulu yakwatagana n’aba famire yange n’abasaba okugira nga banzijanjabira ewaffe nga naye bw’abayambako mpolampola era ensonga bazikuume nga za kyama. Yatuwa emitwalo 50, gye twatandikirako. Nnazaala omwana mulenzi nga March 5, 2016 e Nsambya. Ebbaluwa z’eddwaaliro kw'awandiikibwako Fr. Ssemogerere nga ye taata w’omwana. Omwana bwe yaweza emyezi 6, embeera yannemerera nga sirina buyambi bwonna. Nnasitula omwana ne muteeka ku mulyango ogufuluma ewa Fr. Ssemwogerere. Kino nakikola emirundi esatu, naye ng'omwana abuuka mubuuke n’amulekawo n’agenda

TUGENDA MU MUSAAYI

Bwanamukulu yatuula ne banne okwali Fr. Kato, ne basalawo ne baleeta Dokita waabwe nange ne bampita. Nze n’omwana Dokita yatuggyako omusaayi. Fr. Ssemogerere naye ne bamuggyako ogugwe ne gutwalibwa okugukebera. Ebyava mu musaayi byakomawo nga biraga nti omwana wa Fr. Ssemogerere. Kyokka teyakkiriziganya nabyo ng’agamba nti byali bipange. Yabiyingizaamu ne Bwanamukulu nti yali ayagala kumwonoona ky’ava abiwagira.   

POLIISI EYINGIRA MU NSONGA    Oluvannyuma lwa Faaza okwegaana, famire ya Kisakye yatwala ensonga ku Poliisi y’e Ntinda ne baggulawo omusango gw’okusobya ku muwala waabwe. Omusango gwaloopebwa September, 13, 2016, kyokka tebaayambibwa, kwe kwekubira enduulu ku Poliisi ya Kira road eyali etwala Ntinda. Aba Kira Road baatumya fayiro y’omusango n’ebula.

Amagezi ganneesiba era olumu nnalowooza okutwala omwana musuulire Faaza ku katuuti ng’asoma mmisa nga mpulira ensi ennyiye. Waliwo eyatuyamba n’atuyunga ku Poliisi ya Kampalamukadde, eyatuyamba okutwala omusango gwaffe mu maaso. Era n’etuyunga ku kibiina ekiyitibwa ‘Children at Risk Network’, ekyatuwa ku buyambi bw’omwana okufuna eky’okulya, okwambala n’okumujjanjaba ng’alwadde.

TUDDAYO KU MUSAAYI Faaza yali awakanyizza ebyasooka okuva mu musaayi. Poliisi yatuwa amagezi tunoonye ssente baddemu okukebera omusaayi. Poliisi yawaliriza Faaza ne batukebera. Nga wayise emyezi ebiri, ebyava mu musaayi byakomawo nga biraga nti Faaza ye nnyini mwana. Lipoota y’abasawo eraga nga buli kye baakebedde ku mwana kikwatagana n’obutonde bwa Faaza.

FAAZA AKKIRIZA OKULABIRIRA OMWANA Faaza ku luno yamatira kubanga abasawo baddamu okumunnyonnyola nnyukuta-ku nnyukuta ku bye baali bazudde. Faaza n’akakasa nti omwana wuwe era n’akkiriza okutwala obuvunaanyizibwa bw’okutulabirira n’omwana wange.

Faaza yakoze akakalu nga March,08,2018, nga yeeyama okutuwa ssente z’okupangisa enju, okuntandikirawo bizinensi n’okumpa ssente z’okwekuumisa awaka. Bukedde alin kkopi y’akapapula akaawandiikiddwa Faaza n’amuwa emitwalo 40. Ku zino asasuleko ennyumba ya mitwalo 10, emyezi esatu ate emitwalo 10 kulabirira mwana.

Kyokka Kisakye agamba nti yabadde akyanoonya nnyumba omwana n’alwala ssente n’azikozesa gattako okugula ebyokulya. Bw’akubira Faaza essimu tagikwata.

FAAZA AKYUSIBWA Fr Ssemogerere yakyusiddwa gye buvuddeko n’azzibwa e Ntinda ate e Kigoowa gy’abadde n’esindikibwayo Fr Peter Lugobe.

FAAZA ATUSINDIKIRA SSAABAKRISITU Kisakye agamba nti gye buvuddeko waliwo eyamukubidde essimu ne yeeyanjula nti ye Ssaabakristu w’Essaza lya Kampala ye Anthony Mateega. Twamusisinkana ku kizimbe kya ‘Sure House’ okwogera ku nsonga zaffe ne Faaza Ssemogerere.

Yambuuza engeri gye njagala annyambemu ne musaba ankolere edduuka ly’engoye, n’okumpangisiza omuzigo wensula. Yakkirizza okunnyamba era noonye ekifo akisasule okumala omwaka kyokka olwayawukana bwe naddamu okumukubira essimu ng’akyusizza ekirowoozo.

Kisakye abeera wa Harriet Nakitto gwe baali bafumba naye emmere, kyokka naye takyakola talina ssente. Agamba nti waliwo owooluganda lwa Faaza eyatwalidde Kisakye akafaliso oluvannyuma lw’okuwulira nti basula ku seminti n’omwana   

 Bafaaza abazze baleppuka n'emisango egyekuusa ku bakazi     l Ono si ye faaza asoose okuwerennemba n’omusango gw’okuzaala omwana n’atamuwa buyambi. Mu Dec.17.2014, Omukazi Betty Namuddu, 31, okuva ku kyalo Kasaali mu ggombolola y’e Bukulula, mu Disitulikiti ya Kalungu, yagumba ku ofiisi z’eyali (RDC) e Masaka-Linos Ngopek, ng’ayagala amuyambe ku faaza okumuwa obuyambi. Namuddu yategeeza RDC nti, Faaza w’e Bugonga yamuganza mu 2001, bwe yali tannamaliriza misomo ku Centenary High School. l Nga May, 29, 2017, Fr. Paul Nyahanga, owa Our Lady of Africa e Mbuya, yagattibwa ne Dr. Silvia Owor, gwe yali amaze ebbanga nga baagalana era nga balina abaana basatu, omulenzi n’abawala babiri.Eyakola omukolo gw’okugatta, Faaza John Mungereza yaetegeeza nti, oluvannyuma lw’okuzuula ensobi gye yali akoze ey’okuganza omukazi n’amuzaalamu n’abaana, Faaza Nyahanga yawandiikira Paapa ebbaluwa ng’amusaba ave mu buweereza asobola okugenda mu maaso n’omukwano gwe ne Owor, era n’akkirizibwa. Okusinziira ku mawulire agaafulumira mu Sunday Vision June 11, 2017.

Ng’ejuliza Associated Press, omwaka 2014 we gwatuukidde nga Vatican yaakagoba Bafaaza 848 olw’ebikolwa eby’okwagala abakazi okuva 2004. Ekiseera ekyo Klezia yalina Bafaaza 410,000. l Mu April, 2017, omusuubuzi w'omu Kampala Joseph Balikuddembe Sekanjako, ow’e Bulenga, yaleppuka ne Faaza Emmanuel Nyanzi Bukulu, ng’amulumiriza okuganza mukazi we Harriet Namata n’amuzaalamu n’omwana, Allan Lawrence Sekanjako.

Omwana yamukebeza endaga butonde ku Little Biotech and Lancet Laboratories, ne kizuulibwa nti teyali wuwe. December, 14, 2002, Balikuddembe yategeeza , omwana yali wa Faaza Nyanzi. l Faaza Anthony Musaala- y’omu ku bavaayo mu lwatu n’asaba Eklezia ebakkirize okuwasa mu kifo ky’okuganza abakazi ne bazaala n’abaana ate ne bekweka olw’okutya okusongebwamu enwe.     

AB’EKIBIINA KYA CARE BABIYINGIRAMU:     

AB’EKIBIINA kya ‘Children at risk action network’ (CARE) abasooka okulabirira Kisaakye, baatutegeezezza nti, omuwala baamuwa emitwalo 30 atandikewo ka bizinesi k’okutunda amanda era ke kamuyamba okwebezaawo mu kusooka. Bwanamukulu w’ekigo kya Kigoowa, Rev.Fr. Edward Ssekalembe, twagenze ku ofiisi ye okubaako by’atutangaaza ku nsonga z’omuwala ne tutamufuna.

Omuwandiisi we gwe twasanze mu ofiisi yatutegeezezza nti, talaba bantu mu nnaku ndala okuggyako Olwokubiri oba Olwukuna. Ennamba y’essimu eya Fr. Robert Ssemogerere nayo twagikubyeko nga tagikwata. Amyuka Ssaabakrisitu w’Eklezia mu Uganda, Anthony Mateega, twamukubidde essimu n’akkiriza nti kituufu ensonga zino si mpya gy’ali wabula n’atutegeeza nti, teyabadde mwetegefu kuzoogerako ng’ali ku ssimu. Mu biseera Mw. Mateega we yayingirira mu nsonga z’omuwala ono, ye yali Ssaabakristu w’Essaza lya Kampala.     

EKLEZIA BY’EGAMBA       

OMWOGEZI w’essaza lya Kampala, Msgr. Waynand Katende eby’okukyusa Fr. Robert Ssemogerere n’aggyibwa mu Kigo ky’e Kigoowa n’atwalibwa mu ky’e Ntinda, yategeezezza Bukedde nti, tekirina we kyekuusiza ku nsonga za muwala. “Nze n’omuwala ayogerwako simumanyi okuggyako namusomako mu mpapula z’amawulire naye Faaza eyamusobyako erinnya lye nalyo mbadde sirimanyi.

Kyemmanyi omuntu bamugaba ate ne bamujjulula nga ne Ssaabasumba bwe yaggyibwa e Luweero n’aleetebwa mu Kampala, Paapa yekka y’atajjululwa,” Msgr. Katende bwe yagambye. Yayongeddeko nti, Ssaabasumba Dr. Cyprian Lwanga yabategeeza ku Mmande ewedde nti alina enteekateeka z’okukyukakyusa mu bafaaza era n’abasuubiza okubatageeza ku nsonga eno mu butongole ku Lwokusatu tetwamufunye ku nsonga eno.

Ekitegeeza nti eby’okukyusa mu bafaaza tekyekuusa ku nsonga yonna, wabula kibadde mu nteekateeka. Yayongeddeko nti, Poliisi bw’eba erina by’enoonyereza ku Faaza tebalina kye bakyogerako olw’ensonga nti baba bakola mirimu gyabwe egibaweebwa mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono