TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba layini z’essimu babavunaana kuwandiika ez’abatta Magara

Aba layini z’essimu babavunaana kuwandiika ez’abatta Magara

By Musasi wa Bukedde

Added 13th May 2018

Aba layini z’essimu babavunaana kuwandiika ez’abatta Magara

Neb2 703x422

Rachael Nansubuga ne Vincent Ssebitosi mu kkooti.

ABANTU bataano abagambibwa okuwandiisa layini z’essimu ezaakozesebwa abazigu abatta Suzan Magara basimbiddwa mu kkooti y’Omulamuzi Sarah Namusobya ow’eddaala erisooka e Makindye ne basomerwa emisango ebiri okuli n’okuwandiisa layini z’essimu mu mannya amakyamu.

Shakira Babirye ng’oluusi yeeyita Joan 22, ow’ e Katwe Central Zooni ng’ono yawandiisa layini nnamba 0759887932 ng’akozesa densite ya Huzayifah Kayondo kyokka ennamba n’agiwa abatemu.

Ono era yavunaaniddwa n’okuwandiisa layini z’essimu mu lukujjukujju. Abalala abavunaaniddwa emisango gye gimu kuliko; Vincent Muwanguzi Ssebitoosi 24, Rachael Nansubuga ng’oluusi yeeyita Zuhura nabo era baawandiisa layini mu bukyamu, kwossa ne Ruth Nakafeero ne Lamech Ronald Kato.

Abawawaabirwa bano emisango baagizza wakati wa February 23 ne 25, 2018 mu kitundu by’e Katwe ne Kabalagala nga kirowoozebwa nti, baakozesebwa abatemu abatta Suzan Magara ne babalimba ne bawandiisa amasimu gaabwe nga bakozesa densite z’abantu abalala.

Abavunaanibwa bonna baakwatibwa poliisi emyezi ebbiri egiyisse nga Suzan Magara abatemu baakamutta. Bazadde b’abasibe baakaabidde ku kkooti nga balabye ku baana baabwe ne bagamba nti okuva bwe baakwatibwa emyezi ebiri egiyise babadde tebabakkiriza kwogera nabo wadde okubalabako newankubadde nga poliisi ebadde ekamanyi nti abaana baabwe baali bakola gwa kuwandiisa masimu tebeenyigira mu butemu.

Omulamuzi Namusobya abawawaabirwa yabasomedde emisango kyokka ne bagyegaana era omuwaabi wa Gavumenti Happiness Ainebyona n’asaba kkooti ebawe akadde akamala okunoonyereza ku musango guno. Omulamuzi abawadde omukisa abalina abasobola okubeeyimirira baggye nabo nga May 28, 2018 n’abasindika e Luzira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...