TOP

By’olina okumanya ku kumalamu akagoba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2018

By’olina okumanya ku kumalamu akagoba

Lab3 703x422

Bano baabadde badigidira mu kabuga k’omu Nyendo ku njegoyego z’ekibuga Masaka. Okuzinamu nga bano nakwo kuyamba okumalawo situleesi

OKUMALAMU akagoba kulimu guledi. Era nga eyo esembayo ogirabira ku mukazi kulebera yenna n’aba nga tayagala na kuddamu kwegatta okumala akaseera akatakka wansi wa ddakiika 30. Wabula nga mu basajja kw’olabira nti otuuse ku guleedi esembayo ey’okumalamu akagoba kwe kuba nti otamwamu okwegatta era oluusi n’osituka ne mu kitandan’ofuluma ekisenge nga weekwese mu ky’okugenda okufuka amazzi oba okutunula ku kisenge.

Kati nno wano we gunyumira kubanga mu mpisa z’Abaganda ate ye omukazi aba ayagala kukukwata akuyiseeko ekitambala kyaffe kiri eky’omu buliri.

Kale abasajja balina okutya nga balowooza nti bwe batayungirawo nga bamazeemu akagoba bajja kubanyooma mumanye nti kino kiri mu butonde. Abaganda kye baava bayiiya enkola y’omukazi okulongoosa omusajja buli safari lw’eggwako okusobola okumuwa amaanyi addemu agalule saluti.

Mu kumukwatakwatako okwo afuna amaanyi amapya. Wabula abakugu bagamba nti baakizudde ng’omukazi ate y’asooka okuyunga okuddamu endasi nga mubadde mufunye guleedi eno esembayo mu kagoba. Wabula nga mwembi enkeera muba muwulira ng’emibiri gyamwe mirebevu. Oba kale kiyite laasitiika ezanaanuuse.

Akabonero akalala akalaga guleedi y’okumalamu akagoba nti yanoze kwe kufuluuta ku njuyi zombi. Bwe mwebaka nga mumaze okufuna akagoba kano akabanoze, mutera okufuluuta.

Kubanga omubiri gwonna guba gunaanuuse nga guwewedde. Kino bwe kibaawo nga kyamuddiringanwa okumala nga wiiki, oyinza okulaba nga mwembi engoye ezibadde zibamiima nga zitandise okubasagala. Awo okusiba emisipi we kutaasiza. So ng’ate bwe kitaba kya muddiring’ana nnyo kireetera akasusu kamwe mwembi okunyinrira ne mwegombesa abalabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kad1 220x290

Kadaga asabye ababaka okukola amateeka...

Kadaga asabye ababaka okukola amateeka agakuuma abali ku kyeyo

Bob1 220x290

Omubaka Robert Kyagulanyi alumbye...

Omubaka Robert Kyagulanyi alumbye Gavumenti ku by'e Bududa

Ken1 220x290

Abavubuka b'e Mpigi bakubiriziddwa...

Abavubuka b'e Mpigi bakubiriziddwa okwenyigira mu bibazimba

Gi 220x290

Gitawo yeegaanye eby'okuggya ssente...

Cameroon Gitawo yeegaanye eby'okuggya ku musuubuzi mu lukujjukujju. agamba bamusibako matu ga mbuzi kumulisa ngo....

Jen2 220x290

Jennifer Musisi awummudde emirimu...

Jennifer Musisi awummudde emirimu gya KCCA