TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abafumbo lwe balemwa okukwatagana olw’emyaka

Abafumbo lwe balemwa okukwatagana olw’emyaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

ENNAKU zino abawala abato naddala nga basoma baagala abasajja abakulu ng’abamu batuuse okubeera bakitaabwe oba bajjajjaabwe!

8e060952106bd687f505a7d0a1572b55 703x422

Ekyebuuzibwa ddala abawala bano abato balina omukwano ku basajja ab’engeri eno. Kizuuliddwa nti abawala bangi baagala abasajja abakulu ng’ekigendererwa kya kubafunamu ssente n’ebyetaago ebirala.

Ate n’abazadde ennaku zino batandise okugaba abaana abawala nga bakyali bato. Kyebakola bateesa n’omusajja okusasulira omwana waabwe omuwala fiizi z’essomero. Ebyembi omuwala bw’amaliriza ng’abazadde bamugaba.

Omuwala abeera mu mukwano nga guno abeera tayagala musajja naye olw’embeera n’awalirizibwa okwesogga amaka.

Naye omukwano gwe twogerako gwe mukwano ogwa nnamaddala ng’omuwala yeesiimidde omusajja ne baagalana bulungi ng’omukwano gwabwe oluusi teguliimu ssente!

Omukugu mu kubuulirira abafumbo, abavubuka n’abali mu mukwano, Edith Mukisa agamba nti newankubadde omukwano guno guyinza okubeerawo naye waliyo ebizibu ab’omukwano bano bye bayinza okusanga.

EBIZIBU EBITERA OKUBEERAWO

Okusookera ddala olw’emyaka gy’omusajja ono, asigala alaba mukyala we ng’omwana. Ate era n’omukyala asigala alaba omusajja ono nga kitaawe oba jjajja.

Embeera eno kizibu ogyewala naddala wano ewaffe mu Africa kubanga tulina embeera nti omuntu eyenkana kitaawo obeera omutya. Olw’embeera eno wakati w’abafumbo bano oluusi omuwala yeesanga nga waliwo by’atasobola kukola okufuna essanyu.

Kya butonde nti omusajja bw’akula amaanyi g’ekisajja galina okukendeera so nga omuwala omuto obwagazi bubeera waggulu. Kubanga obwetaavu tebwenkana oluusi wabeerawo obuzibu bw’omukyala obutamatira, oba ng’omusajja yeeraliikirira obutamatiza omukyala we. Embeera eno oluusi ewaliriza abasajja okukozesa ebiragalalagala okulaba nga bafuna amaanyi.

Abasajja abasinga ababeera mu mbeera y’okuwasa omukazi gw’asinga emyaka egiwerako, afuna ebbuba olwo n’atandika okutangira abasajja abalala abayinza okumukwana okumwesembereza.

Ebiseera ebisinga abeera mu kweraliikirira ng’omukyala ayinza okufunayo omusajja omulala amuyambako naddala mu nsonga z’omukwano nga ky’anoonya kufuna kumatizibwa mu nsonga z’ekisenge.

Abawala abato oluusi tebabeera na buguminkiriza naddala ng’omusajja afunye obuzibu ng’obulwadde. Ab’engeri eno bayinza okudduka ku musajja ssinga obulwadde butwala ebbanga nga tebuwona.

Mulimu n’ababeera batya okufuuka bannamwandu ku myaka emito. Wano we wesangira ng’abasajja bafunye bakulu bannaabwe abayinza okutwala obuvunaanyizibwa.

Mulimu abawala abato abaswala okutambula n’abasajja abakulu nti bayinza okubayita bakitaabwe. So nga n’omusajja okutambula n’omuwala alabika nga muzzukulu wo kiyinza okukumalako emirembe. Mu mbeera eno omusajja ayinza okutya okumwanjula mu banne nga mukyala we nga bayinza okumusunga.

Omukyala nga muto atera okubeera n’ekizibu ky’obutasalawo. Weesanga nga n’ensonga ezimukwatako zimulema okusalawo. Olwo buli kimu n’abeera ng’akirinza bba.

Wabaawo n’obutakwatagana ku bibasanyusa ng’omusajja akuze abeera ayagala kubeera waka so ng’omuwala abeera yeegomba kutambulako na kugenda mu biduula.

Wabula omukwano ogw’engeri eno gubeera gwetaagamu obugumiikiriza nga buli ludda lulina okugumira embeera za munne ne musobola okugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe