TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababadde abaserikale ba Flying Squad baggyiddwaako emmundu n'ebikozesebwa ebirala

Ababadde abaserikale ba Flying Squad baggyiddwaako emmundu n'ebikozesebwa ebirala

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

Ababadde mu Flying Squad olwatuuse okusunsulibwamu ne baggyibwako emmundu ne babalagira okuwaayo ne bye babadde bakozesa byonna.

Ugandapolice 703x422

Olunaku lw’eggulo abaserikale 274 ababadde bakolera mu flying Squad beeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli ne baddamu okusunsulwamu okusigaza abo abatuufu abanaakolera mu kitongole kino.

Abaserikale bano bwe baabadde bava mu bitundu gye bakolera baalagiddwa okuvaayo na buli kintu kye babadde bakozesa omuli emmotoka , radio call n'ebirala.

Vincent Ssekate ayogerera ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango yagambye nti okusunsula mu baserikale bano kiddiridde ekiragiro ekyaweebwa omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ekyafuluma nga May 8, 2018 ng'alagira akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okuddamu okuzimba Flying Squad.

Yagambye nti mu kusunsula abaserikale abaagala okuddamu okukolera mu flying Squad balagiddwa okujjuza empapula ezisaba okugyegattako kuba wateereddwaawo ebiragiro n’amateeka bye bagenda okugoberera nga bakola.

Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okusunsula mu baserikale Flying Squad yaakufuna omuduumuzi omupya n'ebiragiro abiggya, akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kuba emabegako Flying Sqaud ebiragiro yali ebiggya wa muduumuzi wa poliisi mu ggwanga.

Ssekate yakiraze nti Flying Squad enkadde ekoze ebintu bingi ebirungi omuli okuzuula emmundu, mmotoka ezibbiddwa, abawambiddwa, abazigu n'ebintu ebirala wabula ng'eno empya egenda kukolera wansi w’ekitongole ekikulirwa muky. Grace Akullo okusobola okwewala ensobi ezibadde zikolebwa.

Okusunsula abantu bano kwakuliddwa omumyuka w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, SCP Joseph Obwona ng’ali wamu n’akulira SID, SCP Elly Womanya, avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu CID, Fred Enanga, n’abakulira ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu bitundu eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe