TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga alaajanidde Gav't ku bbago ly'etteeka ly'amaka

Kadaga alaajanidde Gav't ku bbago ly'etteeka ly'amaka

By Muwanga Kakooza

Added 16th May 2018

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye abakazi b’ekibiina ky’amawanga amagatte okuperereza gavumenti eddemu okuleeta ebbago ly’etteeka erikwata ku bufumbo n’okwawukana erizze lireetebwa kyokka ne liwagamira awo olw’okuwakanyizibwa okutali kumu.

Kadagarebecca703422 703x422

Sipiika Rebecca Kadaga ng'ayogerera mu lukung'aana olumu

Ebbago lino limanyiddwa nga ‘Marriage and Divorce Bill’ lizez lireetebwa nga bwe liwagamira nga n’obuwaayiro bwalyo obumu buwakanyizibwa bannaddiini  n’abantu abalala abagamba nti bukontana  n’amadiini n’eby'obuwangwa bya Bannayuganda.

Obumu ku buwaayiro obuludde nga buliko kalimanywera mulimu akaali kasiba omusajja singa Akaka mukazi we gwe yawasa omukwano,  akaggyawo okwanjula okw’obuwaze nga liwera n’omutwalo, n’abavubuka n’abawala okukkirizibwa okufumbiriganwa bazadde baabwe ne bwe baba tebasiimye baagalwa baabwe.

Obulala kuliko; kkooti za LC okukkirizibwa okwawula abafumbo eri abakkiriziganyiza okwawukana, okutongoza obufumbo bw’abantu abali awamu nga ssi bagatte oba okwanjulwa kasita baba nga babadde wamu okumala ebbanga, okussa obukwakkulizo ku basajja okuwasa abakazi abasukka mw'omu n’obulala. Eky'abasajja obutawasa bakazi bangi kyawakanyizibwa nnyo ab'eddiini y'Obusiraamu omwali n'abakazi.

Ebbago eryasembayo okuleetebwa teryalimu kawaayiro kagaana bantu ba muziro gumu kufumbiriganwa nga kino Abaganda abamu baakiraba ng’omuwaatwa mu tteeka ogusobola okutyoboola eby’obuwangwa bwabwe obutambulira ku miziro ng’abeddira ogumu tebafumbiriganwa.

Bannaddiini abamu baagenda mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka ne bawakanya eky’okutongoza obufumbo bw’abantu abatali bagatte oba abanjule ababeera awamu. Era ne basaba n’omutwe gw’etteeka guggyibweko omutwe ogugamba nti likwata ku ‘’kufumbiriganwa n’okwawukana’’ lituumibwe ‘’etteeka ly’obufumbo’’.  Oluvannyuma ebbago gavumenti yaliggyayo mu Palamenti ne yeesirikira.

Wabula mu nsisinkano y’abakazi okuva mu kitongole ky’amawanga amagatte ekya UN eyabadde mu Shertaon Hotel,  ekwata  ku mateeka gavumenti g’erudde okuleeta, Kadaga yagambye abakyala bano okwogera ne Minisita w’eby'amateeka okulaba nga galeetebwa n'agamba nti erimu ku go lye likwata ku ‘’bufumbo n’okwawukana’, erikwata ku misango gy’okusobya ku bakazi n’amalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20180524at21944pm 220x290

Mbega wa ISO kata bimubugume ne...

MBEGA w’ekitongole kya ISO atwala disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma, Maj. Moses Ssegujja yasimattuse...

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...