TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Prudential Assurance baddizza bakasitoma baabwe akawumbi kalamba!

Aba Prudential Assurance baddizza bakasitoma baabwe akawumbi kalamba!

By Benjamin Ssebaggala

Added 16th May 2018

AKULIRA yinsuwa ya Prudential Arjun Mallik, agambye nti okusomoozebwa kwe basinze okusanga mu Uganda kwe kuguza abantu enkola za yinsuwa kuba tebazitegeera.

Prudential4 703x422

Okuva ku ddyo: Zephania Dube, akulira ebyemirimu, Arjun Mallik, akulira kkampuni ne Nashiba Nalubega, akulira ebya kitunzi era omwogezi wa kkampuni nga bali mu lukung’aana lw’abaamawulire ku Pearl of Africa Hotel.

Abadde ayogera mu lukung’aana lw’abaamawulire ku Pearl of Africa Hotel mu Kampala aba Prudential Assurance Uganda Ltd kwe baalangiriridde nti mu mwaka gw’ebyensimbi oguyise ku magoba ge bakoze basobodde okuddizaako akawumbi kamu n’ekitundu eri bakasitooma baabwe.

Omwogezi wa kkampuni eno, Nashiba Nalubega ategeezezza nti amagoba ge bakoze omwaka guno gakubisizzaamu ge baafuna omwaka oguwedde ag'obukadde 700.

Agambye nti bakasitoma be baddiza amagoba beebo ababeera basobodde okusasula ebisale byabwe mu budde.

kuva ku ddyo ephania ube akulira ebyemirimu rjun allik akulira kkampuni ne ashiba alubega akulira ebya kitunzi era omwogezi wa kkampuni nga bali mu lukungaana lwabamawulireku earl of frica otelOkuva ku ddyo: Zephania Dube, akulira ebyemirimu, Arjun Mallik, akulira kkampuni ne Nashiba Nalubega, akulira ebya kitunzi era omwogezi wa kkampuni nga bali mu lukung’aana lw’abamawulireku Pearl of Africa Hotel.

 

Nashiba ayongeddeko nti omwaka guno abantu bajjumbidde nnyo okugula enkola za yinsuwa ez’okutegekera ebiseera eby'omu maaso era muno mwe basinze okufuna ssente.

Zephania Dube, akulira ebyemirimu ye ategeezezza nti baasalawo okuteeka sente mu buntu obutono abalala bwe banyooma kyokka bo ne babukolamu ssente.

Okwetoloola amawanga agenjawulo mwe bakolera kati batereka ebintu ebibalirirwamu obuwumbi bwa ddoola 900.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako