TOP

Abalimi b'e Vvumba Bryan White abawadde ensigo

By Martin Ndijjo

Added 17th May 2018

Abalimi b'e Vvumba Bryan White abakubye enkata. abagabidde ensigo n'ebikozesebwa mu kulima basige.

Br 703x422

Bryan (ow'okubiri ku kkono) ng'alaga abakulembeze b'e Vvumba ebintu bye yabaletedde.

Abalimi mu muluka gw’e Vvumba mu Ggombolola y’e Kalagala mu Luwero bakubiddwa enkata!

Omugagga Bryan White (Bryan Kirumira) abagabidde ensigo n’ebikozesebwa mu kulima basige mu nkuba eno etonnya.

Bino byabadde ku mukolo kwe yasisinkanidde abatuuze b’e Vvumba olunaku lw’eggulo era omukolo gwetabiddwako abalimu abasobye mu 300 okuva ku byaloi; Ndeba, Kakooni,Bulemezi, Manya, Kiwangula ne Busiika.

Ku nsigo yagasseko ssente obukadde busatu ze yawaddeyo ziyambe mu kusereka kkanisa ya St. Stephen essangibwa mu kitundu kino. obukadde obulala bubiri yaziwadde ba kibiina ky’abavubuka ate abakyala abaayolesezza eby’emikono yabawadde kakadde kamu.

 ryan ku kkono nga awaayo ssente zokusereka kkanisa Bryan (ku kkono) nga awaayo ssente z'okusereka kkanisa

 

Kansala Charlse Kadwanga ku lwa bakulembeze b’omu kitundu yasiimye aba Bryan Foundation era nasaba Bryan abayambe ne ku bavubuka abatigomya n’okubabbira bye balima.

“Mukulu Bryan tweyanzizza obuyambi buno. Kino kyotukoledde otuwadde mirimu kukola era singa otukwatirako ne ku bavubuka abakeera okulera engalo n’okuzannya zaala ogenda kuba otuyambye nnyo naffe abakadde tufune ku mirembe kubanga abavubuka atalina bya kukola batutigomya n’okutubbira bye tulima.”

Nga ayogera Bryan yasoose kubuulira bavubuka ku neeyisa yabwe okuwagira n’okwagala gavumenti era yabakutidde okwekuma nga bewaala ebyo ebiyinza okubavirako okufuna akawuka ka siriimu.

Bryan era wadde gavumenti amagezi eveeyo n’enkola y’okusomesa n’okuzaamu abavubuka essuubi wamu n’okubaagazisa okukola nga eteekawo bakansala abakola ogw’okubuulira n’okubudabuda ku byalo kubanga bangi eby’okukola babivaako ddala ne bwe babawa ssente oba ensigo bazitunda.

Ate Bettina Tumuhaise eyaali omukozi ku leediyo kati omulimi omukuukuutivu mu kitundu kino eyabasaakidde obuyambi buno yasiimye Bryan olw’omutima omugabi n’amusaba okwongera okubawa obuyambi obulala. Bettina era yabuuliridde abavubuka okukozesa obulungi emikutu gya yintanenti okuli ne Facebooka nti kubanga gwe yakozesa okutuukirira Bryan n’okumulaga bye bakola nga abalimu n’obuyambi bwe beetaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Parliamentofuganda640381 220x290

Palamenti eyimrizza eby'okuyisa...

PALAMENTI eyimirizza eby’okuyisa ebbago lyetteeka erikwata ku kubonereza abantu abazza emisango egyekuusa ku mukwano...

Mbabazi 220x290

Boogedde ebinobya bakazi ba Ssegawa...

ABAALI bakazi ba Vincent Ssegawa bamulangidde bw’atalisobola kuwasa mukazi n’amugumiikiriza kubanga alina obuzibu...

Masomeroweb 220x290

Empaka z'amasomero ga siniya ziyiiseemu...

Abaddukanya empaka z'amasomero ga siniya basuubizza okulinnyisa omutindo kkampuni ya Fresh Diary bwe bayiyeemu...

Kanga 220x290

Isabirye ayawukanye n’omukazi omupya...

JOEL Isabirye eyali bba wa Rebecca Jjingo ayawukanye n’omukazi omulala omupya gw’abadde amaze naye omwaka gumu...

Kulula 220x290

Owa Romi Wine eyatemeddwa azze...

OMUGAGGA wa Romi’s eyatemeddwa ebijambiya abatemu oluzze engulu n’attottola engeri agasajja gye gaamusazeeko n’alemwa...