TOP
  • Home
  • Amawulire
  • By’okola okuyamba alina obulwadde bw’omusaayi ogutakwata

By’okola okuyamba alina obulwadde bw’omusaayi ogutakwata

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2018

By’okola okuyamba alina obulwadde bw’omusaayi ogutakwata

Seb2 703x422

Ndagire ne mutabani we Tamale bwe yabadde amuggya mu ddwaaliro e Nakifuma.

MUNNAMAWULIRE Nuriat Nambaziira yafudde oluvannyuma lw’okuzaala kyokka omusaayi ne gugaana okwekwata. Embeera eno abooluganda lwe bagamba nti abadde agifuna buli lw’azaala era ng’ayambibwa n’atereera, ku luno ekitaasobose.

Okufaananako ne Nambaziira, waliwo abantu nga bo bwe bafuna ebisago bavaamu omusaayi kubula kubaggwaamu kubanga omusaayi gwabwe tegwekwata ate nga okwekwata kye kiyamba okukomya omusaayi ogubadde gufuluma okusalako.

Sawuyah Ndagire 33, omutuuze w’e Nakifuma ye nnyina wa Abdul Tamale ow’emyaka 10 era omu ku bantu abatawaanyizibwa obulwadde bw’okukulukuta omusaayi oguteekwata mangu obuyitibwa ‘Heamophilia’.

Yagambye nti, “Omwana wange yali awezezza wiiki bbiri ne nsalawo mmutwale akomolebwe. Saasooka kukifaako nti yali avaamu omusaayi mungi era kino kyatwala kumpi ennaku ssatu. Yalinga akaaba obutasalako era bwe tutyo, twasalawo tumutwale ku kalwaliro akaali okumpi (kuba yali atayiriddwa waka) kyokka ne bamungobesa ne nsalawo okumutwala ku ddwaaliro e Naggalama.

Eno, abasawo baamwanguyira ne basalawo okumutunga era kyabatwalira eddakiika kumpi ttaano nga balaba gwe batunga kumpi omusaayi gumuweddemu. Bwe baakebera nga tebalina musaayi gwa kika kye ne batusindika e Mulago. Mu kkubo twalwamu era twagenda okutuuka e Mulago ng’omwana mulamu naye nga tanyega. Abasawo baamwanguyira ne bamuteekako eccupa z’amazzi okutuusa ku makya ne bamussaako ey’omusaayi oluvannyuma ne baddamu okumutwala mu ssweeta okutungibwa buto era wano omusaayi ogwali gukulukuta ne gubeera ng’ogukutte.

Waayita akaseera ate n’addamu okukulukuta omusaayi obutasalako ne basalawo okumuwa ekitanda okumala wiiki nnamba n’agenda ng’atereera mpola. Kino nga tukiyiseeko twalowooza nti, osanga eyali yamutayirira awaka yamutayirira bubi. Wabula bwe yaweza emyaka ena, lumu abeera azannya ne munne ne yeekoona erinnyo ku sseminti era omusaayi ne gumuvaamu nga tegusalako.

Ekiseera ky’atuukanga nga weebuuza ekimuluma nga tamanyi kyokka ng’akaaba bukaabi ng’alumizibwa buli we wamukwatanga.

MUNNAMAWULIRE Nuriat Nambaziira yafudde oluvannyuma lw’okuzaala kyokka omusaayi ne gugaana okwekwata. Embeera eno abooluganda lwe bagamba nti abadde agifuna buli lw’azaala era ng’ayambibwa n’atereera, ku luno ekitaasobose. Okufaananako ne Nambaziira, waliwo abantu nga bo bwe bafuna ebisago bavaamu omusaayi kubula kubaggwaamu kubanga omusaayi gwabwe tegwekwata ate nga okwekwata kye kiyamba okukomya omusaayi ogubadde gufuluma okusalako.

Sawuyah Ndagire 33, omutuuze w’e Nakifuma ye nnyina wa Abdul Tamale ow’emyaka 10 era omu ku bantu abatawaanyizibwa obulwadde bw’okukulukuta omusaayi oguteekwata mangu obuyitibwa ‘Heamophilia’. Yagambye nti, “Omwana wange yali awezezza wiiki bbiri ne nsalawo mmutwale akomolebwe. Saasooka kukifaako nti yali avaamu omusaayi mungi era kino kyatwala kumpi ennaku ssatu.

Yalinga akaaba obutasalako era bwe tutyo, twasalawo tumutwale ku kalwaliro akaali okumpi (kuba yali atayiriddwa waka) kyokka ne bamungobesa ne nsalawo okumutwala ku ddwaaliro e Naggalama. Eno, abasawo baamwanguyira ne basalawo okumutunga era kyabatwalira eddakiika kumpi ttaano nga balaba gwe batunga kumpi omusaayi gumuweddemu. Bwe baakebera nga tebalina musaayi gwa kika kye ne batusindika e Mulago.

Mu kkubo twalwamu era twagenda okutuuka e Mulago ng’omwana mulamu naye nga tanyega. Abasawo baamwanguyira ne bamuteekako eccupa z’amazzi okutuusa ku makya ne bamussaako ey’omusaayi oluvannyuma ne baddamu okumutwala mu ssweeta okutungibwa buto era wano omusaayi ogwali gukulukuta ne gubeera ng’ogukutte.

Waayita akaseera ate n’addamu okukulukuta omusaayi obutasalako ne basalawo okumuwa ekitanda okumala wiiki nnamba n’agenda ng’atereera mpola. Kino nga tukiyiseeko twalowooza nti, osanga eyali yamutayirira awaka yamutayirira bubi. Wabula bwe yaweza emyaka ena, lumu abeera azannya ne munne ne yeekoona erinnyo ku sseminti era omusaayi ne gumuvaamu nga tegusalako.

Ekiseera ky’atuukanga nga weebuuza ekimuluma nga tamanyi kyokka ng’akaaba bukaabi ng’alumizibwa buli we wamukwatanga.talina kirungi ekiziyiza omusaayi okutiiriika ekya ‘9’, naye byombi bweyoleka mu ngeri ze zimu.

Mu bulamu obwabulijjo omubiri gw’omuntu yenna gulina enkola eguyamba okuleka omusaayi nga guli mu mbeera yaagwo. Buli muntu asaanye okuba n’ebirungo n’obutoffaali obw’ekigero era ssinga bukendeera omuntu afuna obulwadde buno. Obulwadde buno tebusiigibwa wabula butambulira mu musaayi.

Ssinga olina omuntu mu booluganda lwo abulina obeera osobola okuzaala omwana abulina, bw’otoba ggwe. Businga kukwata balenzi wabula abakyala babeera babulina nga busirikidde mu mubiri. Obulwadde buno olumu oyinza obutabutegeera okuggyako nga waliwo ensonga eyinza okucankalanya omubiri ne kiyambako omusaayiokuba nga gufuluma, okugeza okukomolwa, okukuula erinnyo n’ebirala.

KW’OBULABIRA Dr. Kobba yagambye nti, obubonero obw’embeera eno bwawukana okusinziira ku kiseera omwana ky’abaamu era nga tebweyoleka mu kuzaalibwa. Embeera ey’okukulukuta okususse we wandikisuubidde oyinza okugimanyira ku bino:

1 Abantu abamu bafuna ebikuyiro ku mibiri gyabwe

2 Okuzimba mu nnyingo ez’emikono oba amagulu olw’okuba zirimu omusaayi ogujjudde.

3 Okwerumika

4 Ku baana abawere n’abaavula babeera bakaaba bukaabi olw’ennyingo zaabwe okubaamu omusaayi nga zizimbye.

4 Obwongo bwe okugendamu omusaayi ekivaako okulumwa omutwe kumpi buli kiseera. 5 Omuntu asobola okubeera n’ebibuno ebivaamu omusaayi ogutasalako.

OKUBUTANGIRA Dr. Henry Ddungu, omukugu mu kitongole kya Uganda Cancer Institute e Mulago yagambye nti, embeera eno etera kubaawo ng’omuntu aliko ebirungo eby’omugaso ebiyambako omusaayi okukwata by’atalina mu bipimo ebituufu.

l Omuntu asobola okutangira obulwadde buno obutayisa bubi mwana we ssinga afaayo okumukozesa ennyo dduyiro ekiyamba okugumya ennyingo n’ebinywa. l Abantu basaanye okwewala erimu ku ddagala erikendeeza obulumi nga ‘Asprin’, erifuula omusaayi okubeera ogw’oluzzi.

l Okukuuma amannyo gaffe nga mayonjo okwewala okuliibwa obuwuka ekyetaagisa okugakuuBy’okolala, kuba ekiwundu kiyinza okuvaako obuzibu olw’omusaayi obutakwata mangu. l Abantu okwettanira abasawo abakugu naddala nga balina omwana gwe beekengera obutabeera mu mbeera nnungi n’okulyanga obulungi.

ENDIISA Omwana oba omuntu yenna alina obuzibu buno alina okulya ebika by’emmere eby’enjawulo naddala ebyo ebiyamba okuleeta omusaayi naddala enva endiirwa. Ekirala okunywa ennyo amazzi oba omubisi gw’ebibala omukamulirewo. Weewale okumuwa emmere oba omubisi omupakire mu mikebe kubanga mubaamu ebiragalalagala ebikosa omubiri gwe. Dr. Ddungu ng’annyonnyola.

ABAANA ABASOBA MU 3,000 BAFA TEBANNAWEZA MWAKA

Agnes Kisaakye omukwanaganya w’ekibiina kya Heamophilia Association of Uganda yagambye nti mu Uganda, abaana 3,800 be bafa nga tebannaweza mwaka gwabwe ogusooka.

Ku buli baana 1,000 abazaalibwa omwana omu y’asangibwa n’obulwadde buno obw’omusaayi obuteekwata mangu era nga okusoomoozebwa okusinga okusangibwa kwe kuba nti Bannayuganda abasinga obulwadde buno tebabumanyi oba tebabutegeera. Akubirizza abantu bonna bulijjo okugenda mu basawo abakugu mu malwaliro amanene naddala aga Gavumenti bakeberebwe okumanya bwe bayimiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...