TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettaka eryagulibwa abatta Magara likuumwa na mmundu

Ettaka eryagulibwa abatta Magara likuumwa na mmundu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2018

POLIISI etutte abaserikale okukuuma ettaka ly’abazigu lye baagula mu ssente ze baafuna okuva ku bazadde ba Susan Magara.

Sus 703x422

Omugenzi Susan Magara

Ettaka poliisi kwe yatutte abaserikale liweza yiika 35 nga liri mu disitulikiti y’e Buikwe.

Lyagulibwa Yakubu Byansi ne Abdul Hakim Lugoloobi ku bukadde140 nga bano poliisi ebanoonya oluvannyuma lw’okubafunako obujulizi nti beenyigira mu kuwamba Suzan Magara, okusaba bazadde be ssente n’oluvannyuma ne bamutta.

Ku Mmande abaserikale okuva mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emirirwano nga bakulembeddwaamu Johnson Olaa baatutte abaserikale okukuuma ettaka lino okutangira abantu okulyesenzaako n’okubaako emirimu gye bakolerako.

Kyazuuliddwa nti, Byansi omutuuze w’e Kibuye ne Lugoloobi ow’e Katikamu mu Luweero baakwatagana okugula ettaka e Buikwe yiika 35 ku bukadde 140 ng’endagaano kwe baaligulira ziri mu mannya gaabwe nga kiteeberezebwa nti zino ze zimu ku ssente obukadde 700 ze baggya ku booluganda lwa Magara.

Byansi ne Lugoloobi era bagula yiika 10 e Luweero. Mu kunoonyereza poliisi kwe yakoze yakizudde nti, Byansi ye yakuliramu okuwamba n’okutta Susan Magara n’amutwala mu maka ge e Nakawuka n’amukwasa omukazi amanyiddwa nga Hajara n’amuwa ebiragiro omukuuma okutuusa lwe baamutta.

Mu ssente abatemu ze baafuna okuva ku bazadde ba Magara baagulako emmotoka ne pikipiki era nga bye bimu ku bizibiti poliisi bye yakutte mu kunoonyereza kw’eriko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...