TOP

Engeri Harry ne Markle bwe baasisinkana

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2018

OMULANGIRA Harry yategeeza omwaka oguwedde nti baabasisinkanya busisinkanyi mu July wa 2016 nga bombi tewali yali alabye ku munne.

Harry 703x422

Omulangira Harry ne Meghan

Wadde teyakyogera, kigambibwa nti eyabakwasaganya yali abamanyi bombi mu buntu ate nga bombi baali beerabiddeko ku ntimbe za ttivvi nga bassereebu naye nga teboogerangako bombi.

Harry wa lulyo lulangira mu Bwakabaka bwa Bungereza ate Markle muzannyi wa fi rimu ne katemba mu Amerika gy’azaalwa naddala mu kazannyo ka Suits.

Ani yabasisinkanya; Amawulire ga E News galaga nti omukyala Violet von Westenholz nga mukwano gwa Harry yeyakola ku nsonga eno abalala ne bagamba nti yali Mischa Nonoo nga mutunzi wa misono.

Abagole teboogera ani ku bombi eyakikola era waliwo okukkaayana okw’amaanyi ku ani ku bombi.

Nonoo Mumerika omutunzi w’emisono gy’engoye eziriko n’ezimu ku ngoye Meghan z’ayambala, y’azikola n’olugoye lwe yayambala lwe yasooka okulabika ne Harry eri abantu era Nonoo ye yali alutunze.

Violet von Westenholz, Mungereza era bazadde be baali baludde nga bakolagana n’aboolulyo olulangira era Violet kennyini mukwano gwa Harry ate era bamanyiganye ne Meghan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...