TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embaga y’Omulangira w’e Bungereza ekoze likodi

Embaga y’Omulangira w’e Bungereza ekoze likodi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2018

EKIBUGA London kiwuuma olwa nnamungi w’omuntu akwatiridde olw’embaga y’Omulangira Harry ng’awasa Meghan Markle ku mukolo ogutadde amawanga abiri ag’amaanyi, Bungereza ne Amerika ku bunkenke.

Laga2 703x422

Ekigaali abagole mwe batambulidde.

Meghan nga Mumerika omuzannyi wa katemba ate Harry mulangira wa Bwakabaka bwa Bungereza azaalibwa Omulangira Charles n’omumbejja Diana Spencer eyafa mu kabenje ka mmotoka mu kibuga Paris nga 31 August, 1997.

Charles mutabani wa Kkwini wa Bungereza, Elizabeth II.

Pulogulaamu Bagenda kugattibwa ku ssaawa 6.00 ez’emisana mu kkanisa ya St. George mu kitundu kya Windsor ng’eyo we wazze wagattirwa ab’olulyo olulangira mu Bungereza abasinga.

Taata wa Harry, omulangira Charles gye baabaweera omukisa ne mukyala we omupya, Camilla mu 2005 oluvanyuma lwa Diana Spencer (eyafa nga baayawukana).

Mukulu wa Harry, omulangira William yagattibwa mu Westminster Abbey ne Kate Middleton mu 2011.

 oliisi ngerawuna enguudo Poliisi ng’erawuna enguudo.

St George etuuza abantu 800 era bokka be bagenda okuyingira ate Westminster Abbey etuuza 2,000.

Baakisalawo bwe batyo ng’abagenyi bayise batono. Be bamenye likodi y’okukyusa akalombolombo k’okugattibwa ku wiikendi ng’embaga z’olulyo luno zizze zibaawo mu nnaku za kukola.

Nga bamaze okugattibwa, bagenda kufuluma balabike eri nnamungi w’omuntu bakole okunywegera mu lujjudde okw’akalombolombo k’Abalangira n’abambejja ba Bungereza abagattiddwa.

Ku ssaawa 7.00 zennyini okusinziira ku mawulire ga Daily Mail, abagole bagenda kutuula ku kigaali ekisikibwa embalaasi nga kino nakyo kiri mu kalombolombo beetooloole ku makubo okukwatiridde abantu okuva mu nsi yonna nga babawuubirako.

Abakuuma abagole Bagenda kukulemberwa abakuumi ab’emikolo okuva mu Windsor Castle Guard ekibinja kya 1st Battalion Irish Guards.

 musajja akutte embwa ngayita ku kifaananyi kya arry ne arkle nga musanyufu Omusajja akutte embwa ng’ayita ku kifaananyi kya Harry ne Markle nga musanyufu.

Abo bakola nga bw’olaba abambowa ba Kabaka. Waliwo amagye agagenda okubakuuma agayitibwa Armed Forces personnel okuva mu Royal Navy Small Ships and Diving era ng’eggye eryo omulangira Harry yennyini y’alikulira nga Commodore-in-Chief.

Eggye lya Royal Marines eryo ku mazzi nalyo liri bulindaala era ng’eyo Harry akolayo nga Captain General.

Akalombolombo kali nti, ab’olyo olulangira bwe baawasanga, baabakubiranga emizinga 21 bwe baabanga batuula mu kigaali kino. Kino tekinnakakasibwa oba kinaakolebwa ku bagole bano.

Nga kiwedde, bagenda mu bifo ebitegekeddwamu emikolo. Ebifo bibiri ebitegekeddwa nga wombi abagole bagenda kubeerayo n’abagenyi. Abagenyi aba kkaadi baayita 600 bokka era be baagabanyizza mu bifo ebibiri.

Ekisooka kyakubeeramu abantu batono nnyo ate ng’aboolulyo Olulangira mu kibangirizi ekiriraanye ekkanisa ya St. George e Windsor Castle kye bayita Frogmore House ate ekiro bagende mu kifo ekigazi eky’abaayitiddwa bonna.

 bagole baasoose kunywa kacaayi ne kwiini wa ungereza nga batambulidde mu mmotoka zino Abagole baasoose kunywa kacaayi ne Kkwiini wa Bungereza nga batambulidde mu mmotoka zino.

Bagenda kuyita ku nguudo omuli Castle Hill, Snow hill, High Street, Sheet Street, Kings Road, Albert Road olugendo lwa mayiro bbiri n’ekitundu okutuuka mu kifo ekisooka gye bagenda okusisinkana abagenyi.

Olugendo lw’akalombolombo olwo mu Bungereza baalukazaako lya ‘Long Walk’ ekitegeeza olugendo oluwanvu nga lwa kumala eddakiika 25 zokka. Snow Hill Ako akasozi akali mu kabuga Windsor bw’okabeerako olengera bulungi ebigenda mu maaso mu kibuga era ab’amawulire be baasinze okukekwata nga bakasimbako kkamera.

Abantu baabulijjo nabo bakwatiridde era ab’ebyokwerinda baasuze ku mulimu munene ogw’okukumaakuma abantu okubeera awamu baleke kwetabwamu bannalukalala.

Alexandra Gardens Kano nako kafo akaasuze kakwatiridde abantu mu katawuni ka Windsor era ab’ebyokulya n’okunywa bakoledde awo ssente empya n’enkadde anti eyo wokka gye bakkiriziddwa okukola wooteeri ez’amangu.

Okusimba mmotoka Baataddewo ebifo 6,000 ebyakkiriziddwamu okusimbamu mmotoka okuli Review Ground, Windsor Great Park, n’ebirala ng’osasula pawundi 30 mu za Uganda nga 150,000/- olunaku kyokka tikiti ezo zaggwawo dda.

 baserikale nga bakumba okwolekera ekkanisa ya t eorge we baabagattidde Abaserikale nga bakumba okwolekera ekkanisa ya St. George we baabagattidde.

Emperekeze Baalonze abaana 10 okuli emperekeze, peg boy ne flower girl abamanyidde embeera y’obwasereebu n’okubeera mu bantu abangi kibasobozese obutatya bantu bangi.

Emperekeze ezisinga Markle ye yazeerondedde mu mikwano gye; Jessica Mulroney ne Benita Litt kwe banaagatta abazzukulu abalala ab’olulyo Olulangira. Peg boy wa myaka ena ate flower girl w’esatu.

Balina obumanyirivu mu by’okuwerekera era be baawerekera Pippa Middleton muganda wa Kate Middleton eyafumbirwa mukulu wa Harry nga ye mulangira William.

Kuliko ba Peg boys abalala babiri nga balongo okuli Brian ne John Mulroney ab’emyaka omusanvu.

Emperekeze endala ezaalangiriddwa olubiri lwa Kensington Palace mulimu Remi, 6 ne Rylan Litt, 7 nga baaluganda, omwana ow’emyaka ena Ivy Mulroney n’abalala kuliko Zalie Warren ow’emyaka ebiri, Florence van Cutsem ow’emyaka esatu ne Jasper Dyer ow’omukaaga.

Agenda okubagatta; Okusaba kujja kukulemberwa Dean wa Windsor, The Rt. Revd.

 mulangira arry ne eghan arkle Omulangira Harry ne Meghan Markle.

 

David Conner ate Ssaabalabirizi wa Canterbury, Justin Welby y’agenda okubagatta.

Olw’okuba omugole Mumerika, Omusumba Most Rev Bishop Michael Curry, ow’essaza ly’e Illinois mu kibuga Chicago ekya Amerika y’omu ku bagenda okubuulira.

Omusumba Curry ayogera n’asiriiza n’entamu nga bw’olaba Fr. Kiibi Kateregga eyayigiriza mu kusabira omwoyo gwa Moze Radio mu lutikko e Lubaga n’aleka abantu nga bamunyenyeza mutwe olw’okunyumisa mmisa n’okukoona basser- eebu.

Ye Mumeri- Embaga y’Omulangira w’e Bungereza ekoze likodi ka Omuddugavu asoose okukulembera essaza ly’alimu mu Amerika ekifo kye yatwala mu November wa 2015.

Ennyimba mu kkanisa nazo zigenda kutabikibwamu eza Bungereza ne Amerika okusinziira ku Christopher Warren- Green agenda okukulembera kkwaya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ilustrasisuamidimarahiistri20170507174743 220x290

Obukodyo bw’olina okukozesa okukwana...

OMUNTU yatondebwa nga yeegomba. Waliwo omuwala gw’osobola okwegomba n’oyagala okubaako ekigambo ky’omusuulayo kyokka...

Fire 220x290

Ebizibu ebiba mu kwegatta n’engeri...

OKWEGATTA kukolebwa mu kyama. Era ebibaayo tebisaanye kwasanguzibwa. Wabula olw’ebizibu ebiba mu kabbinkano k’ababiri...

Buk02680453 220x290

Buduuda: Gav't egenda kusengula...

GAVUMENTI egenda kusengula abantu 6,000 okuva mu disitulikiti y’e Buduuda mu Bugisu ng’ebatangira okubuutikirwa...

Kola 220x290

Eddie Mutwe, kanyama wa Bobi Wine...

KYADDAAKI kkooti Enkulu e Gulu ekkirizza kanyama w’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu, ayitibwa...

Kuwaayonkozi5 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akunze abantu ba Buganda okuvaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba ekifo awagenda okujjanjabirwa...