TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawambye abadde agenze okuwa obujulizi ku ttaka ne bamutuga: Bamulesezza babbebi 3!

Bawambye abadde agenze okuwa obujulizi ku ttaka ne bamutuga: Bamulesezza babbebi 3!

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2018

ABAZIGU ababadde mu mmotoka ya buyonjo bawambye ssemaka ng’ava mu kkooti okuwa obujulizi ne bamutuga omulambo gwe ne bagusuula ku kkubo.

Bada 703x422

Abatuuze b’e Nakirebe mu kifo ewaasangiddwa omulambo gwa Bazannye. Mu katono Bazannye bwabadde afaanana. Mu katono ku ddyo, Nnamwandu n’abaana be.

Ibrahim Bazanye ow’emyaka 28, omutuuze w’e Mirembe mu ggombolola y’e Kibibi mu Butambala yawambiddwa abazigu abatannategeerekeka ne bamussa mu mmotoka ya buyonjo mwe baamutugidde emisana ttuku omulambo gwe ne bagusuula e Nakirebe ku lw’e Masaka.

Abaabadde bayitawo be beekanze omulambo gw’omusajja nga guliko ebisago mu bulago ne ku mutwe ne bayita poliisi y’e Nakirebe kyokka ng’abaamusuddewo badduse.

Abaabadde bazimba okumpi n’ekkubo erigenda ku ssomero lya St. Lawrence Paris Palais be baalabye mmotoka y’ekika kya Primeo enzirugavu ng’esuulawo omulambo guno ne basuulawo amagi emmotoka n’egayitako ng’akalombolombo olwo ne beeyongerayo kyokka tebeetegerezza nnamba puleeti yaayo.

Poliisi y’e Nakirebe ng’ekulembeddwaamu OC, Timothy Mukose yazze ne yeekebejja omulambo ne basanga nga guliko ebisago ebiraga nti omugenzi baamutugisizza muguwa kyokka ng’akubiddwa n’ennyondo ku mutwe.

Mukose yategeezezza nti batandise okuyigga abantu ababadde n’embiranye n’omugenzi olw’amawulire ge baafunye nti omu yalabudde Bazanye nga yaakatuuka ku kkooti nti abalemeddeko naye bajja kumusaanyaawo.

ABAZIGU BAZZE BAMULINNYA KAGERE KU KKOOTI

Okusinziira ku baabaddewo nga mmotoka eno ewamba Bazanye baategeezezza nti yazze kumakya nga Bazanye yaakatuuka ku kkooti n’etandika okwetooloola mu Mpigi nga bw’emubaza okutuusa bwe yavudde ku kkooti ne bajja w’abadde alindira takisi n’emusaba okumutwalako e Kampala oluvannyuma ne bamuwamba.

ABOOLUGANDA BALUMIRIZA B’ABADDE AGUGULANA NABO OLW’ETTAKA

Mukulu w’omugenzi, Sowedi Jagenda agamba nti Juma Matovu yabalabudde nga bagenda ku kkooti nti ku bombi waliwo atajja kudda era ne kituukirira Bazanye bwe yattiddwa.

Ayongerako nti omusango ogwabaleese mu kkooti gwa Juma Matovu ne banne okuli Jamir Ssentamu ne Ali Ssemwanga be balumiriza nti beekobaana ne batema Bazanye nga bamusanze ku ttaka lye babadde bakaayanira era nti babadde baakamwegezaamu okumutta emirundi egiwera.

OMUGENZI BAMUSSE ALEESE BUJULIZI OBUSEMBAYO

Bazanye yabadde aleese obujulizi obusembayo mu musango gw’okumutemula kyokka kkooti n’etetuula.

Omusawo eyajanjaba Bazanye nga atemuddwa abagambibwa gw’aluiriza nti Matovu ne banne yabadde areeteddwa mu kkooti okuwa obujulizi obusembayo n’omuserikale eyakola ku fayiro eyo olwo omulamuzi awe ensala ye.

Wabula Omulamuzi teyabaddewo olwo Bazanye ne baganda be ne baawukanira ku kkooti buli omu n’adda ewuwe olwo abatemu ne bakozesa akakisa k’okutwalako Bazanye ne bamutemula.

NNAMWANDU ASIGADDE NE BABBEBI BASATU;

Sainah Namazzi, 28, nnamwandu wa Bazanye abadde yaakazaala abaana basatu omulundi gumu era mu kiseera kino agamba tamanyi gy’agenda kuggya buyambi bw’amabujje gano ag’emyezi ena gyokka.

Nnamwandu asigazza abaana mukaaga kyokka nga bonna bakyali bato era naye n’akikkatiriza nti abasse bba bateekwa okuba nga be babadde bakaayanira ekibanja kyabwe ekiwerako yiika ttaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...