TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abapoliisi balondodde emmotoka ya Kkampuni ya BIDCO ne babba bukadde

Abapoliisi balondodde emmotoka ya Kkampuni ya BIDCO ne babba bukadde

By Stuart Yiga

Added 19th May 2018

Abaserikale ba Poliisi basatu balondodde mmotoka ya kkampuni ya Bidco, ekola butto ne ssabbuuni, okuva e Kampala oluvannyuma ne babateeka ku mudumu gw’emmundu, e Naluvule ne ba babba obukadde bw’ensimbi 2.

Paulkangaveayogererapoliisimubitundubyasavannah 703x422

Paul Kangave, ayogerera Poliisi mu bitundu bya Savannah.

Omwogezi wa Poliisi mu bbendobendo lya Savannah, ASP Paul Kangavve, yategeezezza Bukedde nti, abaabadde mu mmotoka ya BIDCO, ey’ekika kya Toyota Canter, nnamba UAM 846Q, baakubye enduulu  oluvannyuma lw’okussibwa ku mudumu gw’emmundu, ekyaleetedde abatuuze abaliranyeewo nabo okutaayiza abazigu.

Kangavve yategeezezza nti, omuserikale waabwe ng’akolera ku Poliisi y’e Bweyogerere, ayitibwa detective Constable nnamba 36159 Ali Kubala, abatuuze baamutaayizza era ne bamukwata, ate banne ababiri be yabadde nabo, ne bassaako kakokola tondeka nnyuma.

“Kubala tumulina ku Poliisi yaffe e Luweero, era nga tunoonya banne be yabadde nabo. Newankubadde akyagaanye okutubuulira banne be yabadde nabo, tulina essuubi nti, tujja kubafuna era bavunaanibwe,” Bw’atyo Kangavve bwe yagambye.

Mu kiseera ky’ekimu, Poliisi yasobodde okutaasa ssente obukadde obulala, 25, ababbi  baalemeddwa okutwala olw’ensonga nti bwabadde mu seefu, ate nga yabalemye okusitula  n’okugiggulawo.

Okusinziira ku byakanoonyezebwaawo, abapoliisi bano, baabadde batambulira mu mmotoka ey’ekika kya Super Custom, wabula nga nnamba z’emmotoka eno, tezaategeerekese bulungi, okusinziira ku batuuze.

Guno si gwe mulundi ogusoose ng’abaserikale ba Poliisi beenyigira mu bubbi.

Mu April, 2018, omupoliisi James Ogwal, okuva ku Poliisi y’e Kabalagala, yakwatibwa oluvannyuma lwa banne okumulokooma nti baali naye nga babba.

Oluvannyuma Ogwal, yasangibwa nga yeetugidde munda mu kaduukulu ka Poliisi y'oku luguudo lwa Mawanda.

Waliwo abapoliisi abalala babiri nabo abanoonyerezebwako ku ntandikwa y’omwaka guno, nga bateeberezebwa okwenyigira mu bubbi obwali mu disitulikiti y’e Masindi,  nga beeyambisa emmundu.

Bino we bijjidde nga eyali aduumira Poliisi mu bitundu bya Kampala Metropolitan South, ACP Siraje Bakaleke, akyanoonyerezebwako olw’ebigambibwa nti, ye n’abalala bana, banyaga ku bannansi ba Korea, ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kamu n’ekitundu.

Bakaleke avunaanibwa n’abaserikale abalala okuli; George Kayongo, Patrick Ochen, ne Kenneth Zirintuusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.